EKIKA KY’ENNYONYI ENDIISA (Lark)
AKABBIRO: Namunye
Jjajjaabwe Kakooto Mbaziira y’omu n’Owennyange. Endiisa nayo nnyonyi. Nga yo ekulirwa Mulindwa, ye w'Akasolya. Atuula e Nabutongwa mu Butambala. Abamu babala Kaliika e Mukungwe mu Buddu nti ye mukulu w’ekika, so nga yandibadde wa ssiga. Naye abakulu b’ebika okwekutulakutula kutyo. kinafuya Obuganda bwonna. Ate bwe kyatuuka ku b’Ennyonyi ne kisukka. K yandibadde kya kitiibwa abakulu okutuula ku mmeeza emu ne bakkaanya, ne beegatta; ne bagatta Obuganda. Kino kikwata ku buli kika ekyekutulakutulamu. Omubala n’akabbiro bifaanana n’ogwa Nakinsige.
Balina amasiga ataano: *
OBUTAKA ESSIGA N'ESSAZA
1. Kaliika e Mukungwe Buddu
2. Bicerere e Kabira, Nkuke Buddu
3. Katabalwa e Bulawula Buddu
4. Mwanamukyaze e Bukesa Buddu
5. Kkubabiswa e Ssungwa Bulemeezi
Balina emituba kkumi na munaana egituuka ku Kasolya:
OMUTUBA OBUTAKA N'ESSAZA
1. Bikyabyambuzi e Kabira Buddu
2. Kannamwangi e Kindulwe Buddu
3. Ssaziwentaate e Kalungu Buddu
4. Kaliitwe e Kaabuwoko Buddu
5. Kaliisa e Kirumba Buddu
6. Muddukaki a Nsaasi Bulemeezi
7. Sekikubo e Kitaka Gomba
8. Nseera e e Mujungwe Buddu
9. Ssembuzi mu Bulo Butambala
10. Balaluse e Kasozi Butambala
11. Luminsa e Jjanda Busiro
12. Kaseegu e Buseekwa Busiro
13. Sekabira e Buloolo Busiro
14. Kyanda e Kabira Mawokota
15. Kazibwe e Bunnamwwaya Kyaddondo
16. Serugondo e Lugala Butambala
17. Kataza e Kyajjugira Buddu
18. Sekizinga e Bulwanyi Mawokota
Emirimu gy'abendiisa mu Lubiri
1. Nabo bakuma era bakuuma ekyoto ekoy Ggombolola
2. Balunzi oba baliisa ba nte za Kabaka.
;