EKIKA KY’EMBOGO
AKABBIRO: NDEERWE (butiko bweru, bumera ku ttale, mu mpiira)


Abembogo tebalya mmere efumbiddwa mu ntamu empya. Okusobola okugiriiramu bagissaamu olugsye wansi, ne batereeza emmere ku luggyo olwo.


Abembogo abamu baava Bunyoro okujja mu Buganda. E Bunyoro baabeeranga mu kifo ekiyitibwa Mazigita, okumpi ne Kibulala. Naye Kiwutta e Magonga yaliwo ku Kabaka Kintu. Kiwutta ye yali Ssaabagabo wa Kabaka Kintu.


Awo olwatuuka Omulangira Kimera n’awasa omuwala Namagembe, muwala wa Makumbi Owembogo. Makumbi yalina abaana be abalenzi bana: Kaddu, Walakira, Wavvuuvuumira ne Ssemitego. Makumbi yali muyizzi, era emirundi mingi yayigganga wamu ne Kimera nga Kimera akyali e Kibulala mu Bunyoro. Awo Omulangira Kimera bwe yali ng’ajja okulya Obuganda Makumbi n’abaana be bonna nabo ne basitula ne bajja ne mukoddomi waabwe. Lwali lumu nga bajja Namagembe muka Kimera n’akoowa nnyo. Wavvuuvuumira yalaba mwannyina akooye n’amusitulas Omulangira Kimera yalaba basitudde mukyala we naye n’asaba bakoddomi be bamusitule.


Makumbi kwe kulagira Kaddu asitule Omulangira. Okwo Abembogo kwe baggya obukongozzi bwe bakola n’okutuusa kati.


Kimera ne Makumbi bajja bayigga mu lugendo lwabwe Iwonna okuva e Bunyoro. Awo bwe baali bali kumpi n’olusozi Mugulu Makumbi n’ayawukana ku Mulangira, n’agenda ng’ayigga yekka. Bwe yatuuka ku lusozi Mugulu embwa y’Omulangira eyayitibwanga “Ssemagimbi” n’esuula ekyuma kyayo ku lusozi olwo. Makumbi bwe yanoonya ekyuma ky’embwa nga takiraba n’atandika okwokya obuyiira asobole okukiraba. Omulangira bwe yasinziira ku kasozi Nnaayota n’alengera obuyiira ku lusozi Mugulu. Bwe yabuuza ayokya obuyiira obwo ne bamutegeeza nti Makumbi. Awo Kimera kwe kutuuma Makumbi erinnya erya KAYIIRA. Ebyo bwe byaggwa Kimera n’abantu be ne beeyongera okulamaga mu lugendo lwabwe. Bwe baatuuka ku lusozi Gguluddene mu Busiro Wavvuuvuumira n’asamba ku kisaka Wannyana awummulireko. Awo Wavvuuvuumira we yaggya erinnya erya Kasamba. Ne Kaddu oluvannyuma yafuna erinnya erya. "Ssekayiba".


Kimera bwe yamala okutuuka ku Buganda ng’amaze n’okulya Obuganda Kayiira n’amusaba amukkirize okuddayo okuzimba ku lusozi embwa kwe yali esudde ekyuma. Kabaka bwe yamukkiriza n’addayo n’azimba. Okuva olwo n’okutuusa kati obutaka bwa Kayiira obukulu buli Mugulu mu Ssingo.


Kaylira bwe yamala okuzimba ku Mugulu abantu ne batandika okumuleeteranga omwenge. Naye bwe yamalanga okugunywa ng’akkuse, ng’agamba nti:


"Amaalwa ga juule".


Okwo abantu kwe baasinziira okumuyita GAAJUULE. Na buli kati omukulu w’Ekika ky’Embogo ayitibwa Kayiira Gaajuule.


EMIRIMU GY’ABEMBOGO KU KABAKA
1. Obukongozzi. Bukolebwa Ssekayiba e Ssenge.
2. Okukwata engabo ya Kabaka Kaamaanyi, n’amafumu ge.
3. Nsigo amyuka Mulamba Wambogo era y’aggala oluggi lw’Olubiri oluyitibwa Nsigo.


ABAANA BA KAYIIRA AB’ AMASIGA ABAMUTUUKAKO


1. Ssekayiba e Ssenge Busiro
2. Walakira e Bbungo Butambala
3. Ssemitego e Nnyanzi Ssingo
4. Kasamba e Busamba Busiro


OMUBALA: "Katutu Kaagwa."


Kayiira eyali Katikkiro omwatiikirivu ku Kabaka Ssuuna II ne ku Muteesa I yali Wambogo. Kayiira ye Katikkiro eyasooka okuyitibwa "Kamalabyonna".


 

Amannya ga be Mbogo

Abawala
Bukirwa
Kyobiggya
Mannyangwa
Najjemba
Nakyomu
Nakyonyi
Nalugooti
Namawejje
Nampewo
Namuleme
Nankabirwa
Nannyanzi
Nantume
Nnabbanja
Nnamagembe
Nnamukwaya
Nnantamu
Sserabidde

Abalenzi
Bugembe
Bukulu
Ddumba
Jjoloba
Kaabunga
Kabanda
Kabugo
Kasibante
Kayanja
Kirabira
Kiyanzi
Kyagulanyi
Kyakonye
Lutaakome
Lwanyaga
Lwere
Majwega
Mawejje
Mukwaya
Mulimira
Musibira
Musiige
Ngalomyambe
Nnabembezi
Nnyanzi
Nnyenje
Ntume
Ntwatwa
Ssebadduka
Ssebyayi
Ssendikwanawa
Ssengooba
Ssenkatuuka
Ssentamu
Walakira
Yawe
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;