Amannya.Com

Tuwandiikire

Kalendaliyo

Ebiseera by'olunaku

Obudde bw'emisana

Amakya
Essawa Erinnya
1 Maliiri
2 Suula esanja
3 Manywataaba
4 Kalasamayanzi
5 Makola ga byamisana
Ettuntu
6 Ttuntu
7 Malya ga byamisana
8 Gandaalo
Olweggulo
9 Makola ga byaggulo
10 Mayimbulambuzi
11 Mafumba byaggulo
Akawungeezi
12 Kasendabazaana

Obudde Obw'ekiro

Akawungeezi
Essawa Erinnya
1 Malya ga Kyagulo
Ekiro
2 Kwegala
3 Ggulolimu
4 Kawoza Masiga
5 Kisisimuka ekisooka
Ttumbi
6 Kisisimuka ekyokubiri
7 Mattansejjere
8 Matutuma
9 Nkoko emberyeberye
Matulutulu
10 Nkoko ezookubiri
11 Kinywambogo
12 Busaasaana

Ennaku mu wiiki/Ssabiiti

Erinnya Olunaku
Kazooba Bbalaza
Walumbe Lwakubiri
Mukasa Lwakusatu
Kiwanuka Lwakuna
Nnagawonye Lwakutaano
Wamunyi Lwamukaaga
Wangu Ssande

Amannya g'emyezi

Erinnya Omwezi
Gatonnya Ogusooka
Mukutulansanja Ogwokubiri
Mugulansigo Ogwokusatu
Kafuumuulampawu Ogwokuna
Muzigo Ogwokutaano
Sseebaaseka Ogwomukaaga
Kasambula Ogwomusanvu
Muwakanya Ogwomunaana
Mutunda Ogwomwenda
Mukulukusa Ogwekkumi
Museenene Ogwekkuminogumu
Ntenvu Ogwekkuminebiri