Enyanjula
Tubaniriza ku mukutu guna ogwa intaneti ogw'Amannya Amaganda.
Ekigendererwa ky'omukutu guno, kwe kwongera okubangula buli muntu ku ntuuma
y'amannya mu lulimi
Oluganda
Amannya gano gagabanyiziddwa mu mitendera ena. Amannya ag'Abantu,
ag'Emmere, ag'Ebisolo, ag'Ebiwuka,
ag'Ebinnyonyi , ag'Ebimera,
ag'Emirimu , ag'Endwadde namalala.
Ebintu ebiri ku mukutu guna
bikunganyiziddwa mu ngeri ez'enjawulo, okuva mu bitabo, okuva ku mikutu emirala
ejja intaneti, okuva mu bakadde era n'abo bakakensa mu mannya amaganda.
Okusobola okweyongera ku mannya londa omutendera ogwo gw'oyagala okusomako
waggulu. Oba bwoba oyagala okunonyereza kumannya amaganda, londa kumutendera
gwoyagala okunonyerezako wammanga.
Buli lunaku olukya twongera ku mukutu guno. Bwoba olina ky'omanyi ku mannya
amaganda, tuwandiikire tukigatteko. Oba waliwo ekikyamu ky'olabye tuwandiikire,
nakyo tujja kukigolola.