EKIKA KY’EMPINDI (Cow/Pigeon Pea)
AKABBIRO: KIYINDIRU


Jjajja w'Ekika ky’Empindi ye Katangaza, naye omukulu akifuga kaakano ye MAZIGE ow’e Muyenje mu Busiro.


Katangaza yajja ne Kintu mu Buganda. Bwe baatuuka mu Buganda Kintu n’awa Katangaza olusozi Nsumba oluli mu Mawokota. Ku Nsumba Katangaza kwe yazaalira abaana be Mbogga ne Mazige.


Omulangira Kalemeera bwe yali agenda e Bunyoro okutunda ebintu eby’okuliwa omusango gwe yazza ku Katikkiro Walusimbi, Katangaza n’alonda mutabani we Mazige okuwerekera Omulangira. Omulangira Kimera bwe yali ng’ajja okulya Obuganda Mazige naye n’akomawo wamu naye. Era Mazige bwe yali ajja n’Omulangira, n’aweebwa omulimu gw’obusumba. Kimera bwe yamala okulya Obuganda n’alaba olusozi Muyenje n’aluwa omusumba we Mazige. Okuva ku Kabaka Kimera n’okutuusa kaakano obutaka bwa Mazige buli ku lusozi Muyenje era omulimu gwa Mazige omukulu ku Kabaka gwa busumba. Ente ya Kabaka enkulu Mazige gy’alunda eyitibwa “Mbulidde’ (Obwakabaka). Omulangira bw’aba alya Obuganda Mazige aleeta ekyanzi ky’amata n’akimulaga nga bw’alaamiriza nti:


"Nze musumba wo, eyawa jjajjaawo Kimera amata. Nze nnunda ente yo Mbulidde".


Kabaka bw’amala okukirasaako Mazige n’akiggyawo.


Edda Mbogga ow’e Nsumba ye yafuganga Ekika ky’Empindi kyonna, naye oluvannyuma obukulu bwakyuka ne budda ku Mazige.


Mu ntabaalo za Ssekabaka Mawanda ezaawangula Obukunja Mazige yalonda mutabani we Mugalu okugenda okulwana wamu ne Kabaka. Kabaka Mawanda bwe yamala okuwangula Obukunja, n’alaba ekyalo Nambeta n’akiwa Mugalu, era n’amuwa n’erinnya erya Kamyuka, ate n’amuwa n’obulangira, era n’amukkiriza okwambalanga ebikomo. Kamyuka Mugalu kwe kubeera e Nambeta nga talaba ku Kabaka. Oluvannyuma Kamyuka yalonda mutabani we Kawenyera okumukiikiriranga eri Kabaka.


Ekiseera bwe kyayitawo Kawenyera naye n’afuna obutaka obubwe e Kiringo ku lusozi Bwabye, era naye n’ayitibwa Kamyuka era n’aba mulangira nga kitaawe.


Ekiseera Mazige kye yamala mu Bunyoro ate n’ekiseera Kamyuka Mugalu ne Kamyuka Kawenyera bye baamala mu Bukunja, baayigiramu empisa ze baasanga mu bifo ebyo. Empisa ezo, edda ze zaabaleetangamu enjawulo ne baganda baabwe ab’e Nsumba. Amannya gano abiri gayinza okutulaga enjawulo eyajjawo mu mannya ge batuuma e Nsumba ne ge batuuma e Bukunja:


Ab’e Nsumba lye bayita Mbogga ab’e Bukunja baliyita Mboowa.
Ab’e Nsumba lye bayita Nalule ab’e Bukunja baliyita Nalube.


Kaakano Ekika ky’Empindi kirimu Amasiga asatu:


(1) Mbogga e Nsumba Mawokota
(2) Kamyuka Mugalu e Nambeta (Ggunda) Kyaggwe
(3) Kamyuka Kawenyera e Kiringo Kyaggwe


Omulimu gwa Mbogga ku Kabaka gwa Bukomazi. Ate Mukusu ow’e Nakisunga mu Kyaggwe ow’omu Ssiga lya Mbogga, edda ye yali ku mulimu gw’okukuuma ejjembe lya Kabaka eryayitibwanga ‘“‘Nantaba”. Lukwanzi y’omu ku Bataka abakuuma Namulondo.



EMIBALA


Emibala gy’Abempindi nagyo tegivuga bumu.


Egya Mbogga:
1. "Tungulako emu (enkejje)."
2. "Kababembe cca, kababembe, nkejje zattu, cca."


Ogwa Mazige, Kamyuka Mugalu ne Kamyuka Kawenyera: "Samba egotto."


 

Amannya ga be Mpindi

Abawala
Bulyaba
Najjuuko
Nakabanda
Nakafu
Nalube
Nalule
Nalyazi
Namboowa
Namugaanyi
Namugenyi
Namuswe
Namuyimbwa
Nannozi
Nansalo
Nansumba
Nawambwa

Abalenzi
Bwabye
Kabanda
Kasenge
Katantazi
Kawenyera
Kaziba
Kikambi
Kitenda
Kyaluula
Kyeswa
Lutimba
Lyazi
Matutu
Mbere
Mbogga
Mbogo
Mboowa
Mugalu
Mugenyi
Mukuuma
Muluuta
Muwoone
Muwube
Muyimbwa
Muyobyo
Nalikka
Nnankyama
Nsumba
Ntabaazi
Ntulume
Ssalambwa
Ssebadduka
Ssekaluvu
Ssendegeya
Ssensawo
Sserubende
Ssewambwa
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;