EKIKA KY’EMBWA (Dog)
AKABBIRO: Kyuma kya mbwa
EMIBALA
1. "Ntegereza Abataka kye baatukola."
2. "Kababembe."
Eyeddira Embwa talya nnyama ya nsolo embwa gy’ekutte ng’ esibiddwamu ekyuma ekiyigga. Naye Embwa bw’etebaamu kyuma n’ekwata ensolo eyo ennyama Abembwa bagirya.
Olufumo olufa ku kutandika kw’Ekika ky’Embwa Abembwa balunyumya bwe bati:
“Olwatuuka Kabaka Kintu n’azaala abaana be basatu: Gguluddene, Ccwa ne Wakayima, Kabaka Kintu yali yeddira Mbwa. Kabaka Kintu bwe yafa omwana we Ccwa n’amusikira. Embwa olw’okubeera muganda wa Kabaka, Kabaka Ccwa yagyagalanga nnyo era ng’emubeera kumpi bulijjo. Lwali lumu embwa n’erya ebintu ebibi nga ne Kabaka alaba. Kabaka Ccwa olwagiraba n’alayira nti ‘‘Nze sikyeddira mbwa oba ng’erya ebintu ebibi bwebityo”. Kabaka bwe yamala okwogera bw’atyo n’agamba ne mukulu we Gguluddene ave mu Kika ky’Embwa. Gguluddene yaddamu ng’agamba nti “‘Nze siyinza kuva mu muziro kitaffe gwe yandekamu”. Kabaka Ccwa bwe yamala okuva mu muziro gw’Embwa teyayagala kuyingira mu Kika kirala kyonna. Mbu awo we waava Bakabaka b’e Buganda n’abalangira n’abambejja obutaba na miziro ng’abakopi.
Ebbanga bwe lyayitawo Kabaka Ccwa n’abuuza Gguluddene nti "Oliva ddi mu Kika ky’Embwa?" Ku mulundi ogwo Ggulu ddene yaddamu ng’akakasiza ddala nti ‘“‘Nze nnaanidde ddala okuva mu Kika kitaffe kye yatulekamu”. Ccwa bwe yawulira ebyo kwe kugamba mukulu we nti "Oli mutasingwa mpaka". Okuva olwo n’okutuusa kati omukulu w’ekika ky’Embwa kwe kuyitibwanga "MUTASINGWA".
Gguluddene yazaalirwa ku Nnono mu Busujju, naye bwe yakula kitaawe n’amusimbira Omutuba mu kitundu kya Buganda ekyayitibwanga Kituba, kaakano kye bayita Gguluddene. Gguluddene mu Busiro bwe butaka bw’Abembwa obukulu. Kabaka Kimera okujja okulya Obuganda Abembwa yabasanga ku Gguluddene. Nkumbinkalu ow’e Kagwaba, Kimera gwe yalekera nnyina Wannyana amumukuumire.
Nkumbinkalu ye yaweta n’emiti ku kisaka, Wannyana awummuliremu omusana. Okuva olwo omulimu gw’okukuuma Bannamasole ne gufuukira ddala gwa Bambwa okutuusa Ssekabaka Kimbugwe lwe yagubaggyako n’aguwa mutabani we Omulangira Kamyuka e Bbembe.
Ssekabaka Kateregga ye yaggya Mutasingwa ku Gguluddene n’amutwala mu Busujju n’amuwa ekifo ekiyitibwa Kiggwa. Mutasingwa kaakano abeera Kiggwa mu Busujju. Kabaka Kateregga bwe yali ng’agenda mu Busujju okulwanyisa Abanyoro abaali ku ludda olwo, Mutasingwa ye yagenda asitudde ejjembe lya Kabaka eryayitibwanga "Musisi". Obutaka bwe obw’oku Gguluddene Mutasingwa yabulekamu batabani be Ssenkule ne Nkumbinkalu. Olusozi Mutasingwa kwe yazimba ekiggwa ky’ejjembe Musisi okuva olwo luyitibwa Kiggwa.
AB’AMASIGA ABATUUKA KU MUTASINGWA
1. Ssenkule e Gguluddene Busiro
2. Nkumbinkalu e Kagwaba Busiro
3. Ssenkomago e Kagoma Busiro
4. Ssebakiggye e Jjaawo (Bulindwa) Ggomba
5. Ssempungu e Zimuddi Busiro
6. Kisolo e Kasaayi Kyaggwe
7. Njala e Bagamba Ssingo
8. Weekirevu e Kyamusisi Ssingo
0. Ssekawunga e Maseruka Ggomba
10. Lugomuyina e Namulunja (Lufu) Buvuma
EMIRIMU GY’ABEMBWA KU KABAKA
1. Nakalyana ow’omu Ssiga lya Ssenkomago e Kagoma edda ye yakulemberanga Kabaka ng’agenda okutabaala. Kimanyiddwa nti Kabaka ne bwe yakyalangako obukyazi era nga kuyitibwa "kutabaala", kwe kwava enjogera eno nti "Ebemba tekyala". Era Abembwa be baawerekeranga Kabaka ng’agenda okuyigga.
2. Mutasingwa ye yasookanga okufuka eddagala mu Mujaguzo ng’ereegebwa.
3. Ku Nkumbinkalu ow’e Kagwaba kwe baalasizanga ennyumba ya Namasole nga bagizimba, kuba Nkumbinkalu oyo ye yasooka okuweta emiti ku kisaka Wannyana mwe yawummulira ng’atuuse ku Gguluddene era ye yasooka okuzimbira Wannyana ennyumba ng’avudde ku kisaka, ennyumba eyo n’etuumibwa erinnya erya "Lusaka". Na buli kati awabeera Olubiri oba ennyumba ya Namasole bayitawo “Lusaka”. Abembwa era be baakumanga Namasole e Lusaka n’okumuwerekera ng’abaddeko w’alaga.
4. Ssempungu ow’e Zimuddi ye yaziikanga enjole za Bakabaka ng’abambowa bamaze okuziggyako emitwe bawogoleko empanga ezaawundibwanga ne ziterekebwa mu Masiro.
Edda Abembwa tebaasiigiranga Kabaka bawala oba abalenzi okuba abagalagala mu Lubiri, Era tebaalinnyanga ku nju ya Kabaka ng’ebadde ezimbibwa wabula baakolangako mirimu gya wansi.
Abembwa tebaalyanga na bwami. Okulya obwami baayingiranga mu Bika birala. Eyo ye nsonga eyasinga okubuza n’okukendeeza Abembwa mu Buganda. Amateeka ago gonna gaabateekebwako olw’okubanga mbu jjajjaabwe Gguluddene yali mulangira omwana wa Kintu.
Ssekabaka Kamaanya yatuukako mu maka ga Mutasingwa e Kiggwa ng’agenze okwogerezaayo muwala wa Mutasingwa eyayitibwanga Nakasi. Kabaka yasomokera mu mugga Kitenga. Waliwo entubiro mu mugga ogwo Kabaka gye yagwamu.
Abaali ne Kabaka bwe baamusaasira olw’okutubira, Kabaka n’abaddamu nti “Néeganira Nakasi”. Na buli kati entubiro eyo bagiyita "Nteganira".
;