EKIKA KY’ENGABI
AKABBIRO: JJERENGESA. (Ejjerengesa buti bubeera mu bisaka oba ku ttale; engabi zibulya nnyo.)


EMIBALA:


1. "Tadde, Kakku."
2. "Kalikuta." (Kalikutanda ne kakutwala mu Bengabi Abasambaganyi).


Abeddira engabi ey’e Buwanda eyitibwa ennangira, okujja mu Buganda baava Bunyoro. Naye ebigambo by’okuzaalibwa kwa jjajjaabwe tebyogerwa bumu. Rev. J. Roscoe mu kitabo kyeekiyitibwa "The Baganda, their Customs and Beliefs" ku lupapula olwa 163 agamba nti: "Abengabi bagamba nti Wannyana muwala wa Mugalula e Kisozi, ye yazaala jjajjaabwe VNSAMBA omw’omusajja Lukenge".


Omw’omusajja oyo Lukenge, Wannyana mwe yava okufumbirwa Winyi Kabaka w’e Bunyoro, n’agenda n’omwana we oyo Nsamba.


Ate Sir Apolo Kagwa, mu kitabo kye eky’Ebika by’Abaganda ku lupapula olwa 20 n’olwa 21 annyonnyola nti Wannyana, muwala wa Buyonga Mugalula e Kisozi, bwe yali ng’akyali ku luggya lwa kitaawe e Kisozi n’alyoka atwalibwa Winyi Kabaka we Bunyoro. Sir Apolo yawandiika nti Abengabi bennyini bagamba nti Wannyana, Nsamba yamuzaala mwa Winyi.


N’omuwandiisi_ w’ekitabo kino ebigambo by’obuzaale bwa Nsamba; Abengabi bonna tebaabimutegeeza bumu. Abamu baamugamba nti Wannyana Nsamba yamuzaala tannafumbirwa mwa Winyi. Abalala ne bagamba nti kitaawe wa Nsamba ye Kabaka Winyi yennyini, nti era Abengabi eya Nsamba balangira ddala ab’omu lulyo lw’Abalangira b’e Bunyoro ate dbalala ne bagamba nti Nsamba mwana wa Mulangira Kalemeera Omutikkizankumbi. Nsamba nga bw’atayingira wa Ssaabalangira kizibu okukakasa nti mwana wa Mulangira Kalemeera Omutikkizankumbi.


Kitaawe wa Nsamba ka tumuleke tulabe Nsamba yennyini nga bwe yajja mu Buganda. Kikakafu nga Nsamba mubbeere wa Kabaka Kimera. Nsamba ne Kimera baakulira wamu' mu maka ga Katumba Mulegeya, eyabumbanga entamu za Wannyana. Olubereberye Nsamba yayitibwanga "Lubega". Erinnya erya Lubega yalifuna lwa kitiibwa kye eky’okuddibwako Omulangira Kimera; livvuunulwa nti "Lubega lulungi olwaddibwako Omulangira". Erya Nsamba lyajja lwa bikomo n’endege Lubega bye yayambalanga ng’akyali muto. Mbu bwe yawuliranga bivuga ng’agamba banne nti “aba nsamba”. Ku bigambo ebyo nnyina ne baana banne kwe baasinziira okumukazaako erinnya erya "NSAMBA".


Awo Kimera bwe yali ajja okulya Obuganda n’aleeta ne Nsamba omwana wa nnyina. Bwe baatuuka ku Buganda Nsamba n’akwasibwa Mugema okumukuuma.


Nsamba yasooka kubeera Lubowa okumpi n’e Nnazziba mu Kyaddondo. Mugema bwe yamuggya ku Lubowa n’amuweereza e Ntebe ne bamuwungula okumutuusa ewa Jjumba e Bunjakko kubanga ne Jjumba yali wamu ne Nsamba mu maka ga kitaawe Katumba Mulegeya, nga bakyali e Bunyoro.


Kabaka yalaba ekizinga Bunjakko Jjumba ne Nsamba tebagyako bulungi, kwe kulagira Jjumba atwale Nsamba ku lukalu gy’aba amulabiririranga. Jjumba bwe yaggya Nsamba ku Bunjakko n’amutwala e Buwanda mu Mawokota. Okuva olwo n’okutuusa kati obutaka bwa Nsamba tebuvanga ku Buwanda. Nsamba ayitibwa n’erinnya erya “LUKONGE”. LUBEGA NSAMBA LUKONGE y’akulira Ekika ky Engabi kyonna.


Edda Nsamba yatalanga ejjoba era ng’akubirwa n’entamiivu. Yasibanga n’amagotto ku magulu era ng’ayambala n’ebikomo ku magulu ate ng’akongojjebwa. Ebyalo bya Nsamba Kabaka teyabisoloozangamu musolo era Nsamba teyasiiganga balenzi mu lubiri lwa Kabaka.


Abawala Abengabi abaasiigibwanga ewa Kabaka baasiigirwanga mu Kika kya Nkima era Jjumba ye yabatuusanga ku Kabaka. Naye Namasole Everini Kulabako ye okusiigibwa mu Lubiri yayita mu Kika kya DYnonge. Okutuuka eri Kabaka Mwanga yayita ku Namasole Bagalaayaze Owennonge. Nsamba teyalabanga ku Kabaka.


Nsamba Iw’afa, lwe baabya olumbe ng’omusika amaze okubikka akabugo. Nsamba mu Buganda yajjamu ng’alina abaana be babiri: Wamala Muwonge ne Iga. Wamala bwe yatuuka ku Buganda kitaawe n’amuwonga, abantu ne bamwogerangako nti "Omuwonge". Awo erinnya Muwonge we lyava okufuuka ery’Abengabi. Muwonge Wamala bwe yava ewa kitaawe e Buwanda n’aweebwa ekyalo Jjalamba. Bwe yatuuka ku Jjalamba n’aba wa kitiibwa nnyo, ne bamuggyako n’olugero olugamba nti "Entakyaluka wa Muwonge e Jjalamba", kuba yattanga nnyo abantu, naddala abagenyi abaasobezangako.


Mutabani wa Nsamba ow’okubiri Iga, bwe yava e Buwanda n’agenda ku mutala Ndiiraweeru. Yagenda n’omugamba ogwalimu ebita bye. Ekifo we yagussa kwe kuyitibwanga Mugamba. Ekifo ekyo kiri mu Kikeera mu Mawokota. E Buwanda Nsamba yazaalirayo abaana bangi abaamuvaako ne basaasaana era ne bafuuka Abaamasiga.


Abengabi bonna tebaava mu Nsamba kuba waliwo Abengabi abamu Nsamba be yasanga ku Buganda. Mutaawe Sekyonda ow’e Nandwagudde mu Busujju y’omu ku bo. Ye yajja wamu ne Kintu. Era yeyali Sebalijja we ng’alunda ente ye eyitibwa“Nsigonke”. Ate mu kika ky’Engabi mulimu Abengabi banna-
nsangwa b’omu Buddu n’ab’omu kitundu ky’e Mubende n’abaava
e Kiziba. Naye Abengabi bonna Nsamba y’abakulira.


GANO WAMMANGA GE MASIGA AGALI MU KIKA KY’ENGABI AGATUUKA KU NSAMBA


1. Muwonge e Jjalamba Mawokota
2. Iga e Mugamba Mawokota
3. Muyomba e Kijjudde Mawokota
4. Mutaawe Sekyonda e Nandwagudde Busujju
5. Kitwe e Bweya Butambala
6. Lugwa e Kibulala Ssingo
7. Katomera e Bulugu Butambala
8. Sendikaddiwa e Saka Butambala
9. Ssemaganda e Mulole Ssese
10. Mpungu Kasumba ~ e Bujaju Buddu
11. Mulindwa e Buyaga Buddu
2. Bukenya e Musulannoma Ggomba
13. Mutunzi e Bwamijja Buddu
14. Nakakakkulu e Kabuye Buddu
15. Kalanda e Ddumu Buddu
16. Kasaanya e Nkalwe Buddu
17. Lwogerera e Bukoyolo Buddu
18. Mulamago e Kyesimba Buruli
19. Kasiita e Kabira Buddu
20. Busajja e Buzoba Buddu
21. Bikwaya e Nakigalala Busiro
22. Gaasubwa e Magando Buddu
23. Lubyayi e Butale Buddu
24. Kalwanyi e Lambu Buddu
25. Jawo e Moya Ssingo
26. Mateega e I)nomannene Ggomba
27. Yaye Kyera e Bulera Mawogola


EMIRIMU GY’ABENGABI KU KABAKA


1. Muwonge ow’e Jjalamba yali musenero wa Kabaka. Obusenero bwava ku ye ne budda ku Benvuma. Bwe bwava ku Benvuma ne budda ku Beekibe.


2. Abengabi aba Mutaawe e Nandwagudde be bayunzi ba Kabaka abayitibwa Abakyondwa.


3. Mutaawe ye yali omusumba wa Kabaka Kintu e Nnono. Ente ya Kabaka gye yaweebwa okulunda yayitibwanga Nsigonke. Omulangira bw’aba asikira Obuganda Mutaawe aleeta ekyanzi ky’amata eky’ekikomo ekya lwera, n’akikwasa Mpinga Owoolugave. Awo Mpinga n’ayanjula Mutaawe nti:


“Ono ye musumba wo omukulu alunda ente ya jjajjaawoKintu, eyitibwa "Nsigonke"".


Abengabi be baazaala Ssekabaka Chwa II.


Mu Kika ky’Engabi mwe mwazaalibwa Kkunsa Omutamanyanamba, omumbowa wa Ssekabaka Ssuuna e Wamala.


Kkunsa yayatiikirira nnyo olwobukambwe bwe n’obwangu bwe mu kutta abantu abaabanga basaliddwa emisango egy’okuttibwa. Abantu Kkunsa be yaweebwanga okutta abamu teyabatuusanga na mu matambiro. Yabatugumbuliranga mu makubo.


Omuntu Kabaka gwe yaddirangamu n’amusonyiwa okuttibwa kyabanga kizibu okumusanga nga Kkunsa tannamumiza mukka musu oba okumukongovvulako amatu oba emimwa oba ennyindo. Ow’omukisa eyasangibwanga ng’akyali mulamu, baganda be ne mikwano gye baamuwanga ebintu bingi alye okwekulisa Kkunsa.


Ku bintu ebingi ebyaliibwanga omuntu awonye okuttibwa Kkunsa, Abaganda kwe baggya enjogera egamba nti:


"Gundi alya ng’eyasumattuka Kkunsa".


Ebigambo ebyo na buli kati byogerwa ku muntu atatera kukkuta mmere.
 

Amannya ga be Ngabi

Abawala
Lwensisi
Nabiryo
Nabukeera
Nabukekenyi
Nabukenya
Nabunje
Nakacwa
Nakanwagi
Nalubega
Namaganda
Namatovu
Namirimu
Namuyiga
Namuyomba
Nanjala
Nayiga
Ndibalekera

Abalenzi
Bbombokka
Bukenya
Iga
Jengo
Kabito
Kagugube
Kaluuma
Kamoga
Kasaanya
Kasana
Kasiita
Kasozi
Katalo
Katugga
Lubadde
Lubega
Lubogo
Lubyayi
Mateega
Matovu
Mbazzi
Mirimu
Mpuga
Mukumbya
Muliika
Mulindwa
Mutaawe
Muwonge
Muyomba
Njuka
Saka
Seeguya
Sekanwagi
Ssagala
Ssebyala
Ssejjulu
Ssemaganye
Ssemuganyi
Wamala
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;