EKIKA KY’EMPOLOGOMA (Lion)
AKABBIRO: Ngo


OMUBALA: "Namuguzi akaabira Kasagga."


Ebiwanuuzibwa Abempologoma ku kutandika kw’Ekika ky’Empologoma bigamba bwe biti:


Olwatuuka Kabaka Kintu n’azaala omwana we omulenzi n’amutuuma erinnya Ssebuganda. Ssebuganda yazaalirwa ku kyalo Ttula mu. Kyaddondo. Ssebuganda okuzaalibwa_ng’ekibuga kya Kintu kiri ku Kanyanya. E Kanyanya Kintu gye yasinziira n’akuba ekibuga ekirala ku lusozi Lwadda oluli mu Kyaddondo.


Lwali lumu nga Kabaka Kintu ali ku Lwadda empologema ne zikaabira ku lusozi Kasalirwe oluli mu Kyaddondo. Kintu olwaziwulira n’agenda aziyigga wamu ne mutabani we Ssebuganda. Bwe baazisaggula empologoma ensajja n’efubutuka n’ejja awaali Ssebuganda. Ssebuganda teyagirwisa n’agikuba omuggo gumu n’efiirawo mbulaga. Enkazi bwe yajja okulwana nayo ne bagitta. Okuyigga bwe kwaggwa Kintu n’addayo mu kibuga kye ku Lwadda, n’aleka nga Ssebuganda abaaga empologoma aziggyeko ennyama gye banaalya era n’okuggyako amaliba.


Kintu bwe yatuuka eka yasanga mukyala we azadde abaana babiri Wasswa ne Kato. Awo Kintu kwe kutumira Ssebuganda ng’amutegeeza nti nnyina azadde abalongo. Ssebuganda teyalwayo n’ajja n’ennyama yaabwe n’omuggo gwe yassisa empologoma. Kintu bwe yalaba omuggo gwa Ssebuganda ogwatta empologoma n’agukwata ate n’aguzza wansi nga bw’agamba nti "Guno si muggo luwaga". Obudde bwe bwakya enkya baagenda okulaba ng’omuggo gufuuse ejjinja. Na kaakati ejjinja eryo mu Lwadda mwe liri era baliyita Luwaga.


Era my kiro ekyo Kintu ne Ssebuganda lwe baalya ku nnyama y’omuyiggo gwabwe. Naye bwe baamala okugirya tebaalwa ne batandika okusesema. Kintu yalaba ennyama emusesemezza n’alayira nti "Nze n’abaana bange tetukyaddayo kulya nnyama ya mpologoma".


Waayita ebbanga ttono ng’ebyo biwedde, Kintu n’alagira Ssebuganda aleege obugoma bubiri ateme n’eminyolo ena. Ssebuganda naye kwe kutuma mutabani we Mululu Kasumba Kireega aleege obugoma obwo era ateme n’eminyolo nga Kabaka bwe yalagira. Ennoma bwe zaggwa okuleega nga n’eminyolo giwedde okutema Kintu n’atwala eri mutabani we Ssebuganda olukanda. Embaga y’abalongo bwe yaggwa Kintu n’ava ku Lwadda n’agenda akuba ekibuga ku Bukesa mu Butambala, Ssebuganda n’asigala ku Lwadda. Kintu bwe yali ng’ali ku Bukesa n’ayita Kisolo Ssebyoto n’amulagira okutumya Ssebuganda agende e Bukesa wamu n’amaliba g’empologoma ezattibwa era n’obugoma obwaleegebwa. Ssebuganda bwe yatuusa ebintu ebyo e Bukesa Kintu n’amulagira okwaliira eddiba ly’empologoma erimu wansi n’okumusumikira eddala wamu n’olubugo. Ekyo bwe kyaggwa Kintu n/alagira Aboolugave okukuba obugoma. Kintu yalaba abantu basanyuse olw’okuwulira ennoma ezo nga zivuga n’agamba nti "Guno mujaguzo". Awo erinnya Mujaguzo we lyatandikira.


Awo Ssebuganda bwe yafa mutabani we Ssegamwenge n’amusikira. Ssegamwenge y’omu ku Bataka abaawerekera Omulangira Kalemeera ng’agenda e Bunyoro okutunda ebintu eby’okuliwa olufuubanja. Ssegamwenge bwe yatuuka e Bunyoro n’asuubulayo enkumbi nnyingi nnyo ze yajja nazo e Buganda.


Abantu b’e Buganda bwe baalaba enkumbi ezo kwe kumutuuma NAMUGURI. Na kaakati omukulu w’ekika ky’empologoma ow’akasolya ayitibwa Namuguzi. Namuguzi Ssegamwenge ye yasumikira ne Kabaka Ccwa I ng’alya Obuganda. Naye ku Kabaka oyo Ccwa I Namuguzi kwe yakoma okusumikira Bakabaka.


Bakabaka abaddirira Ccwa I baayagala nnyo Namuguzi ne bamuwa n’entamiivu okumuvugiranga. Era Kabaka Kateregga yagaba mutabani wa Namuguzi okutabaala Abanyoro abaali mu Ggomba. Omugabe oyo Kabaka yamuwa n’omusebeyi omwana we Omumbejja Nnabaloga. Omugabe bwe yalumba Abanyoro ne bamusinga amaanyi, ne bagoba eggye lya Kabaka. Omumbejja naye katono bamutte. Yawonera mu mpuku mu kibira ekiyitibwa Kuzimu, ku lusozi Sugeezi mu Ggomba. Kabaka yalaba omugabe oyo Abanyoro bamulemye okugoba mu Ggomba kwe kumutuuma erinnya erya Kawemula, eyawemula Obuganda. Kawemula yasigalira ddala mu Ggomba era kaakano Mutaka waamu mukulu.


Ssekabaka Jjuuko ne Namuguzi Ggenza Ziziiri bombi wamu be baatabaala Omunyoro Misagga eyali mu Bulemeezi ne bamugoba. Bwe baamala okumugoba Kabaka n’agamba Namuguzi nti "Kirungi entamiivu eyiyo ogiggye mu Lwadda ogitwale e Kasagga gye tugobye Omunyoro, gy’eba evugiranga". Okuva olwo n’okutuusa kaakati obutaka bwa Namuguzi obukulu buli Kasagga mu Bulemeezi. 


Bakabaka abaddirira Jjuuko baakyawa nnyo abantu b’Ekika ky’Empologoma era ne babayiggannya okubatta. Ensonga eyabayigganyisa kwe kweyita abalangira n’okwetuuma amannya ag’abalangira.


Ab’Amasiga g’Empologoma abali mu Buddu baana ba Namuguzi Ggenza Ziziiri; baava Kasagga ne bagenda basenga Kabaka w’e Bunyoro. Bwe baavae Bunyoro ne baweebwa ebifo mu Buddu. Bwe baatuuka mu Buddu abamu ne bayingira mu Kika ky’Ababoobi (Abaamazzi g’ckisasi). Mu Kika ky’Amazzi g’ekisasi abamu mwe baasinziiranga ne bagamba nti "Ffe tweddira kasolo k’eBunyoro". Empologoma gye baagendereranga okubuza nga bagiyita akasolo k’e Bunyoro. Naye mu kiseera kino abamu Ekika ky’Amazzi g’ekisasi bakivuddemu ne baddayo mu Mpologoma. Naye ekitabo kino kiwandiikiddwa nga waliwo Amasiga mu Buddu agakayaanirwa Namuguzi n’omukulu w’Ekika ky’Ababoobi. Amasiga ago tegalagiddwa mu kitabo kino mu Bika byombi eky’Empologoma n’eky’Amazzi g’ekisasi, kuba gakyalimu enkayaana.


ABAANA BA NAMUGUZI AB’AMASIGA ABAMUTUUKAKO


1. Ssegamwenge e Lwadda Kyaddondo
2. Kasumba e Kasalirwe Kyaddondo
3. Kirubaale e Ziroobwe Bulemeezi
4. Kabengwa e Bubengwa Bulemeezi
5. Kawemula e Buwemula Ggomba
6. Ssembiro e Kkulambiro Kyaddondo
7. Luguma e Bukakkata Buddu
8. Kakadde e Mpuku Kyaggwe


EMIRIMU GY’ABEMPOLOGOMA KU KABAKA


1. Kasumba ow’e Kasalirwe y’aleega ennoma za Mujaguzo.
2. Namuguzi y’asooka okutema mu mbuga Kabaka w’agenda okuzimba.


 


 

Amannya ga be Mpologoma

Abawala
Nabisere
Nabuwufu
Nakalema
Nakibuule
Nakisozi
Nakitowoolo
Nalwadda
Namazzi
Nantale

Abalenzi
Ggenza
Kasalirwe
Kisekka
Kitowoolo
Lubuulwa
Luwaga
Luwemba
Makaayi
Mululu
Ntale
Ssebuwufu
Ssekibuule
Ssembwa
Sserwadda
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;