EKIKA KY’OLUGAVE


AKABBIRO: MALEERE (Amaleere bwe butiko obweru obumera ku bikonge by emiti oba ku miti we batemye ettabi)


Jjajja w Ekika ky’Olugave ayitibwa Mukiubt. Mu Buganda Aboolugave bayitibwa bannansangwawo, kuba Kabaka Kintu yabasangaamu. Ebyafaayo eby’edda ebyogerwa ku Mukubi bitulaga nti Kintu okujja mu Buganda yasanga temuli mufuzi w'amaanyi eyafuganga Bataka banne bonna nga Kabaka. Kirabika mu buli Mutaka eyasinzanga ku banne amaanyi ye yabafuganga mu kiseera ekyo we yabeereranga n’amaanyi.


Kintu nga tannajja mu Buganda Mukiibi yabeeranga wa Wassozi mu Busiro. Okwo kwe yazaalira abana be Kiwanda ne Natiigo ne Kyabasinga, n’abalala. Mukubi bwe yali ng’ali ku Wassog; Bemba ye yali afuga Bataka banne bonna. Lwali lumu Mukiibi n’agaana okukolera Bemba emirimu gye yali amutumye. Bemba yalaba Mukubi amujeemedde kwe kumutabaala n’amugoba ka Wassozi n’atta n’omwana we Kyabasinga, n’abaana be abalala Mukiibi bwe yadduka n’agenda e Ddundu mu Busiro. Ddunda Mukiibi gye yasinzura n’asaabala eryato lye Nankinga n’agenda e Ssese, n’agoba ku kizinga Malanga.


OLUFUMO OLUTEGEEZA OLUTALO LWA NFUDU NE BEMBA


Mukiibi bwe yatuuka ku Malanga n’asenza basajja be babiri Nfuudu ne Kigave. Mukubi bwe yali ng’ali ku kizinga ekyo Malanga yattanga nnyo enfudu. Bwe yamalanga okuzitta ng’aziggyako ebiwaawo n’abiwa musajja we oyo gwe yatuuma Nfudu. Omusajja oyo ebiwaawo by’enfudu yabizannyisanga ng’abyebikka ku mutwe. Okwo mukama we kwe yasinziira okumutuuma erinnya erya Nfudu.


Mukiubi bwe yali ng’ali e Ssese ne bamubuulira nti Kintu amwetaaga bagende balwanyise Bemba. Mukiibi olwawulira ebyo n’asaabala ennyanja okudda ku lukalu. Mukiibi basajja be bombi Nfudu ne Kigave yagenda nabo ku lukalu. Mukiibi Kintu yamusanga Mangira mu Kyaggwe.


Kintu ne Mukiubi tebaalwa ne bateesa amagezi ag’okulwanyisa Bemba. Mukiibi eri Kintu yayanjulayo basajja be Nfudu ne Kigave nti be bajja okulwana ne Bemba. Kintu ne Mukiibi nabantu abalala bwe baava e Mangira ne bagenda basiisira ku Bukesa (okuli ennyumba y’Omulabirizi wa C.M.S.e Nnamirembe).Ku Bukesa Nfudu ne Kigave kwe baasinziira okugenda okulwana ne Bemba.


Nfudu ne Kigave ewa Bemba baagendayo ng’abagenyi. Baamalayo ennaku ntono Nfudu n’agamba Bemba nti: “Omuntu ow’ekitibwa nga ggwe tasaana kusula na mutwe gwe, ffe egyaffe bwe tuba tugenda okwebaka nga tugitemako, tugizzaako nkya. Kirungi oyite gye tusula olabe bwe tusula nga tetulina mitwe. Awo Bemba bwe yayita eri abagenyi be teyasobola kulaba mitwe BY abwe, yasanga bagibisseeko ebiwaawo by’enfudu, bo kwe baayita Okugitemako. Olunaku olwaddirira Bemba kwe kusaba abagenyi be bamutemeko omutwe naye asule nga wa kitulbwa ngabo. Nfudu ne Kigave bwe baamala okutema omutwe gwa Bemba ne bagenda babuulira Mukiibi ne Kintu nti “Olutalo tuluwangudde, ne Bemba tumusse’”’, Kintu ne Mukiibi bwe baamala okutta Bemba, Kintu n’alya Obwakabaka. Mukiibi yalaba mukam we amaze okutereera ku Bwakabaka naye kwe kumusaba amukkirize okulonda mu Buganda ekifo kyonna ky’ayagala okubeeramu. Ekifo Mukunbi kye yasaba okubeeramu ye Kapeeka ekiriraanye Buloba mu Busiro. E Kapeeka Mukiibi gye yasinziira okusaba Kintu amukkirize okusimbira abaana be emituba. Kinty yalaba Mukubi amaze okusimbira abaana be emituba n’amugamba nti “Ohi mwesigwa wange nnyo kuba twasala ffembi amagezi agatta Bemba. Buli woyagalanga wonna mu nsi yange w obeeranga era n’abaana bo mbakkirizza okuzimbanga wonna we baagala, tewabanga Kabaka abakuba ku mukono.”? Mpozzi obwesigwa obwo Mukibi bwe yakolera Kabaka Kintu bwe bwafunyisa Aboolugave emirimu emingi egy’obwesigwa era egy’ekitiibwa egy’ensikirano ku Kabaka.


Mukuibi bwe yali ng’ali ku Kapeeka yayagalanga nnyo okuyigga. Lwali lumu n’agenda ng’ayigga n’atuuka mu Mawokota. Bwe yatuuka mu kifo kaakano ekiyitibwa Ssekiwunga ekiriraanye Katende n’akyagala nnyo n’agamba abaana be nti “Ndigwa wano, e Kapeeka bazzangayo luwanga’. Era bwe gwali, Mukubi yafiira Katende ne bamuggya oluwanga ne balutwala e Kapeeka. Naye Mukiibi yagenda okufa ng’erinnya erya Ndigwa abantu bamaze okulimukazaako olw’okwogeranga bulijjo nti WNdigwa wano. Oluvannyuma erinnya WNdigwa abantu baalikyusa mu njogera yaabwe ne lifuuka MDUGWA. Erinnya eryo lye lyafuukira ddala ery;Omukulu w’Ekika ky’Olugave ow’akasolya. Omukulu w’Ekika ky’Olugave kaakano abeera Ssekiwunga e Katende mu Mawokota naye obutaka bwe obwasooka bwe bwe Kapeeka mu Busiro.



AMANNYA
Amannya g’Aboolugave gaawukanako katono mu Masiga gonna, naye agatuumwa mu Mutuba gwa Kasana n’ogwa Nalungu gegatera okubuna mu Masiga gonna.

Amannya ga be Lugave

Abawala
Mirembe
Mpeera
Nabaggya
Nabanjala
Nabatanzi
Nabukalu
Najjuma
Nakijoba
Nakirize
Nakitende
Naluyima
Nalweyiso
Namakula
Namigadde
Nankinga
Nantaba
Navvubya
Navvuga
Nnaamala
Ntotooganyi
Zaggwa

Abalenzi
Bulime
Byangwe
Jooga
Kaaya
Kalali
Kasoma
Kaswa
Katamba
Katende
Kinenennyumba
Kinyira
Kiwanda
Kiyimba
Lubinga
Lubira
Lugonvu
Luttamaguzi
Luyinda
Magala
Matumbwe
Mbira
Migadde
Mukiibi
Mulangwa
Mutyaba
Nandere
Nkuubi
Nkuusa
Nnyindo
Sekiwunga
Ssajjakkambwe
Ssebbika
Ssebitosi
Ssekyegobolo
Ssemakula
Ssemmindi
Ssemogerere
Ssenkooto
Ssennyimba
Sserunjogi
Tebandeke
Tebuseke
Wankalubo
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;