EKIKA KY’EMPEEWO (Oribi)
AKABBIRO: Kayozi


OMUBALA: "Mpiima ne Nnampiima bagenda e Kkungu, ejjinja lino terinyeenya".


Kibaale agamba nti jjajja w’Ekika ky’Empeewo ye Sseryazi Ssebbaale. Mbuerinnya Sseryazi Ssebbaale lye lyakyusibwa ne lifuuka KIBAALE. Kaakano Kibaale ye mukulu w’Ekika ky’Empeewo ow’akasolya. Obutaka bwa Kibaale obukulu buli Kkungu mu Kyaddondo. Embuga ya Kibaale edda yabanga mu kifo ekiyitibwa Bbula, ku Kkungu. Sseryazi Ssebbaale afaanana okuba ng’olubereberye yayitibwanga KKUNGU. Abasika ba Kkungu balinga be baatuumibwa amannya ago Sseryazi Ssebbaale ne Kibaale.’ Ebigambo ebifumibwa ku kutandika kw’obutaka bw’Abempeewo obw’e Kkungu Kibaale abinyumya bw’ati:


Olwatuuka Kkungu n’ava gye yabeeranga, n’ayagala okugenda eri Kabaka w’e Bunyoro amusabe amukkirize okugoba Kabaka eyali afuga Obuganda, ye abweriire. Kkungu bwe yatuuka awo okumpi ne Migadde n’asula awummuleko. Ekifo Kkungu mwe yatuukira kiyitibwa Buyoozi. E Buyoozi Kkungu yali agenderedde kumalawo ennaku bbiri zokka agende e Bunyoro. Naye abantu be yasanga mu kitundu ekyo bwe baamulaba ne batwala mangu ebigambo eri Kabaka ne bamugamba nti:


"Wano e Buyoozi wazzeewo omusajja, naye si musajja kijjooloto, bw’otomwetange mangu ajja kukulyako obwakabaka bwo".


Kabaka bwe yawulira ebyo naye n’atuma mangu ababaka, ne batwalira Kkungu eby’obugagga bingi: abakazi, abaddu, abazaana, ente, embuzi, embugo, n’ebintu ebirala bingi nnyo. Kkungu bwe yeetoolooza amaaso ekifo we yali ayimiridde, emmeeme ye n’ekuba ejjebe okulaba akafukunya k’ebintu by’afunye. Bwe yamala okulaba obutitimbe bw’ebintu by’alimu, olugendo lw’e Bunyoro n’alutta, ne yeebeerera awo mu bwaliri bwe. Waayita ebbanga ttono Kasoma Owoolugave naye n’ayagala okutuukiriza olugero Oluganda olugamba nti: "Ekinene kisingirwa, enseenene zigenda na vvu".


Kyeyava addira muwala we eyayitibwanga Nampyangule n’amuwa Kkungu abeere mukyala we. Kkungu ne mukyala we Nampyangule e Buyoozi tebaavirawo ddala. Bwe baamala okufa ne bafuuka amayinja agayimiridde awo e Buyoozi. N’entamu zaabwe zaafuuka amayinja, era bali nazo awo. Ku Kkungu Abaganda kwe baggya enjogera egamba nti:


"Nnaasula bbiri, Kkungu Buyoozi".


Kuba Kkungu eyali agenderedde okumala ennaku ebbiri ku Buyoozi, yatuulira ddala bukonge, nagunogujwa tavangako.  Olugendo olw’okujja kw’Abempeewo mu Buganda, Omutaka KIGGYE ow’e Bubiro ye alunyumya bw’ati: Agamba nti Abempeewo ababereberye mu Buganda, bajja basatu: 1. Kkungu, 2. Kaddu Kibirango, 3. Kiggye. Ab’oluganda abo abasatu okujja mu Buganda baava Masaaba ne batuukira e Bwanika mu Bubiro. Omiwalo gwe baagobamu e Bubiro gwe guyitibwa Kibirango. Mu Buganda baatuukamu nga Ssekabaka Mutebi y’ali ku Namulondo.


Okuva edda, Abempeewo, ewa Kabaka Mutebi e Kkongojje gye ‘balanya, okutegeeza nti oyo ye Kabaka eyabawa obutaka mu Buganda. Mbu ejjinja Kizira eriri mu nnyanja y’e Kasirye, lye lyali eryato ly Abempeewo eryabatambuzanga ku nnyanja.


Kkungu bwe yava e Bubiro kwe kujja e Buyoozi n’okufuna obwami obwa Kibaale ku Kabaka. Kiggye agamba nti ye yasigala nga ye jjajja w’Ekika ky’ Abempeewo kuba ye yasigala mu kifo we baatuukira nga bava e Masaaba. Naye erinnya "Kibaale"
abasika ba Kkungu balinga baalituumwa luvannyuma, nga ligenderera okutegeeza nti:


"Omuntu w’omu Mayinja".


Kuba mu biro eby’edda Olunyoro lwayogerwanga mu bitundu bya Buganda bingi. Ate nga mu lulimi Olunyoro amayinja yayitibwa "mabaale".


BANO BE BAKULU AB’AMASIGA ABATUUKA KU KIBAALE KAAKANO


1. Ssenjala e Bugambe (Kkungu) Kyaddondo
2. Mayungwe e Kiryammuli (Kkungu) Kyaddondo
3. Kiggye e Bubiro (Kkungu) Kyaggwe
4. Kiryowa e Kiryowa (Kungu) Kyaddondo
5. Ffumbe e Lukanga (Bubiro) Kyaggwe
6. Mugwe e Ssambu (Bubiro) Kyaggwe
7. Kalinda e Lugoba (Bubiro) Kyaggwe
8. Kaddu e Derema (Bubiro) Kyaggwe
g. Kinonko e Nvugala (Bubiro) Kyaggwe
10. Kaganda e Nvugala (Bubiro) Kyaggwe
11. Kalogo e Ggolomolo Kyaggwe
12. Mukuula e Ssanga (Kigoogwa) Kyaddondo
13. Lubowa e Kiwangaazi (Kkungu) Kyaddondo
14. Ssemannya e Nkoma (Kkungu) Kyaddondo
15. Mugambe e Zzinga (Kkungu) Busiro
16. Ggombe e Kiwangaazi (Kkungu) Kyaddondo
17. Ssemayizzi e Lubumba (Bubiro) Kyaggwe
18. Ssekyobe e Luleka (Bubiro) Kyaggwe
19. Kiyimba e Kasanga (Bubiro) Kyaggwe
20. Kitera e Butera Kyaddondo
21. Kacucu e Kyakacucu Ssingo
22. Kalyankolo e Bulyankolo (Kkungu) Kyaddondo
23. Kayobyo e Bukita (Kkungu) Kyaddondo
 
EMIRIMU GY’ABEMPEEWO KU KABAKA


Omulimu gw’Abempeewo ogusinga obukulu ku Kabaka gwe gw’Obwakibaale. Omulimu ogwo twamala dda okugunnyonnyola nga twogera ku mannya ga Kabaka ne ku mannya g’Abataka abakolera Kabaka emirimu emikulu egy’ensikirano.



Mu Ssiga lya Ssenjala mwe basinga okutuuma abalenzi amannya gano: Ssenjala ne Mugambe.



 


 

Amannya ga be Mpeewo

Abawala
Buliiro
Ggiibwa
Katana
Nabikolo
Nakaddu
Nakagiri
Nakamwa
Nakibirango
Nakibungo
Nakiryowa
Nakyoto
Namugambe
Nnakkungu
Nnampiima

Abalenzi
Bugembe
Kabanga
Kaddu
Kagiri
Kalinda
Katotto
Kibirango
Kiryowa
Kisekwa
Kitta-engo
Kkulubya
Kyasi
Lubuulwa
Lukooya
Makoosi
Masaaba
Mayala
Mayungwe
Mpiima
Mukona
Naduli
Nampuuma
Ssejjuuko
Ssekamwa
Ssenkubuge
Sseryazi
Ttuntu
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;