EKIKA KY’OMUTIMA (OBA ABAYANJA)
AKABBIRO: MAWUGGWE


OMUBALA: "Kifa ennyanja, omuvubi y’abika."


Aboomutima wamu n’Abente balabika nga be bataka ab’edda ennyo mu Buddu.


Kizibu okukakasa ebifo Aboomutima bye baavaamu okugenda okutuula mu Buddu. Naye okusinziira ku linnya lyabwe lye basinga okweyita ery’ Abayanja, tuyinza okugamba nti abasinga obungi mu Bayanja bantu ba nnyanja. Bwe guba gutyo tebayinza kuba nga baava ku mazzi meere okugenda mu Buddu wabula baava mu bizinga. Ate ebizinga bye twandirowoozezzaako amangu by’e Ssese. N’amannya Mayanja ne Nnamayanja Aboomutima ge batuuma ennyo abaana baabwe galinga agagenderera okutegeeza nti Aboomutima bantu ba nnyanja.


Bajjajja b’Aboomutima bonna ekkubo lye baakwata okuyingira mu Buddu terifaanana kuba limu. Waliwo abamu abagamba nti okugenda mu Buddu baava Bunyoro ku lusozi Lusiba oluli awo okumpi n’olusozi Mubende. Ate abamu bagamba nti baakutuka ku lulyo lw’abalangira. Abayanja ab’enda ya Nakirembeka be beeyita abalangira. Aboomutima bonna olw’obutava mu jjajjaabwe omu mpozzi ye nsonga kyebaavanga bafumbiriganwa mu biseera ebiyise. Naye mu biseera bino bagenze beegatta era tebakyafumbiriganwa.


Ettabi ly’Aboomutima eryasinanga okumanyika edda ly’eryo erlyitibwa ery’Abayanja ab’e Bbaale, Buyaga mu Buddu (waliwo Abayanja ab’e Bbaale Nabugabo). Mu ttabi eryo mwe muva n’omukulu w’Ekika ky’Omutima kyonna ow’akasolya akikulembera kaakano. Jjajja w’Abayanja ab’e Bbaale, Buyaga, ye "NAMUGERA". Mukyala wa Namugera yayitibwanga NAKUYA.


Ekifo Namugera kye yatuukiramu mu Buddu ye Bbaale e Buyaga. Awo e Bbaale waliwo ejjinja Namugera lye yasooka okusulamu. Ekifo ekyo Bbaale kiri kumpi nnyo n’ennyanja Nalubaale, mu Ggombolola ya Kajeerero. Ku Bbaale Namugera kwe yazaalira abaana be bano:


Sseremba, Mayiga ne Bbaale.


Omulimu gwa Namugera ogwamuliisanga gwali gwa kuvuba. Eryato lye mwe yavubiranga lyayitibwanga Nkeraayi. Eryato eryo Namugera yalikwasa mutabani we Sseremba okulirabiriranga.


Bbaale yali muganzi nnyo ku kitaawe. Era Namugera bwe yabanga alina gy’agenda okukyala nga Bbaale y’akwata eddiba kitaawe lye yatuulangako. Mu budde obwo abantu b’omu kitundu ekyo eddiba erituulwako baaliyitanga Nkeeto. Ne Bbaale abantu kyebaavanga bamuyita “‘Kakeeto” olw’okukwata enkeeto ya kitaawe. Okuva olwo erinnya erya Kakeeto teryamuviirako ddala.


Namugera bwe yafa mutabani we Kakeeto ye yamusikira. Okuva ku Bbaale n’okutuuka kaakano Omukulu w’Ekika ky’Omutima ow’akasolya ayitibwa KAKEETO. Erinnya Bbaale eryali ery’omuntu, oluvannyuma lye lyafuuka ery’ekifo Namugera kye yatuukiramu. Era na buli kati Bbaale bwe butaka bwa Kakeeto obukulu, n’omwalo oguli mu butaka obwo guyitibwa Bbaale.


BANO BE B’AMASIGA ABATUUKA KU KAKEETO


1. Lujaganya e Kyabbogo Buddu
2. Kaseegu e Kyamuyimbwa Buddu
3. Byuma e Nakiyaga Buddu
4. Lunnamunnyu e Namwanzi Buddu
5. Kanywanyi e Kasozi Buddu
6. Lugaaju e Bulonge Buddu
7. Namuna e Nkuke Buddu
8. Luswata e Kafuluma Buddu
9. Wanaana e Bbaale (Nabugabo) Buddu
10. Omukundi e Mabowa Buddu
11. Lukaaga e Butale Buddu
12. Ddungu e Minyinya Buddu
13. Ndawula e Ssanje Buddu


Mu Ssiga ly’Omukundi mwalimu abantu abamu abaavaamu ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa II ne bayingizibwa mu Kika ky’Abalangira b’Ennoma y’e Buganda mu Mutuba gwa Kaweesa e Jjinja. Abantu abaava mu Kika ky’Omutima ne bayingira mu Kika Ekirangira ebigambo by’olugendo lwabwe olwabatuusa mu Buddu babyogera bwe bati:


Olwatuuka ne wabaawo abalangira abaana ba Kabaka Kiggala ne bajeemera kitaabwe nga baagala okulya Obwakabaka bwe ng’akyali mulamu. Kabaka bwe yawulira amagezi abaana be abo ge baali bamusalira teyalwa n’abagoba.


Abalangira bwe badduka ne basaabala ennyanja ne bagoba ku kizinga Nsazi. Ku Nsazi kwe baafunira ekyato ekya Namukundi ne bakisaabala ne bagoba e Bujjaju mu Buddu. Bwe baava e Bujjaju ne bagenda e Kasaka. E Kasaka gye basinziira ne bagenda e Masaka okweyanjula eri Ppookino. Ppookino bwe yabalaba n’abawa ekifo Kyalugo e Masaka bazimbemu.


Naye bo bwe baalaba ng’okubeera okumpi ne Masaka banaaba beeyolese nnyo abantu bonna abayinza okutuusa ebigambo ku Kabaka gye baava, tebaalwa ne basaba Ppookino abakkirize okuddayo e Kasaka gye baba babeera. Ppookino naye yabakkiriza mangu ne baddayo gye baali basinga okwagala okubeera. Ku balangira abo abantu b’e Buddu kwe baggya enjogera egamba nti "Emputte baaziwa okulya Masaka ne zirya Kasaka".


Abalangira abo bwe baddayo e Kasaka ne bayingira mu Kika ky’Omutima olw’okwekweka era ne beeyitanga Abakundi olw’o kujjukiranga eryato lyabwe eryabatwala mu Buddu.


EMIRIMU GY’ABOOMUTIMA EMIKULU KU KABAKA


Kakeeto ye yavubiranga Nassolo ebyennyanja ng’Abaganda bamaze okuwangula Buddu. Era Kakeeto ye yavubiranga ne Ppookino ebyennyanja.


 


 


 

Amannya ga be Mutima

Abawala
Nabasaggi
Nakuya
Nalusiba
Namata
Namayanja
Namujuzi
Nandago
Nassaka

Abalenzi
Bbaale
Bwanika
Jjubya
Kafuluma
Kaliisa
Kigo
Kirangwa
Lugaaju
Lugemwa
Lusiba
Luswata
Lutuulu
Lwamiti
Lwamunda
Matwale
Mayanja
Mayiga
Mujuzi
Mujwala
Mutambuze
Namugera
Nangendo
Nsambya
Sseremba
Waliggo
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;