EKIKA KY’EKKOBE (Air Potatoe)
AKABBIRO: KAAMA


Kaama mmere ya mu ttaka era ya kyemeza. Esangibwa mu bibira. Edda yaliibwanga kwa njala.


Jjajja w’Abekkobe ye Nsereko naye omukulu w’Ekika ky’Ekkobe ow’akasolya kaakano ayitibwa “wamwama”. Nsereko y’omu ku basajja enkwatangabo Kintu be yajja nabo era be yali nabo ng’alumba Bemba ku Naggalabi. Kintu bwe yamala okuwangula Bemba n’agenda ne basajja be be yajja nabo, n’azimba ku Nnono mu Busujju, ne basajja be n’abawa ebibanja mu Busujju okumpi naye. Nsereko ekibanja ekikye yakifuna ku mutala Kanyanya. Kintu yai akyali ku Nnono n’atwala Nsereko n’agenda amusimbira omutuba ku mutala Buzimwa oguli mu Mawokota. Ebbanga lyayitawo ttono Kintu n’awa Nsereko okufuga essaza Mawokota. Nsereko bwe yava awali Mukama we e Nnono n’agamba nti:


"Ke nyende mu kifo kyange e Buzimwa, nsuleyo ennaku bbiri, ndyoke nnende mu bwami bwange".


E Buzimwa Nsereko alinga yalwayo, ennaku ebbiri ze yagenderera okumalayo ne ziyita, kuba yali akyali eyo n’awulira nti Kintu obwami bw’essaza Mawokota abuwadde omuntu omulala. Awo ye kwe kuva e Buzimwa n’agenda ku lusozi Teketwe, n’alwana n’abantu be yasangawo. Bwe yamala okubawangula n’azimbira ddala awo era n’akuba okwo embuga ye.


Nsereko bwe yali ng’ali awo ku Teketwe Kabaka n’amuwa omulimu gw’okunonanga lubaale e Ssese. 


Awo Kabaka bwe yalabanga ku Nsereko n’amubuuza nti: "Omugenyi wamuyama?" (okuyama kwe kwaniriza n’okulamusa).


Nsereko yaddangamu nti: "Namuyama, Mukama wange".


Okwo Kabaka kwe yasinziira okutuuma Nsereko erinnya erya "Namuyama". Naye oluvannyuma erinnya eryo abantu baalikyusaako ne lifuuka "Namwama". Okuva ku Nsereko n’okutuusa gye buli eno Omukulu w’Ekika ky’Ekkobe ow’Akasolya ayitibwa "Namwama". Obutaka bwe obulimu olusozi Teketwe bwe yasooka okuzimbako nabwo buyitibwa "Buwama". Okusobya mu nnaku ebbiri Nsereko ze yali agenderedde okusula e Buzimwa abantu baakuggyako enjogera egamba nti: "Nnaasula bbiri Namwama Buzimwa".


Ebigambo ebyo babigamba omuntu agenderera okusula ennaku entono mu kifo ate n’akirwamu ennyo. Nsereko yafiira Buwama n’aziikibwa ku Teketwe, naye obutaka bwa Namwama obukulu bwe bw’e Buzimwa. E Buzimwa Bannamwama gye baziikibwa nga bafudde.


Nsereko yazaala abaana mwenda abaafuna Amasiga mu Kika ky’Ekkobe. 


Bano be baana ba Nsereko ab’Amasiga:


1. Namukangula e Bbongole Mawokota
2. Lwabiriza e Katolingo Busiro
3. Kawuma e Wassozi Mawokota
4. Kakinda e Jjalamba Mawokota
5. Kabengwa e Bulumbu Busiro
6. Kaseenya e Buseenya Butambala
7. Wanda e Misindye Mawokota
8. Busuulwa e Nkozi Mawokota
9. Kayiwa e Buyiwa Mawokota


Waliwo ab’Omutuba gw’akasolya ogw’e Buzimwa ne Teketwe oguyitibwa ogw’abalangira mu Kkobe. Ogwo gwe guvaamu abalya Obwannamwama.


EMIRIMU GY’ABEKKOBE KU KABAKA


1. Kakinda e Jjalamba y’akinda olubugo Omutaka Mugema lw’asumikira Omulangira ng’alya Obuganda. Olubugo olwo luyitibwa “Bigwawotebiraga’. Lusubulwa ku mulandira gw’omutuba oguyitibwa "olusika". Ekigendererwa mu lubugo oluva ku "lusika" kwe kwagaliza Kabaka okusika amawanga gonna gajje gy’ali.


2. Abekkobe be baawanganga amafumu ga Kabaka mu nnyago era be baali abaweesi ba Kabaka Kintu e Nnono.


3. Lwabiriza e Katolingo ye yaggyanga akaba ka Kabaka ku mutwe, ng’ebinyomo bimaze okulyako ennyama.


4. Wanda e Misindye y’afuuyira Kabaka ekkondeere eriyitibwa "Mwokola". Alifuuyira wamu ne Mukanga Owemmamba afuuwa ekkondeere eriyitibwa "Kawunde".


OMUBALA: "Kasonzi mulwadde".


Omuzira Kyewaalabye Owekkobe ye yawangula ku Banyoro ekitundu kya Mubende ekiyitibwa Buweekula ne kigattibwa ku Buganda nga Kamaanya y’afuga Obuganda. Kyewaalabye yomu ku basajja enkwatangabo Kamaanya be yafuga nabo Obuganda. Kyewaalabye yaziikibwa ku mutala Kaabyuma mu Buweekula. Okuva ku Kyewaalabye Kaabyuma bwafuuka butaka bwa Bakkobe.


Ssebuliba e Buddo eyalya ku Bwamakamba naye mu Bekkobe yali njasabiggu. Bagamba nti Ssemakookiro bwe yali yeeteekateeka okulumba muganda we Jjunju enfumu n’emugamba nti: "Laba musajja wo omuzira bamwokere mu nju, enju bw’eneesirikka nga tafiiriddeemu nga Jjunju ojja kumuwangula". Mbu Ssebuliba teyalwa n’akkiriza okwokerwa mu nju. Yasumika embugo bbiri, n’akwata amafumu abiri n’engabo. Enju gye baamwokera ku mabega baazimba ya kiggwerawo. Mbu enju yagenda okugwa wansi nga Ssebuliba yeesimbye ng’olukoma mu bbanga. Ssemakookiro bwe yamala okuwangula Jjunju, kwe kuwa Ssebuliba Obwamakamba. Ssebuliba yaziikibwa Kisozi, mu Bugwanjuba bw’olusozi Buddo.


Okuva ku Kabaka Kyabaggu abakyala Abekkobe baayatiikirira nnyo mu kuyimba obulungi. Bagamba nti erinnya Nambooze baalifuna lwa mukyala omu Owekkobe eyayimbira ennyo Kyabaggu, n’amugamba nti:


"Oli namboozi, kuba olina emboozi ewooma"


Ate ku mulembe guno Omuteesa II waaliwo abakyala Abekkobe basatu abaatiikiriva mu kuyimba. Buli omu ku bo ayitibwa "Namale".
 



 

Amannya ga be Kkobe

Abawala
Balilaanye
Katana
Kiwaamaaso
Kiwabudde
Lwantanya
Mbatudde
Mbawadde
Nababi
Nabanoba
Nabawanda
Nabikaajumbe
Nabitengero
Nabwami
Nabweggamo
Najjolo
Nakakaawa
Nakalembe
Nakamatte
Nakasinde
Nakatudde
Nakawuma
Nakayiwa
Nakibuule
Nalule
Nalwanga
Namala
Namale
Nambalirwa
Nambi
Namboga
Nambooze
Namboyera
Nammembe
Nango
Nansereko
Nantege
Nantumbwe
Nassimbwa
Ndyona
Nnaamala
Nnabweggamo
Nsonyiwa
Ntabadde

Abalenzi
Bakiranze
Balasa
Balimunsi
Bampigga
Bamwanjula
Bitalo
Bululu
Busuulwa
Byekwaso
Jjuuzi
Kabengwa
Kabizzi
Kaddu
Kasala
Katembe
Kateta
Kavavagalo
Kawuma
Kayiwa
Kayongo
Kaziro
Kibaya
Kibombo
Kibugo
Kigembe
Kikaawa
Kiki
Kimanje
Kinaalwa
Kirabira
Kiragga
Kiregeya
Kironde
Kitemagwa
Kivumu
Kizito
Kkonde
Kkulanju
Kyambalango
Kyewalabye
Lukookera
Lule
Lwabiriza
Mabingo
Mabiriizi
Magaja
Magala
Magoma
Makokwa
Male
Masanda
Mayengo
Mbiro
Mirundi
Misango
Miwanda
Mpaka
Mugubya
Mujwiga
Mukaddemwangu
Mukooki
Mulaalira
Mulungu
Muluuli
Musuyi
Muteeweta
Mutumba
Muwakanya
Naayinda
Nabbumba
Nabbwaga
Nakanyaakaali
Nakatanza
Namukangula
Nankalanguse
Nannyumba
Nkangufu
Nkayivu
Nnyago
Nogoli
Nsereko
Nsozi
Ntanzi
Ntembo
Nviiri
Sekkonge
Sikweyama
Ssebabi
Ssebatindira
Ssebitengero
Ssebuliba
Ssejjongo
Ssekamatte
Ssekiremba
Ssekkonge
Ssemagulu
Ssemagwatala
Ssematimba
Ssemiti
Ssemmombwe
Ssennyomo
Ssennyondo
Ssentumbwe
Sserukomaga
Ssettuba
Ssevvume
Ssewakiryanga
Ssikyemanywa
Tebakyagenda
Waakuze
Walubandwa
Wantaate
Zingobukeedo
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;