EKIKA KY’ABABOOBI (ABEDDIRA AMAZZI G’EKISASI)
AKABBIRO: GGONGOLO. (Eggongolo lye bayita ekiboobi.)
Ababoobi tebanywa mazzi agalembekeddwa mu kisasi ky’enju, era tebagafumbya oba okugakozesa emirimu emirala.
Jjajja w’Ababoobi ye LUNAKU. Ababoobi bagamba nti Lunaku yava Bunyoro ku lusozi Magoma (kaakano luli mu ssaza Bugangazzi). Lunaku bwe yali ng’ajja e Buganda n’afiira mu kkubo ku mugga Kafo mu Lugonjo, mu kyalo Muzirandulu. Bwe yamala okufa mutabani we Kacope n’amusikira. Kacope naye yafiira mu kkubo mutabani we WOOYO n’amusikira. Wooyo ‘ye yatuuka mu Buddu e Kasaka. Omukulu w’Ekika
ky’Ababoobi ow’akasolya ayitibwa Wooyo. Obutaka bwe obukulu buli Kajuna mu Buddu.
BANO BE BAANA BA WOOYO AB’AMASIGA ABAMUTUUKAKO
1. Namutale e Bigga Buddu
2. ‘Kakooto e Kajuna Buddu
3. Bwemi e Kabanga Buddu
4. Lubaya e Kajuna Buddu
5. Nnyalwa e Kyesiiga Buddu
6. Mulindwa e Kasaka Buddu
Ekitabo kino kiwandiikiddwa nga waliwo Amasiga agakayaanirwa Wooyo ne Namuguzi. Amasiga ago tegalagiddwa wano.
EMIBALA
1. "Kakooto leka ente."
2. "Kiiso kya mbuzi bwe kikutunuulira obulungi okiraba."
3. "Kaana k’obulenzi tokaweera mpindi mu ngalo."
35. EKIKA KY’EKINYOMO (OBA ABANYUMA)
AKABBIRO: MUTIMA
NAKIGOYE ye mukulu w’Ekika ky’Abeddira Ekinyomo.
Obutaka bwe obukulu buli Kyasa mu Buddu.
BANO BE BAKULU AB’AMASIGA ABATUUKA KU NAKIGOYE
1. Muwawu e Kanyaga Buddu
2. Kagezi e Katinnyondo Buddu
3. Kalinzi | e Kyasa Buddu
4. Kagogwe e Kyasa Buddu
5. Kibunga e Zirizi Buddu
6. Mutunga e Bugera Buddu
7. Kanagwa e Kyambogo Buddu
8. Nsanga e Nsangwa Buddu
g. Kawannaku e Kyasa Buddu
10. Ttabaalo | e Kyakudduse Buddu
AMANNYA ABANYUMA GE BATUUMA MU MASIGA GONNA GE GAMU..
AGATERA OKUTUUMIBWA GE GANO
Abalenzi Abalenzi Abawala
Kabuzi Luboobi Naluboobi
Masengere Mazzi Namazzi
Kaseegu Masaazi Lukoowe
Nnyalwa Katenta Ddambya
Kattaggye Kakooto Nabisere
Kadindo Lubyayi Nakalawa
Ssagala Maddu Nakalago
Katajjwa Mujwala Nabiweke
Lubaya Mpawulo Gwomala
Mukopi Kyanda Busungi
Kiwagi Nkambwe Nantale
~ Mbizzi Makesa
Nkyokwa
Kakingirwa
Abalenzi Abawala
Kankaka Nakayiki
Muwawu Namwanda
Kawannaku Kawoojwa
Kalinzi Nanseko
Kanagwa Namyenya
- Kibunga Lwandago
Mutunga
Ntumwa
Kasozi
Kagogwe
EMIBALA
1. “‘Alinyaga ente omutima talirya.”
2. ‘“Kababembe.”’
;