EKIKA KY’OMUSU
AKABBIRO: Kayozi


OMUBALA: "Kivu kizze okuluma n’okutwalana."


Aboomusu bagamba nti baava Ssese. Jajjaabwe ye BUKULU, naye erinnya lya kitaawe wa Bukulu terimanyiddwa bulungi.


Awo olwatuuka Muyingo ne muganda we Nkalubo ne mwannyinaabwe Nasseggye, ne bagoba e Luubu mu Mawokota mu mwalo gwa Kikomeko oguyitibwa Buvumbo. Bwe baamala okugoba ku lukalu ne bagenda basenga Kikomeko. Kikomeko teyabalwisa n’abawa omutala Ssama ne bazimba okwo. Okuva olwo n’okutuusa kaakati obutaka bw’Aboomusu obukulu bwe bw’e Ssama e Luubu mu Mawokota.


Muyingo ne Nkalubo e Kkoome baalekayo muganda waabwe Kimuli era ye nagunogujwa ali Kkoome. Muyingo ne Nkalubo okujja ku lukalu nga Kabaka Ndawula y’afuga Obuganda.


Nkalubo e Ssama yamalayo ekiseera kitono n’agenda asenga Kabaka Ndawula. Kabaka Ndawula yayagalanga nnyo okuyigga. Ne Nkalubo olwasenga Kabaka n’atandika okumuwerekeranga ng’agenda okuyigga.


NKALUBO NGA BWE YATANDIKA OMULIMU GW’OBWANNAMUSU


Lwali lumu Nkalubo n’agamba Mukama we nti: "Kabaka tasaana kukyama nga mukopi, kirungi Kabaka abe n’ekinnya mw’akyamira, amakula gabikkibwengako".


Kabaka bwe yawulira ekigambo ekyo n’akisiima nnyo, n’agamba Nkalubo amusimire ekinnya. Okuva olwo Nkalubo n’aba omusimi w’ebinnya bya Kabaka. Kabaka kyeyava awa Nkalubo n’ekifumu eky’okusimyanga ebinnya, Nkalubo n’akituuma erinnya "Kayitkuuzi". Era Kabaka yawa Nkalubo n’ekibanja mu maaso g'Olubiri lwe w’aba asinziiranga okulabirira ebinnya bye.


Ku kitiibwa eky’okuyiyiiza Kabaka ekinnya ekikyamirwamu Nkalubo kwe yayongera nate obuganzi bwe yafuna olw’okuwonya obulamu bw’omukyala Nakidde Luyiga Kabaka gwe yali alagidde okutta ng’alina olubuto lwa Kabaka Mawanda. Ekitiibwa kya Nkalubo kye yafuna olw’obwesigwa n’okwagala okungi kwe yalaga Kabaka Ndawula, twabiraba nga twekkaanya obwami bw’omu Lubiri lwa Kabaka.


Nkalubo yali musajja mukalabakalaba era nga muzira. Kabaka Mawanda yamuwa_ n’obwa Ssekiboobo ng’abugobyemu Mbaziira Owengyonyi.


Ate olwatuuka, ku ludda Iw’e Ntebe n’ebaayo abantu abaali baagala okujeemera Kabaka Mawanda. Kabaka bwe yabawulira n’agaba musajja we Nkalubo okubatabaala. Nkalubo teyalwa n’abajeemula bonna. Kabaka okumwebaza kwe kumuwa n’obwami Obwassebuggwaawo okuba obw’obutaka bwe.


Ssebuggwaawo bwe yali ng’akyafuga ggombolola etwala ekibuga Ntebe, abantu kyebaava bagamba nti:


"Abultira Ssebuggwaawo, asirika akira".


Kuba abantu abasinga obungi mu Ntebe baavanga mu butaka bwa Ssebuggwaawo ate nga bangi Baamusu. Abagwira baalowoozanga nti Ssebuggwaawo tayinza kusalira bantu be misango kubasinga.


Omukulu w’Ekika ky’Omusu ow’akasolya ye MUYINGO e Ssama.


AMASIGA G’EKIKA KY’OMUSU AGATUUKA KU MUYINGO


1. Ssebuggwaawo e Bunono (e Ntebe) Busiro
2. Kimuli e Kkoome Kyaggwe
3. Nakayima e Kiruddu Kyaggwe
4. Kabanvu e Kibanda Ssingo
5. Kikaawa e Kawoko Buddu
6. Kasonseka (Mugenzitazze) e Kanyanya Kyaddondo


EMIRIMU GY’ABOOMUSU KU KABAKA


1. Ogw’Obwannamusu.
2. Kikaawa e Kawoko ye yakomaganga embugo za Kabaka kwe yatuulanga nga bamumwa enviiri.
3. Kabanvu ow’e Kibanda yayitibwanga KAYUNGIRIZI. Kayungirizi Kabaka gwe yatumanga okunona abatabaazi ng’amaze okulaba nti ekiseera kituuse abantu be badde. Embiro za cocce Kabanvu ze yaddukanga ng’agenda eri Omugabe ate n’okuzza amawulire eri Kabaka, ze zaamuyisa Ke ayungirizi.


Mukasa omwatikiirivu, Katikkiro wa Kabaka Muteesa I ne Mwanga II, yali Waamusu. Mukasa baamuzaala Ssama. Mukasa ye yatabaala olw’e Busongola ng’agabiddwa Kabaka Muteesa I. Olutabaalo lw’e Busongola Mukasa yalutabaala akyali mu Bwappookino. Bwe yamala okulya Obwakatikkiro n’assaawo ennoma y'Obwakatikkiro evuga nti:


"Sirukoma, ndulombojja olw’e Busongola".


Kuba olutabaalo olwo lIwatta Abaganda bangi nnyo! Naye tebaafa mafumu wabula baanywa amazzi g’ebiyanja by’omunnyu ne gabalwaza ekiddukano, ne bajja nga bafa. Ekiyanja ekyasinga okubatta ab’e Busongola baakituuma n’erinnya "Nyabaganda".
 

Amannya ga be Musu

Abawala
Kimbowa
Lulyolyo
Mawemuko
Nabankema
Nabisubi
Nabwami
Najjinda
Namagga
Nanjovu
Nankumba
Nasseggye
Nassuuna
Waabadde

Abalenzi
Bukulu
Bulega
Bwami
Jjagwe
Kaliba
Kimuli
Kirembwe
Lumala
Mbizzi
Mulumba
Nkalubo
Nsawo
Nsimbe
Sebuggwaawo
Senkumba
Ssebyondya
Taamusange
Wadda
Zizinga
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;