EKIKA KY’ENGO (Leopard)
AKABBIRO: KASIMBA
EMIBALA
1. "Akaala k’engo (nnamuzisa)."
2. "Nabbuto ggwe mpita."
Era Abengo tebalya kintu kyonna ekittiddwa oba ekitakuddwako engo oba empungu wadde ensolo oba ennyonyi ey’engeri endala yonna. Okusalira okumpi bagamba nti tebalya "bitaaguju".
Abeddira engo bava mu Kkeeya, era bagamba nti Kkeeya mwana wa Kabaka Kintu.
Awo olwatuuka Kintu n’akuba olubiri ku lusozi Munywa mu kifo Bukesa ekiri mu Ssaza Butambala. Kintu bwe yali ng’ali ku Bukesa n’azaala Kkeeya. Ku Bukesa Kintu kwe yasinziira n’akuba olubiri olulala ku Nnono. Bwe lwaggwa n’aluyingira, mutabani we Kkeeya n’amuleka e Bukesa. Ekiseera bwe kyayitawo Kintu n’atumira Kkeeya agende ku Nnono babeere wamu. Naye Kkeeya yali ng’amaze okwagala ennyo ekifo Bukesa era nga tayagala kukivaako, kyeyava atumira kitaawe nti "Nze nja kubeera eno e Bukesa naawe obeere eyo e Nnono". Kintu yalaba Kkeeya agaanye okugenda ku Nnono kwe kumutuuma erinnya erya "Muleme" olw’okweremera ku Bukesa.
Kintu yatumira Kkeeya emirundi mingi ng’amuyita babeere bonna ku Nnono. Kintu yalaba Kkeeya agaanidde ddala okuva e Bukesa kwe kwogera nti ‘“‘Omwana oyo teyeesaasira kubeera yekka e Bukesa’. Mu bigambo ebyo Kkeeya mwe yava okuyitibwanga "MUTEESAASIRA". Na kaakati omukulu w’ekika ky’Engo ayitibwa Muteesaasira era obutaka bwe obukulu buli Bukesa mu Butambala
Muteesaasira bwe yalaba nga tayagala kugenda Nnono awali kitaawe kyeyava aweerezaayo omwana we Mwanje agende abeere kumpi ne jjajjaawe ng’amuweereza. Okuva olwo n’okutuusa kati Mwanje tavanga ku Nnono ku Lubiri lwa Kintu era y’alukuuma. Naye Muteesaasira ne bazzukulu be tebali mu kika kya Balangira abaana b’Ennoma y’e Buganda.
Abaana ba Muteesaasira ab’Amasiga abamutuukako be bano:
1. Kalyango e Buvvi Busiro
2. Bbugo e Mangira Kyaggwe
3. Kavuma e Dajje Busujju
4. Nnakyejwe e Mabanda Butambala
5. Kaseyeeye e Kawanga Busujju
6. Nnamakaaga e Bugimba Busiro
7. Nnakabambagiza e Nnalugamba Busujju
8. Lubowa e Kiyanja Kyaggwe
9. Kavuma e Butwala Kyaggwe
10. Nkulo e Bwende Buddu
11. Katabula e Buzirango Buddu
Waliwo Emituba ebiri egyetuukira ku Muteesaasira:
1. Seggirinya e Lubanja Ssingo
2. Mwanje e Nnono Busujju
Nannono muka Nakibinge Omulwanyammuli yakuuma ku Bwakabaka nga Nakibinge afudde. Erinnya Nabulya kyeriva lituumwa abawala Abengo okutegeeza nti Obwakabaka baabulyako. Abalenzi bo batuumwa Sennabulya kubanga bo tebalyanga ku Bwakabaka wadde okubukuumako.
Abengo olw’okuyitibwa abalangira, Bakabaka abamu baabassaako ebiwendo, bangi mu bo ne battibwa. Era edda nga tebalya bwami. Okulya obwami baamalanga kweyita ba miziro mirala.
EMIRIMU GYABWE KU KABAKA
1. Be baawundanga empanga za Bassekabaka n’abalongo baabwe, era n’ab’abalangira n’ab’abambejja.
2. Be baawundanga ejjoba lya Kabaka.
3. Be baakolanga engule ya Kabaka n’enkufiira z’Abakungu.
4. Be baatimbanga amagigi mu mayu ga Kabaka.
Emirimu egyo gyakolebwanga Sseggirinya era abantu be yagikolanga nabo be bayitibwa Abagirinya. Emirimu egimu na kaakati bakyagikola.
Abengo be baazaala Kabaka Kikulwe ne Mawanda, n’Omukyala. Nannono ow’e Bbumbu muka Kabaka Nakibinge Omulwanyammuli.
;