OLULYO LW'ABALANGIRA
Omukulu w'ekika: Ssabalangira
Obutaka: Kaaliiti, Busiro
Omubala: Bantadde, bantadde bannange, Gwe Musota, Ekirimala abasajja Nnyago. Nakimera muka Ssuna bw'asa bw'anegula, Mawokota ganjokya tulibirya twambuka.
Abamu bagamba nti luno lulyo teruyitibwa kika. Abalangira tebalina masiga era tebalina muziro gwa nkalakkalira olwensonga nti omulangira yeddira muziro gwa nnyina. N’olwekyo buli kika kiyinza okuzaala kabaka. Olwokuba tebalina muziro gwe beddira are bwebatyo tebalina kabbiro.
Omutaka w’abalangira ayitibwa Ssabalangira. Alondebwa Kabaka okuva mu Balangira. Ono gwakwasa omuggo ogw’obuyinza bwe oguyitibwa Segulirennume. Ssabalangira yagatta abalangira n’abambejja bonna.
Obutaka bw’Abalangira n’Abambejja
1. Magiri mu Kyaggwe.
2. Magonga mu Busujju.
3. Nnono mu Busujju
Amannya ga be Abalangira
Batanda
Batenga
Kittengo
Kyomubi
Lugyayo
Lulaba
Luwedde
Lwantale
Mazzi
Mpologoma
Muggale
Nabadda
Nabaloga
Nabisaalu
Nabiwemba
Nabweteme
Naccwa
Nakabiri
Nakalema
Nakamaanya
Nakampi
Nakayenga
Nakiggala
Nakimbugwe
Nakuyita
Naluwembe
Namaalwa
Namikka
Nanjobe
Nattu
Nazibanja
Ndagire
Ndege
Nkinzi
Nnaamukaabya
Ntaleyebwera
Ssemalabe
Tajuuba
Tuttekubano
Zalwango
Zansanze
Abalenzi
Baleke
Bamweyana
Bbengo
Ccwa
Geserwa
Ggobango
Ggolooba
Ggomotoka
Googombe
Jjemba
Jjuma
Jjuuko
Junijju
Kaasabbanda
Kagulu
Kajumba
Kakungulu
Kalema
Kalemeera
Kaliro
Kamaanya
Kanaakulya
Kateebe
Kateregga
Kattakkesu
Kaviiri
Kawagga
Kawuuwa
Kayemba
Kayima
Kayondo
Kazibwe
Kibooli
Kiggala
Kigoye
Kijojjo
Kikanja
Kikulwe
Kikumbi
Kikunta
Kimbugwe
Kimera
Kiribata
Kiyimba
Kyabaggu
Kyabayinze
Kyekka
Lubambula
Lukanga
Lukongwa
Lumaama
Lumansi
Lumweno
Luswata
Lutimba
Luyenje
Madangu
Maganda
Mawanda
Mayinja
Mayumba
Mbogo
Mpadwa
Mpiima
Mugogo
Mukaaabya
Mukuma
Mulere
Mulondo
Muluuta
Musanje
Mutebi
Muteesa
Muyiggwa
Mwanga
Nakibinge
Namugala
Ndawula
Ngobe
Segamwenge
Sekafuuwa
Sekoolya
Seninde
Ssekamaanya
Ssemakookiro
Ssemalume
Ssezaalunnyo
Ssimbwa
Ssuuna
Tebandeke
Ttembo
Wakayima
Walugembe
Wampamba
Wango
Wassajja
Zigulu
Zzimbe