EKIKA KY'ENGEYE (Colobus Monkey)
AKABBIRO: Kunguvvu
OMUBALA GW’ABENGEYE: "Tatuula, Tatuula"
Jjajja w’Ekika kino yi Bakazirwendo Ssemmandwa. Kintu okujja mu Buganda nga Bakazirwendo ali Bumpenje mu Busiro. Abana ba Bakazirwendo abasinga okumanyika be bano:
1. Lule Kyesimba.
2. Nambi Nantuttululu. Nambi Bakazirwendo gwe yawa Kabaka Kintu okuba mukazi we.
Lule Kyesimba mutabani wa Bakazirwendo yali omu ku baana b’abataka abaawerekera Omulangira Kalemeera ng’agenda e Bunyoro okutunda ensimbi ez’okuliwa omusango gwe yazza ku kitaawe Kabaka Ccwa I. Kyesimba okugenda e Bunyoro ng’amanyi nnyo eddagala eriroga omusujja; era ye yali omusawo w’Omulangira Kalemeera mu lugendo olwo olw’e Bunyoro. Kalemeera bwe yafa Kyesimba ne yeeyongera okukola omulimu gw’obusawo ku Mulangira Kimera; yagukolera ddala ne mu lugendo lwa
Kimera ng’ajja e Buganda. Okwo Kabaka Kimera kwe yasinziira okumuyita Kaswja n’okumuwa ekyalo Busujja mw’aba asinziiranga okukola omulimu gwe ogw’obusawo. Ate Kyesimba yagenda n’ayiga Olunyoro n’empisa z’e Bunyoro n’akamala bumazi era bw’atyo kyeyava aganja ennyo eri Kabaka Kimera.
Bakazirwendo Semmandwa naye olwalaba nga mutabani we Kyesimba spenze mnyO ewa Kabaka kwe kumuwa n’obukulu bw’Ekika kyonna akiramulenga. Okuva olwo n’okutuuka leero obukulu bw’Ekika ky’Engeye kwe kudda ku Kasujja e Busujja, nga buva ki Bakazirwendo a Bumpenje. Abakulu b’Amasiga abatuuka ku Kasujja nali basatu:
A. KASULE E BUWEMBO, BUSIRO
Mu Kasule mwe muyingira Emituba gino:
1. Kalungi e Busere Ssingo
2. Nakabaale e Ttanda Ssingo
3. Settaala e Ggingo Ssingo
4. Nnamungo e Kabagolo Ssingo
5. Kasimbi e Busimbi Ssingo
6. Ssebuloolo e Buloolo Busiro
7. Mmombwe e Jjanda Busiro
8. Museruka e Buseruka Busiro
B. KAWOOYA E BUMPENJE
Emituba gye:
1. Ssebaggala e Kkoba Busiro
2. Kibirige e Ngongolo Busiro
3. Sserwanga e Jjanda Busiro
4. Kalinda e Ggoli Mawokota
5. Kiryamayuuni e Ssagala Mawokota
6. Kimmese e Bulwanyi Mawokota
7. Ssebukoleere e Sserubanja Mawokota
8. Nakalago e Buzzi Busiro
9. Ssemutende e Bbanga Mawokota
10. Kisumugungu e Bunnamwaya Kyaddondo
11. Mukaawa e Sseeta Mawokota
12. Kyemwa e Luwala Mawokota
13. Kisero e Luubu Mawokota
14. Kabuye e Kabuye Butambala
15. Bagenda e Lugala Butambala
16. Kirumira e Bugoye Butambala
17. Ggayi e Bugayi Mawokota
18. Bunnya e Bunnya Ggomba
C. MPOZA MU GGWAATIRO
Bano be baana ba Mpoza ab’Emituba:
1. Butayi e Butayi Butambala
2. Ggumba e Nsambya Mawokota
3. Nanonde e Kyetume Mawokota
4. Luyombo e Nakirama Busiro
5. Mpiso e Kyajubira Buddu
6. Ddungu e Wattuba (Kikeera) Mawokota
7. Kalaki e Bulaki Ssingo
8. Ssekakande e Kawami Butambala
9. Sserubanga e Bubanga Ssingo
EMIRIMU GY’ABENGEYE KU KABAKA
1. Kalindaluzzi awa Kabaka amazzi g’anywa Wangeye.
2. Seddagala omubumbi wa Kabaka omukulu naye Wangeye.
3. Wabulaakayole omukulu w’abaseresi b’enju za Kabaka era naye Wangeye.
4. Mpoza mu Ggwaatiro ye Ssaabaddu mu ssenero lya Kabaka.
5. Ate Mpoza y’azaala Ssaabawaali w’essenero.
6. Nakabaale e Ttanda ye yali Kabona wa lubaale Walumbe. Obusawo bw’Abengeye bwayatiikirira nnyo ku Ssekabaka Ssuuna II.
Kasujja yasiiga omwana we eri Kabaka okumukiikiriranga, Omwana oyo ye yatuumwa Mpoza. Kabaka Kamaanya bwe yakuba olubiri ku mutala Kibibi bakyala be ne bagendanga mu kyalo kya Mpoza okuwaata emmere; olwo n’ekyalo kya Mpoza kwe kuyitibwa Ggwaatiro.
Akagga Nakuzeesinge akaliraanye mu Ggwaatiro omuzaanaeyali ava mu Ggwaatiro n’omuwumbo gw’emmere ku mutwe ye yakaabiramu nti "Ennaku zeesinge".
Abengeye be baazaala Kabaka Ccwa I omwa Kabaka Kintu. Nambi Nantuttululu muwala wa Bakazirwendo ye yamuzaala. Ku mubala gw’Abengeye abantu kwe baggya enjogera egamba nti Gundi akuba ya Bangeye. Amakulu nti tatereera mu kifo, abungeeta bubungeesi.
;