EKIKA KY’EKINYOMO (OBA ABANYUMA)
AKABBIRO: MUTIMA
NAKIGOYE ye mukulu w’Ekika ky’Abeddira Ekinyomo. Obutaka bwe obukulu buli Kyasa mu Buddu.
BANO BE BAKULU AB’AMASIGA ABATUUKA KU NAKIGOYE
1. Muwawu e Kanyaga Buddu
2. Kagezi e Katinnyondo Buddu
3. Kalinzi e Kyasa Buddu
4. Kagogwe e Kyasa Buddu
5. Kibunga e Zirizi Buddu
6. Mutunga e Bugera Buddu
7. Kanagwa e Kyambogo Buddu
8. Nsanga e Nsangwa Buddu
g. Kawannaku e Kyasa Buddu
10. Ttabaalo e Kyakudduse Buddu
EMIBALA
1. "Alinyaga ente omutima talirya."
2. "Kababembe."
;