EKIKA KY’ENDIGA (Sheep)
AKABBIRO: MPOLOGOMA
Abendiga jjajjaabwe ye SEKKOBA. Sekkoba yava Bumogera n’agenda e Ssese, n’asenga Wannema, Wannema n’amuwa ekyalo Busangaku Kkoome. Ku Kkoome Sekkoba kwe yazaalira omwana we Bbosa. Bbosa bwe yakula, naye n’asenga Wannema, era n’aba Ssaabaddu wa Wannema. Bbosa bwe yamala okufuna obwa Ssaabaddu, mukama we n’amuweereza ku lukalu eri Kabaka, ng’ayagala amutuusizenga ku Kabaka ebigambo bye byonna by’anaabanga ayagadde okumutumira. Bbosa bwe yatuuka ku lukalu Kabaka n’amuwa ekyalo Mutungo, n’azimba omwo. Ku Mutungo Bbosa kwe yazaalira omwana we Kalyesubula. Kalyesubula oyo, oluvannyuma ye yafuuka omukulu w’Ekika ky’Endiga kyonna, n’afuna n’erinnya erya LWOMWA. Na kaakati omukulu w’Ekika ky’Endiga ow’akasolya ayitibwa Lwomwa. Obutaka bwa Lwomwa obukulu buli Mbaale mu Mawokota.
Erinnya erya Lwomwa lyajja bwe liti:
Awo olwatuuka Kalyesubula n’agoberera e Ssese omwana wa Wannema, Kyobe Kibuuka, okujja okuyamba Kabaka Nakibinge mu ntalo ze yali alwana n’Abanyoro. Abanyoro bwe baamala okutta Kibuuka, Wannema n’asaba Kabaka atte Kalyesubula eyaggya omwana we e Ssese. Kabaka bwe yalaba nga tewali musango Kalyesubula gwe yazza ogumusaanyiza okuttibwa, kwe kulagira bamusse mu nvuba olw’okusanyusa Wannema. Kalyesubula bwe yali ng’ali mu nvuba n’aba ng’asanyukira nnyo banne bonna abaagendangayo okumulaba. Olw’okusanyukira banne bw’atyo, envuba ye kyebaava bagiyita Mwendanseko. Kabaka yalaba ekiseera kiyiseewo n’aggya musajja we Kalyesubula mu nvuba. Kalyesubula olwava mu nvuba n’amwa omutwe gwe enviri ezaali zimusaakaatiddeko, era n’agamba nti:
"Lw’owona obusibe, lw’omwa".
Awo we waava erinnya “Lwomwa’’ okufuukira ddala erinnya lyomukulu w’Ekika ky’Endiga ow’akasolya.
Bagamba nti envuba ya Kalyesubula yameramu omuti. Ate omuti ogwo gwe gwamererako emirala n’egivaamu akasaka ke bayita "Mwendanseko" akali e Mbaale.
Amannya g’Abataka b’e Mbaale "Kituuma" ne "Nakatandagira" nago gaava ku Kyobe Kibuuka. Bagamba nti Abanyoro bwe baalasa Kibuuka akasaale teyafiirawo mbulaga, naye yagenda apaapaala n’agwa waggulu ku muti okumpi n’olubiri lwe. Awo omuntu Owendiga eyali ayita okumpi n’omuti ogwo bwe yatunula waggulu n’alaba omuntu mu matabi gaagwo, n’agamba nti:
"Kibuuka wuuno".
Omuntu oyo kwe kuyitibwa Kituuma olw’okutuuma erinnya omuntu gwe yalaba mu muti waggulu. Bwe baamala okulaba
Kibuuka waggulu mu muti, omuntu omulala n’alinnya omuti okuggyayo Kibuuka. Bwe yamutuukako yamala_ gasindika Kibuuka wansi era olwagwa wansi n’atondoka. Oyo kwe kumutuuma "Nakatandagira" (atalera mwana wa mugumba). Edda omutaka oyo Nakatandagira teyakwatanga ku baana bato, nga babamutiisa nti ayinza okubatta nga bwe yatta Kibuuka. Omulimu gw’Abendiga omukulu, edda gwabanga gwa kukuuma
kiggwa kya Kibuuka. Lwomwa ye yali kabona omukulu mu kiggwa ekyo, era Abendiga be baakubanga ennoma za Kabaka zino:
1. Tadde
2. Nantakiika
3. Entenga.
BANO BE BAKULU AB’AMASIGA ABATUUKA KU LWOMWA
1. Ndalu e Mpanga Mawokota
2. Nakabaale e Mmembe Mawokota
3. Buvi e Bunnamweri Mawokota
4. Sserunkuuma e Mpami Mawokota
5. Luwanga e Mpami Mawokota
6. Ssekkoba e Busanga (Kkoome) Kyaggwe
7. Wakikunga e Mutungo Kyaddondo
8. Nnamusota e Maziba Mawokota
9. Mpungu e Bweya Butambala
10. Nakiyenje e Bugiri Busiro
11. Kibeevu (Bukunja) e Ssi Kyaggwe
12. Ssemiti e Buyanga Mawokota
13. Kiguli e Seneene Mawokota
14. Lutalo e Buyijja Mawokota
15. Ssekakoni e Bussi Busiro
16. Kaggwe e Bukaggwe Mawokota
17. Ssentumbwe e Nakabiso Mawokota
Bukunj& mutabani wa Ndalu e Mpanga yali mu bazira abaa genda ne Ssekabaka Mawanda okulwanyisa Abanyoro ba Namuyonjo abaali mu Kyaggwe okuliraana n’ennyanja Nalubaale. Kabaka Mawanda bwe yamala okuwangula Abanyoro, n’asimbira abazira be emituba mu bifo bye yabawa. Bukunja omutuba ogugwe Kabaka yagumusimbira ku lusozi Ssi. Bukunja bwe yafa n'aziikibwa ku kasozi Bukaya. Bukunja olw’okuziikibwa ku kasozi ako Bukaya, abantu kyebaava bakyusa erinnya lyako ne bakayita Bukunja era na buli kati lye kayitibwa. Oluvannyuma erinnya lya Bukunja lyagenda ligaziwa mpola ne likwata ekitundu ky’essaza Kyaggwe kyonna ekifugibwa eggombolola ya Ssaabagabo era n’obutundu obulala obwa ggombolola eziriraanye ggombolola ya Ssaabagabo.
Amannya g’abakulu b’Amasiga agatatuumwa bonna ge gano: Luwanga, Nnamusota, Ndalu, Buvi, Nnakiyenje, Kibeevu, Bukunja, Ssemiti, Wakikunga.
OMUBALA: "Mpa alimuliisa Ndiga."
Waliwo enjogera y’Abaganda egamba nti "Odda Mbaale, mu Baganda banno".
Enjogera eyo yasinziira ku ggwanga eryaliwo wakati w’Abataka b’e Mbaale n’Abanyoro. Abanyoro bwe baamala okutta Kibuuka ne bakyayirwa ddala ku Mbaale. Mu biro eby’edda nga ku Mbaale tekubeera Banyoro. Kwabangako Baganda_beereere. Kyebaavanga bagamba nti:
"Ggwe atayagala kutuula na Banyoro, dda e Mbaale eri Abaganda abesengejje".
Abendiga baliko olugero olutegeeza nti baliraanye nnyo n’Abeffumbe ab’e Lwanga ewa Magunda. Olugero olwo lugamba nti:
"Nawakkoonyi lw’atayombye, lw’ atenda Nalumu okuyomba".
Nawakkoonyi ye muwala Oweffumbe, Nalumu ye w’Endiga. Nalumu yafumbirwa omusajja Waffumbe, Nawakkoonyi n’afumbirwa Owendiga. Naye bombi baali ba muliraano nnyo. Buli omu kyeyavanga awulira amangu ebiri ewa munne, ebibi n’ebirungi. Naye nga bwe bagamba nti:
"Omwogezi tatenda bibye, atenda bya banne" ne Nalumu bw’atyo alaasa bya Nawakkoonyi.
Erinnya ly’Abeffumbe "Ssaabwe" n’ery’Abendiga "Kafumbe" nago gategeeza era omuliraano gw’obutaka bw’Ebika ebyo byombi. Abendiga balinga be baavuma Abeffumbe mu kusaaga, Abeffumbe nabo ne bavuma Abendiga era mu kusaaga; buli ludda kyerwava lutwalira ddala erinnya lye baaluvuma okuba ery’Ekika so nga lyogera ku muziro gwa bannaabwe.
Edda Abendiga baalowoozebwanga nti bonna baba baddugavu tibitibi. Omukazi bwe yazaalanga omwana omweru nga bamutta olw’okulowooza nti si waabwe. Naye Kiwuuwa bwe yazaalibwa n’aba mweru nnyo. Bwe kyategeerekeka nga nnyina yali mwegendereza, kitaawe kwe kumukkiriza nti mwana we. Ku Kiwuuwa kwe kwava enjogera egamba nti “Wali sirabanga ku Mutambala mweru, wabula nalaba Kiwuuwa’. Edda Abendiga be baali abataka b’omu Butambala era kyebaavanga bayitibwa "Abatambala".
Abendiga be baazaala Bassekabaka bano:
Kimbugwe e Bugwanya
Mwanga I e Kavumba
Namugala e Muyomba
Kyabaggu e Kyebando
Katikkiro Henry Nnyonyintono eyakulembera abasomi b’Eddini ya Kristu nga bagenda mu Ankole, yali Wandiga, ne Luzige eyali Omugabe wa Kabaka Jjunju mu lutalo olwawangula Buddu yali wa Ndiga.
;