EKIKA KY’EMMAMBA
AKABBIRO: Muguya. Omuguya Kabamba katono, kabeera mu migga.


EMIBALA
1. "Kalya kokka."
2. "Tagobeka."(Ogwo gwa Gabunga yekka.)


Ebifaayo by’Abemmamba, ab’Ekika kino bonna tebabyogera bumu. Era Abemmamba bonna tebakkiriza nti jjajjaabwe eyajja mu Buganda bonna gwe bavaamu y’omu. Kiwutta Kyasooka Nankere alowoozebwa okuba Nansangwa mu Buganda. Eyo yemu ku nsonga ezaamufuula omutaka omukulu ku Kabaka. Abemmamba bonna olw’obutava mu jjajjaabwe omu mpozzi kyebava bafumbiriganwa, bwe bataba ba mu Ssiga limu. Tujja kulaba nga n’amannya g’Abemmamba ge batuuma mu buli Ssiga ga njawulo.


Olugendo lw’Abemmamba abasinga obungi lutandikira ku Ndiira:


Olwatuuka Ndiira n’ava e Masaaba mu Bugisu n’agenda e Kirinnya okumpi n’e Jinja mu Busoga. E Kirinnya Ndiira we yafiira. Bwe yamala okufa omwana we Mubiru n’amusikira. Mubiru bwe yamala okusikira kitaawe n’ava e Kirinnya wamu n’abaana be, n’agenda e Bumogera okumpi ne Kisumu, ne babeera eyo ku busenze. Bwe baali nga bali e Bumogera Mubiru n’abaana be baakolanga omulimu gwa kuvuba na kuweesa mbazzi.


Olwali olwo omulenzi omu gwe baasanga ku busenze n’agenda yeeyazika embazzi ku mutabani wa Mubiru, agende atemese amalindi ag’okusiba ku magala ge yavubisanga. Bwe yali atema amalindi embazzi n’emusumattuka n’egwa mu nnyanja. Omulenzi teyalwa n’agenda abuulira mutabani wa Mubiru embazzi nga bw’emuguddeko mu nnyanja. Mutabani wa Mubiru olwawulira n’ajuuka era n’alagira omulenzi oli agende anoonye mangu embazzi ye agimuwe.


Omulenzi eyeeyazika embazzi ne baganda be baakanda kwegayirira mutabani wa Mubiru akkirize bamuliyire embazzi endala nga ye agaanye bugaanwa. Yabaddangamu kimu nti "Nze embazzi yange yennyini gye nayazika gye njagala okunziriza". Omulenzi ne baganda be baalaba mutabani wa Mubiru agaanidde ddala okukkiriza okumuliyira embazzi endala, kwe kufuba ennyo okunoonya embazzi ye mu nnyanja okutuusa lwe baagiggyayo. Bwe baagituusa awali mutabani wa Mubiru n’asanyuka nnyo era nagibaggyako n’agitwala.


Nga bwe bagamba nti ‘““Kyerabirwa mugambi’”, ekiseera kyayitawo kitono mutabani wa Mubiru oyo yennyini n’agenda yeeyazika eryato ku mukwano gw’omulenzi oli gwe yayazika embazzi. N’oli teyassaamu kantu n’alimuwa. Olwalimuwa n’asaabala ennyanja n’agenda avuba. Bwe yava mu nnyanja n’aligolomola, n’alaba omuti omulungi n’alissa omwo, n’agenda ategeeza nnannyini lyato nga bw’alikomezzaawo. Nnannyini lyato bwe yawulira nti mutabani wa Mubiru agobye ku ttale, teyalwa n’agenda alaba munne gwe yeesiga n’amusaba agende mangu mu mwalo asiike amayinja mu lyato alinnyike mu nnyanja. Gwe baatuma yaddamu nti "Obuuliridde nfuuzi kwennyamira". Akataayi tekaasala naluggya ng’eryato yamaze dda okulinnyika. Kuba Bannansangwa b’e Bumogera bonna baanakuwalira nnyo mutabani wa Mubiru olw’obutaba na busaasizi eri omulenzi gwe yayazika embazzi era baali bamaze ebbanga ddene nga banoonya we banaamukwasiza. Anti okalya dda kadda dda, ejjobyo liddira mu mutwe.


Mutabani wa Mubiru bwe yategeeza munne nti eryato alikomezzaawo oli kwe kumuddamu nti "Ka tugende fenna olindage".
Bwe bessa mu mwalo mutabani wa Mubiru yagenda okutunula we yaleka eryato nga bbanga jjereere. Eyayazika eryato yasekera mu kikonde. Enjuki teyeetoloola na kitooke ng’omusango yaguwaabye dda mu baami. Abaami bonna baagenda okumala okugukubira nga mutabani wa Mubiru ekigwo kye gumukubye n’enkoona enywedde. Olufuubanja Iwe baamusalira okuliwa lwali lwa kuliwa abawala kkumi, ente kkumi, embuzi kkumi n’ebikomo kkumi. Ku bawala ekkumi abaasalibwa, abawaabi baali baagala basooke kutwala Ndagire, mwannyina Mubiru.


Mubiru yalaba eby’okuliwa biyitiridde obungi kwe kuteesa ne batabani be bonna n’abantu be abalala, badduke okuva e Bumogera bagende mu nsiendala. E Bumogera baavaayo kiro mu maato gaabwe. Batabani ba Mubiru abaakoowanga okuvuga amato baasigalanga ku bizinga. Ku kizinga Buvuma kwe kwasigala Kisanje, mu kafo akayitibwa Maggyo. Okuva e Buvuma Mubiru yawummula Busagazi mu Kyaggwe. Bwe yava e Busagazi yagoba mu mwalo Namusoba mu Buzaama. Awo Mubiru we yaleka mutabani we omu eyayitibwanga Muwuna, okukuuma amaato ge n’okulinda banne abaali bakyasigadde emabega. Omwana oyo kyeyava ayitibwa Mulinda oluvannyuma, era ye yasigalira ddala awo e Busagazi.


Mubiru bwe yava e Busagazi n’agenda eri Kabaka Kintu. Yamusanga Mangira mu Kyaggwe n’amusenga era n’amusaba amuwe ekifo mu nsi ye. Kintu kwe kumuwa Kalyango Owengo agende naye, amusimbire Omutuba mu kifo ky’anaaba asiimye. Okuva e Mangira Mubiru ne Kalyango baagenda wamu ne batuuka e Busagazi, ne basaabala amaato ne bagenda nga beetooloola olubalama lwa Kyaggwe ne Busiro. Ne mu Ssese baatuukayo, omwana wa Mubiru ayitibwa Luvule Ssemafumu kwe kusigalayo ku kizinga Sserinnya. Bwe baamala okwekoona e Ssese ne bagoba e Kigungu (e Ntebe) we baawummulako. Bwe baava e Kigungu ne bagoba e Buvvi mu mwalo Mubiru gwe yatuuma Namubiru. Mubiru bwe yalaba nga Buwvi kiri kumpi nnyo n’ennyanja abalabe be be yaleka e Bumogera we bayinza okumugwirako amangu, kwe kusaba Kalyango beeyongereko munda ku lukalu. Awo Mubiru bwe yatuuka ku mutala Kiwumu n’alaba ejjinja ery’olwazi n’atuula nga bw’agamba nti Kaakati nkajadde. Okuva olwo n’okutuuka kaakati olwazi olwo Mubiru kwe yatuula luyitibwa Nkajja.


Okuva ku Iwazi Nkajja, Mubiru yeeyongerako katono mu maaso ku mutala Kiwumu n’alaba ekifo n’azimba awo nga Kalyango amaze okumusimbirawo omutuba. Ekifo Mubiru kye yazimbamu kye kiyitibwa Bubiru nagunogujwa. Mubiru yalina omwana we omukulu ate nga muganzi nnyo mu maaso ge. Omwana oyo naye yali amutuumye Mubiru. Mubiru omuto ekifo kye yasooka okuzimbamu kyayitibwanga Nakatu. Okwawula Mubiru omukulu n’omuto abantu kyebaavanga baboogerako nti "Mubiru ow’e Nkajja", "Mubiru ow’e Nakatu". Era abantu bwe baba balaamiriza mu kwebaza na buli kati bagamba nti:


"Weebale nnyo,
Ow’e Nkajja,
Ow’e Nakatu,
Ow’entamu enjaliire,
Omubi okulya,
Omulungi emirimu,
Naikumma okulya,
Ne nkulyowa omwoyo".


Mubiru ow’e Nakatu kitaawe yali amwambazizza_ n’eddiba ly’engo. Oluusi kyebaavanga bamuyita Mubiru Kirimungo.


Mubiru bwe yamala okutereera ku Kiwumu kwe kutegeeza Kabaka Kintu nga bw’amanyi ennyo okubajja amaato n’okugavuga ku nnyanja, Kabaka naye teyalwa n’amuwa omulimu gw’okumubajjiranga amaato n’okugavuganga okugatuusa yonna Kabaka gy’anaabanga amutumye. Bwe yamala okumuwa omulimu gw’okufuga empingu y’amaato ge yonna, kwe kumuwa n’omutaka Muyanja Owennyonyi amuyambengako mu kubajja amaato.


Amaato ga Mubiru bwe gaamala okubuna ennyanja Nalubaale abantu kwe kwogeranga nti Amaato gabunga. Awo we waava ekigambo gabunga okufuuka erinnya lya Mubiru ery’obwami n’obutaka.


Naye abantu abamu bagamba nti erinnya casunca lyava ku baana ba Mubiru n’abantu be be yajja nabo mu Buganda abaagendanga babunga n’embazzi zaabwe mu byalo okusaka emmere. Mbu Bannansangwa bwe baabalabanga nga bagamba nti:


"Agamogera gabunga n’embazzi, ganaatumalira ebyalo".


Okuva ku Gabunga Mubiru okutuuka ku Gabunga Simeon Galiwango aliko kaakano, Bagabunga baakalya asatu mu bataano.


Gabunga Mubiru bwe yafa baamuggya oluwanga. Mutabani we Ssematimba ye yamusikira. Ssematimba bwe yamala okusikira kitaawe n’agenda akuba embuga ku mutala Jjungo. Okuva ku Gabunga Ssematimba embuga ya Bagabunga yabanga ku Jjungo. Gabunga Alexander Ndiwalana ye yagijjulula ku Michwa II n’agizza ku mutala Ssagala okumpi ne Jjungo. Ku Jjungo Abemmamba baagobako Bangeye abaali abataka baako ab’edda be baasangako.


Mubiru Kirimungo ekifo kye yazimbamu kyatuumibwa "Busami", kubanga Kirimungo ye yali omuwanika w’essami lye baalyangako bombi ne Muganda we Ssematimba. Ssematimba yatumyanga bulijjo essami ewa Kirimungo. Abantu kwe kuyitawo "Busami" na buli kati.


AB’AMASIGA ABATUUKA KU GABUNGA


1. Wampona e Busami Busiro
2. Nankere e Bukerekere Busiro
3. Luvule e Sserinnya Ssese
4. Kiyaga e Ssanda Busiro
5. Miiro e Masaazi, Luubu Mawokota
6. Katenda e Zziba Kyaggwe
7. Mugula e Ntebe Busiro
8. Kisanje e Magyo Buvuma
9. Ssenfuma e Kanyike Mawokota
10. Sebawutu e Nsamu Mawokota
11. Miiro e Zzinga Busiro
12. Wakkooli e Namutamba Busiro
13. Mulinde? e Mulajje Kyaggwe


Bano be b’Emituba abaana ba Baagabunga, abeetuukira ku
Gabunga:


1. Mulondo Ssagala Busiro
2. Lunninze Kiwumu Busiro
3. Kawolobe Luwangala Busiro
4. Ssamba Kisindye Busiro
5: Muzingu Buzingu Busiro
6. Wagaana Kasanje Busiro
7. Luyege Buyege Busiro
8. Mukonde Bukonde (Bussi) Busiro
9. Mukuye Lubya Busiro
10. Mmese Ssakabusolo Busiro
11. Magera Bussi Busiro
12. Ssewaya Buggala Ssese
13. Galiwango Bumbala Busiro
14. Wassaanyi Kigungu (Ntebe) Busiro
15. Ssemwezi Kikondo Busiro
16. Mulinda Busagazi Kyaggwe


Okuva ku Kabaka Kintu Abemmamba baaganja nnyo ku Bakabaka, ne baweebwa n’obwami bungi. Omulangira Kalemeera bwe yagenda e Bunyoro okutunda ebintu by’okuliwa omusango, Mbajja Ddumba ne Nnaabugwamu Kakebe be bamu ku Bemmamba abaawerekera Omulangira oyoe Bunyoro ate ne badda n’Omulangira Kimera. Obuganzi bwa Mbajja ku Kimera bwe bwamwosesa ensimbi n’Omulangira ku kyoto ku kasozi Bwotansimbi, nga bava e Bunyoro. Ku kyoto baaliko basatu: Omulangira Kimera ne Mugema ne Mbajja. Kakebe yalaba Omulangira ne Mugema ne Mbajja boota ensimbi kwe kuzizikiza nga bw’abagamba nti: ‘‘Lwaki mwonoona ensimbi’”’. Olw’okuzikiza ensimbi Omulangira ze yali ayota Kakebe kyebaava bamutuuma Nnaabugwamu. Ku Kakebe Abaganda kwe baggya ebigambo bye bagamba omuntu eyeegatta mu bigambo ebitali bibye. Bamugamba nti:


"Oli w’e Ssambwe (Nnaabugwamu)."


Okuva ku Kimera gwafuuka mukolo mukulu, Omulangira asikira
Obuganda okwota omuliro ng’ali ne Mugema ne Mbajja._ Omuntu
bw’aba agoba munne ku muliro, gwe bagoba kyava abuuza nti:


"Ku kyoto kw’ongoba, kuliko Mbajja ne Mugema?"


Abemmamba baawulikika nnyo ku mulembe gwa Kabaka Nakibinge Omulwanyammuli. Omukyala Naababinge eyazaala Kabaka Nakibinge omwa Mulondo yali muwala wa Kirimungo e Busami. Kibuuka bwe yamala okuttibwa Kirimungo n’agenda e Ssese okubika ewa Wannema nti omwana we afudde. Naye mu maaso ga Wannema teyatuuka, ng’atyayo. Yatuma bantu balala ne batuusa ebigambo ku Wannema. Wannema bwe yabuuza Kirimungo gy’ali nga ne b’abuuza tebakyalaba bigere bimututte. Ebbanga bwe lyayitawo nga Wannema amaze okuliyirwa eggozi, bwe yalaba ku Kirimungo n’amugamba nti Wampona (okutta). Okuva olwo Kirimungo n’ayitibwanga Wampona, n’okutuusa kati.


Abaana ba Sebawutu e Nsamu ne bazzukulu be, omuzira Kyobe Kibuuka baamukolera ebintu bingi ng’atuuse ku lukalu lw’e Buganda kuba yagoba wa Sebawutu. Awo we yava n’agenda e Mbale. Okubeebaza n’okubajjukiranga Kibuuka yabatuuma amannya mangi ge bayitibwa n’okutuusa kati.


Kibuuka bwe yava e Bubebbere yagoba wa Sebawutu mu mwalo oguyitibwa Mulindi. Omwalo ogwo guli ku mugga Bakaye. Mu mwalo Mulindi Kibuuka yasimbamu ekitooke abaganda kye baggyako enjogera egamba nti "Oli kalunsambulira ng’ ekitooke kya Kibuuka". Omuwandiisi w’ekitabo kino bwe yatuuka mu kifo ekyo mu mwaka 1947 yasanga ekitooke kya Kibuuka kalunsa mbulira kyekijje kife. Naye yalaba ku butundu obukalu obwali ku mugogo gwakyo.


Awo okumpi n’omwalo Mulindi Kibuuka we yasanga muzzukulu wa Sebawutu eyayitibwanga "Kyajjakuzimba" ne mutabani wa Kyajjakuzimba eyayitibwanga Ssekabembe. Kyajjakuzimba ye yasomba ebintu bya Kibuuka okubiggya mu mwalo okubituusa mu kifo ekiyitibwa Kirimirire Kibuuka we yasooka okukuba olubiri lwe. Kyajjakuzimba bwe yamala okusomba ebintu bya Kibuuka,Ki buuka n’amugamba nti "Ggwe Kasomba". Okuva olwo erinnya Kasomba lyafuukira ddala lya bwami mu Ssiga lya Sebawutu, n’ekyalo Kibuuka mwe yayita ng’ebibye babyetisse okutuuka mu kifo Kirimirire kwe kukituuma Busomba.


Kibuuka bwe yasaba Sekabembe amazzi ag’okunywa, Ssekabembe amazzi yagaleetera mu lwendo olwalimu ennyenje. Kibuuka kwe kugamba Sekabembe nti “Ggwe Nnyenje”. Oyo naye erinnya erya Nnyenje lyamufuukira lya Butaka n’okutuusa kati. Mutabani wa Sebawutu eyayitibwanga “Mawale” bwe yalaba amaliba ga Kibuuka nga gakakanyadde n’agakunya. Bwe yagamala, Kibuuka okumwebaza n’amugamba nti "Ggwe Nkunyi".
Kibuuka bwe yeyongera mu maaso n’asanga mutabani wa Sebawutu omulala eyayitibwanga “Kabwama”. Kabwama bwe yalaba Kibuuka n’amutya nnyo n’amudduka. Oyo Kibuuka kwe kumutuufma Lubende.


Lwali lumu nga Kibuuka akyali ewa Sebawutu n’asanga mutabani wa Sebawutu eyayitibwanga “Malumba”. Malumba yali akutte mu ngalo omulongo we naye nga ku mulongo kuliko ennumba nnyingi nnyo. Kibuuka kwe kumugamba nti "Oli kijjo".
Oyo naye erinnya erya Kijjo teryamuviirako ddala na guno gwaka. Ate olulala Kibuuka yali atambulatambula n’asanga Omunyoro. Omunyoro oyo yali muweesi ng’ayitibwa Wali-akamwa. Omunyoro bwe yalaba Kibuuka n’adduka. Awo okumpi waaliwo muzzukulu wa Sebawutu eyayitibwanga Jooga. Jooga Kibuuka gwe yalagira okunoonya Wali-akamwa. Bwe yamulaba n’amuleeta Kibuuka n’amutta. Kibuuka kwe kugamba Jooga nti "Gowe Kizuula".


Kibuuka bwe yeeyongera mu maaso n’asanga mutabani wa Kizuula eyayitibwanga Mpasa. Mpasa yalina amabwa mangi ku magulu, Kibuuka kwe kumutuuma Nnamabwa. Omwana wa Nkunyi eyayitibwanga Kikoyo ye yali omubumbi w’emmindi za Kibuuka. Oyo Kibuuka yamutuuma Ssekibumba. Nkunyi, Lubende ne Kijo gye Mituba esatu egituuka ku Sebawutu ow ’Essiga. Kasomba, Nnyenje, Kizuula, Nnamabwa ne Ssekibumba nabo Bataka bakulu ku Nsamu.


Mawuba e Busunju ye yayimiriza abalangira Kikulwe ne Mawanda n’abalala, wamu ne mwannyinaabwe Nassolo Ndege, abaali bagenda e Bunyoro nga badduka Kabaka Kagulu, ng’amaze okwesala akajegere. Abalangira bombi ne Nassolo Ndege, Mawuba yabakweka mu maka ge okutuusa lwe baakula n’atta nabo omukago n’abakulembera okutuusa Iwe baagoba Kagulu ku Bwakabaka ne buweebwa Kikulwe. Mawuba Obwakabaka yabu kuumako akaseera ng’Obuganda tebunnaterera. Olw’okubanga Mawuba yakuuma ku Bwakabaka Abemmamba ab’omu Ssiga lye oluusi kyebava beeyita abalangira era abantu baabaggyako n’enjogera egamba nti: "Toli Wammamba oli Mulangira". Ku Mawuba era kwe baggya enjogera egamba nti: “Olizza ebigenda, Mawuba bye yazza e Busunju””. Ebigambo ebyo babigamba omuntu eyessa ku bintu ebimuyitiridde obunene, kuba Mawuba Abalangira be yazza ku IJnoma baali bantu ba kitiibwa nnyo.


EMIRIMU GY’ABEMMAMBA KU KABAKA


1. Gabunga ye yali omukulu w’Empingu ya Kabaka yonna nga bwe tulabye.


2. Mu mpisa z’Obwakabaka bw’e Buganda Omulangira eyasikiranga Obwakabaka teyayitibwanga Kabaka ddala nga tannagenda Bukerekere ewa Kyasooka Nankere, okukakasibwa okuba Kabaka. Awo Omulangira alidde Obuganda bwe yatuukanga e Bukerekere n’ayingira mu nju ya Nankere eyayitibwanga Namiryango. Ennyumba eyo yabangako emiryango ebiri, omunene n’omutono. Kabaka yayingiriranga mu mulyango omunene Nankere n’ayingirira mu mutono. Mu nnyumba wakati Kabaka ne Nankere mwe baasisinkananga nga ne Namasole tabuzeewo. Ennyumba eyo baagituulangamu abantu basatu bokka. Kabaka yabanga asumise ebifundikwa by’embugo bibiri era nga ne Nankere asumise bibiri. Awo nga bali mu nju ne batuukiriza eby’emizizo eby’okukula kwa Kabaka. Nga biwedde Nankere n’agamba Kabaka nti:


"Kaakano ofuuse Kabaka, genda olamule Obuganda". Bwe yamalanga ebyo n’agamba Namasole nti:


"Naawe kaakano oli Kabaka, genda ozimbe olubiri olulwo e Lusaka. Kabaka munno tokyamulabako".


Ebyo bwe byaggwanga Kabaka n’afulumira mu muzigo ogw’emmanju, Namasole ne Nankere ne bafulumira mu gw’omu maaso. Okuva olwo Namasole ne Nankere tebaddangayo kulaba ku Kabaka.


Era awo ewa Nankere e Bukerekere Kabaka gye yaggyanga muzzukulu wa Nankere gwe yassanga ebikonde. Omuntu oyo yaweebwangayo nga saddaaka okuttibwa mbu Kabaka awangaale ku Bwakabaka. Omuntu ow’okutta baamuggyanga wa Kayonga era baamuttiranga ku kasozi Kaggwa e Bukerekere. Ku mpisa y’okutta Abakerekere olw’emikolo gy’okukula kwa Kabaka, Abaganda kwe baggya enjogera gye bagamba omuntu atatya kukubwa. Bamugamba nti:


"Olifa bikonde nga Bakerekere".


Ku Mukerekere Kabaka gwe yattanga olw’okukula kwe abambowa kwe baggyanga emiziisa gye baakolangamu amagotto ge baakubyanga ku bantu. Era ku magotto ago kwe kwava n’erinnya Nabigotto erituumwa abaana abawala ab’e Bukerekere.


Abakerekere baalina eddembe mu biro eby’edda ebyabangamu ebiwendo eby’okuttibwa. Bo tebaakwatibwangako. Eyakubanga ku Bakerekere nga bamugamba nti abantu Kabaka b’akulirako b’ozannyisa?


3. Ssemanobe Omutaka akuuma olusozi Buddo Kabaka kw’atikkirirwa Engule mwana wa Mugula e Ntebe. Ssemanobe alina obukulu bunene nnyo ku lusozi Buddo.


4. Kiyini ow’omu Kikondo omuwazi w’amaliba g’Ekiwu kya Kabaka twalaba nga Wammamba.


5. Abemmamba baggazi ba Kabaka bakulu. Wakkoli y’aggala oluggi "Bandabyekiremba" ne "Kagerekam" ne "Kaalala". Nalongo nalwo lwa Bammamba. Wansanso nalwo lwali lwa Bammamba. Katenda e Zziba mu Kyaggwe ye yaluggalanga. Mu buggazi Abemmamba baali Bassaabaddu ku Mulamba.


6. Kikome y’omu ku bakyala abakulu abalina obwami obw’ensikirano mu Lubiri lwa Kabaka.


7. Nammenyeka ow’e Namagera mu Busiro y’omu ku basumba b’ente za Kabaka abakulu. Ente ya Kabaka enkulu Nammenyeka gy’alunda eyitibwa Nakawombe.


8. Namukoka e Ggoli yali omu ku Bataka abaalongoosanga ebiyigo bya Kabaka.


9. Kasiga e Bbendegere ye yali Kabona wa Lubaale Nagaddya.


10. Mukanga ow’omu Kikanga, Kiwumu, y’afuuyira Kabaka ekkondere eriyitibwa Kawunde.


11. Kimera bwe yamala okulya Obuganda obwami bw’e Bulemeezi yabuwa Nnaabugwamu eyabufuga okutuuka ku mulembe gwa Ssekabaka Mawanda. Nnaabugwamu embuga ye yagissa Ssambwe. Nnaabugwamu ne Mbajja ow’e Namayamba baali bambowa ba Kabaka.


BANO BE BAKABAKA ABAAKAZAALIBWA ABAKAZI ABEMMAMBA
1. Ttembo
2. Nakibinge
3. Ssuuna I
4. Mutebi
5. Jjuuko
6. Kayemba
7. Ssuuna II
8. Kiweewa
9. Kalema


Zakaria Kizito Kisingiri eyali omu ku Balegenti Abasatu ku Michwa II era Omuwanika wa Buganda okuva 1900-1917, yali wa mu Kika kino.


Mukajanga omumbowa wa Ssekabaka Muteesa I ne Mwanga II, naye yali Wammamba.


Mukwenda Nakaswa eyagaziya ennyo essaza Ssingo ku mulembe gwa Nakibinge yali Wammamba. Bwe yafa baamuggya oluwanga ne balussa e Buwalula.


 



 

Amannya ga be Mmamba

Abawala
Bakanansa
Balyama
Batwenda
Bayigga
Bugingo
Bulagulwa
Bulyera
Kanyange
Kataggya
Kayaga
Kikome
Kiribakka
Kiwuka
Kyazike
Kyobuula
Kyotowadde
Masane
Mbeekeka
Mpaalugamba
Mwennyango
Naababinge
Naabalende
Nababinge
Nabaziwa
Nabigotto
Nabiryo
Nabisaanyi
Nabisenke
Nabitaka
Nabiwemba
Nabukomeko
Nabuwule
Naddamba
Nagaddya
Nakabo
Nakabonge
Nakaggwe
Nakanyi
Nakanyike
Nakanyolo
Nakawuka
Nakawunde
Nakaye
Nakiberu
Nakiboneka
Nakibuuka
Nakifamba
Nakiku
Nakisanje
Nakiwolo
Nakkazi
Nakyabula
Nakyekoledde
Nalubuula
Naluutu
Nalwooga
Namatiko
Namayanja
Namazime
Nambalirwa
Nambawa
Nambogoli
Namisanvu
Nammande
Nammiro
Namubiru
Namugaanyi
Namugambe
Namugazi
Namulindwa
Namutebi
Namuwaya
Namyalo
Namyenya
Nanfuma
Nankonyo
Nankya
Nannyinji
Nansasi
Nansove
Nansubuga
Nanvuyano
Nanzira
Nassuuna
Nattembo
Nawaali
Nawoova
Nazzinda
Nazziwa
Ndagire
Ndibuwakanyi
Nsangi
Ntuulo
Tuliraba

Abalenzi
Bambaali
Bawonga
Bbwete
Budde
Bukomeko
Bunjo
Buwalaza
Buwule
Buwunga
Bwogezi
Ddamba
Galiwango
Gayira
Kabonge
Kabwama
Kaddeyo
Kaddukibuuka
Kagenda
Kaggwe
Kagudde
Kajebede
Kakebe
Kakuku
Kaliga
Kalugye
Kalulwe
Kamirante
Kamunya
Kanaabi
Kannyo
kanoonya
Kanyi
Kanyike
Kanyolo
Kasasa
Kasawuli
Kasozi
Katabalwa
Katebere
Katenda
Kavulu
Kaye
Kayima
Kayizzi
Kibenga
Kiberu
Kibinge
Kibunga
Kidde
Kiddu
Kifamba
Kigembekyawatema
Kiggwa
Kigoonya
Kigula
Kijjambu
Kikabu
Kikwaku
Kirabira
Kisawuzi
Kisuze
Kitaka
Kitekemakonwe
Kitonsa
Kituuka
Kiviiri
Kiyaga
Kiyegga
Kizito
Kizuula
Kunobwa
Kyaki
Kyameze
Kyanamira
Kyangwe
Kyoloobi
Luberenga
Lugayaavu
Lugayizi
Lugesera
Lulume
Lumunye
Lunninze
Lutaaya
Luutu
Luyima
Luyombo
Luzinda
Lwanjoka
Magembe
Mangaala
Masooto
Matembe
Mayembe
Mazime
Mbizzi
Mbogoli
Mbolijaawa
Mbulakaayo
Miiro
Mpindi
Mpumbu
Mubiru
Mugaanyi
Mugazi
Mugwanya
Mujobe
Mukalazi
Mukedi
Mukuye
Mulima
Mulinde
Mulindwa
Musulo
Mutebi
Nakazaana
Nakirya
Ncyacyancya
Ndiwalana
Njuki
Nkajja
Nkangi
Nkata
Nkooka
Nkugwa
Nnabimba
Nnaggenda
Nnyanga
Nsubuga
Ntabaala
Piitu
Sammula
Segembe
Seggombya
Seggumba
Sekkuubwa
Semasaazi
Sendiwala
Settaba
Sevviiri
Ssambwa
Ssebalu
Ssebanakitta
Ssebayizzi
Ssegaali
Sseggane
Ssekatawa
Ssekazaana
Ssekibenga
Ssemafumu
Ssemanda
Ssemanobe
Ssematimba
Ssemayanja
Ssembwa
Ssempaka
Ssempebwa
Ssempiri
Ssemutemu
Ssemweezi
Ssendiwala
Ssengule
Ssenkonyo
Ssenkooto
Ssennyama
Sserugooti
Sserungunda
Sserwanja
Ttonda
Twaliraana
Wagaana
Waggumbulizi
Wassago
Zzibukuyimbwa
Zzinda
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;