Ekika ky'Ababiito ab'eKkooki
Akabbiro: Mazzi ga Kisasi
Omukulu w'ekika: Kitahimbwa
Obutaka: Kassebukengere e Sserinnya mu Ssaza ly'e Kkooki
Omubala: "Butente, Butente, Butente, Akulembedde Mukooki, Asigadde emabega Muganda"
Kooki bwali bwakabaka obwetongodde. Omulangira Bwowe omwana wa Isansa Gaabigogo kabaka wa Bunyoro ye yabutandika. Kakaba oyo yazaala abaana basatu, Duhaga, Bwome na Kitayimbwa. Isansa bwe yali afa, yagabira abaana be e bitundu ku nsi ye. Duhaga bwe yaiska, teyakkiririza kukutula mu nsi ye. Bwe baayomba, Duhaga nawa Bwome ekitundu kye, sso ye Kitahimbwa n’atamuwa. Bwowe neye kye yava agaana key baamuwa. Bwowe we yagenda mu Nkole okukyala, eyo hey yasanga abaamugamba nti “E Kooki teri Kabaka, eriyo omufuzo Kazingiza Omukirama eyava e Bukerewe, kati ekyazzibwa e Tanzania. Bwe yaddayo a Bunyoro, nasaba Mukulu we Duhaga omukkirize akutabaala Kkooki. Okumusiibula, yamuwa effumu n’engoma. Nga by’enyo mu 1966 gavumenti eya wakati bye yatwala nga eggyewo obwakabaka. Okusoma ebisingawo soma ekitabo kya “Abaganda ab’edda” ekyawandiikibwa Dr. Adam Kimala.
AMASIGA
Bwowe
Isansa Lwampanja
Kitayimbwa Kayiba
Kitayimbwa Lubambula
Mugenyi
Ndawula
Amannya ga be Babiito-Kooki
Kyangwa
Ndagano
Nnaluwaga
Nnamugenyi
Nnandawula
Abalenzi
Bwobe
Gabigogo
Kayiba
Kitayimbwa
Kyebambe
Lubambula
Luwaga
Mugenyi
Muyondo
Ndawula
Ssansa
Winyi