EKIKA KY’ENGONGE (Otter)
AKABBIRO: KANEENE (Akaneene kyannyanja, kwe baggya n'olugero olugamba nti “Oddiza akaneene emmale" kuba kamanyi okw'evubira)
Jjajja w’Ekika ky’Engonge era omukulu waakyo Ow’akasolya ye KISOLO SEBYOTO MUWANGA.
Obutaka bwa Kisolo obusinga obukulu buli Bweza mu Busujju.
Kisolo Sebyoto Muwanga mu Buganda yajjamu ne Kintu.Kintu bwe yamala okulya Obwakabaka n’alonda Kisolo Okuba omusigire we. Awo Kintu bwe yamala okuzimba ku Nnono mu Busujju ne Kisolo n’azimba ku Bweza. Bwe baali bali eyo Kisolo nasugira Kintu mutabani we omubereberye Lutaya Okubeera Ssaabaddu we. Okuva olwo n’okutuusa leero Lutaaya e Bbongole ye Ssaabaddu wa Kintu e Nnono.
Kintu yamala ebbanga ttono ng’atuuse mu Buganda n’agenda awasa muwala wa Kawooya Bakazirwendo e Bumpenje mu Busiro. Omuwala oyo yayitibwanga Mambi Nantuttululu.
ENSONGA EYABUZA KINTU NE KISOLO
Awo olwatuuka Kintu n’ava e Nnono n’agenda okulambula ensi ye, Kisolo n’asigala nga ye musigire mu Lubiri lwa Kabaka. Kintu bwe yakomawo yasanga Nambi Nantuttululu ali lubuto. Kintu teyalwa n’abuuza Nambi nti ‘“Olubuto lw’olina lw’ani?”
Nambi yaddamu mangu nti “Onoobuuza omusigire wo, nze tombuuza”. Kintu bwe yawulira ennyanukula ya Nambi n’akakasiza ddala nti olubuto lwa Kisolo. Kisolo bwe yagenda eri mukama we enkeera, Kintu kwe kumubuuza ng’akaladde nti: "Lwaki tewannyanjulidde mangu nga nnaakatuuka nti Omukyala Nambi Nantuttululu ali lubuto Iwe saamuleka nalwo?”
Kisolo yaddamu ng’agamba nti “Nalabye ng’okooye nnyo ne ndowooza nti nnaakutegeeza ng’omaze okuggwaamu obukoowu" Ebyo Kintu teyabiwulira, yakwata bukwasi muwunda n’afumita Kisolo ekigere. Kisolo bwe yamala okufumitibwa n’agamba kimu nti “‘Onfumitidde bwereere era olinnoonya nga tondaba, ate naawe tobeeranga ku nsi kuno”.
Kisolo bwe yadduka yagenda wa mutabani we ow'okubiri Ssenkungu mu Lumuli, Eyo yamalayo lumu n’agenda ewa muzzukulu we Kitumba e Ffunvu, mutabani wa Senkungu. Kitumba olwalaba ku kiwundu kya jjajjaawe n’anoga eddagala eryakiwonya. Kisolo yalaba ekiwundu kiwonye kwe kutuuma Kitumba erinnya erya Muganga. Na buli kati Muganga e Ffunvu mutaka mukulu mu kika ky’Ennonge. Ewa Muganga e Ffunvu Kisolo yamalayo ebbanga ttono n’agenda ewa muzzukulu we Katwere e Buzungu, n’abeerako eyo.
Abaami ba Kintu abaali e Nnono bwe baawulira nti Kintu afumise Kisolo baakunnaana mangu. Bwe baamala okwekkaanya ensonga zonna ne banenya Kintu nti: “Wakola bubi okufumita Kisolo nga temumaze kutuwoleza ne tusala omusango gwammwe". Awo Kintu yalaba abaami be bamusalidde omusango okumusinga n’asindika ababaka okuyita Kisolo adde ku busigire bwe. Kisolo ababaka baamusanga Buzungu. Bwe baamutegeeza nti Kintu amwetaaga, yabaddamu nti ‘“Mugende mutegeeze Kintu nti nja kujja mu nnaku ntono”.
Kintu yalaba ennaku Kisolo ze yalaga ziyise nga tatuuka n’asindika ababaka abalala. Abo Kisolo baamusanga mu kkubo ng’agenda ewa muzzukulu we Muwanga mutabani wa Senkungu. Naye bwe baamala okumutegeeza nti “Kintu akwetaaga otuuke mangu gy’ali”, Kisolo bwe yatunula emabega ku lusozi Kafumu ababaka gye baali bava n’alaba nga waliyo ebikoomi ebinyooka omukka. Awo Kisolo kwe kulowooza mu mwoyo gwe nti ‘“‘Kintu ampita kunzita!” Teyalwa n’agamba ababaka nti ‘“Ka nkyameko wano mu nsiko mmenyewo enseke ze nnaanywesa omwenge nga tugenda”. Ababaka bwe baalinda ne balaba nga Kisolo tadda nabo kwe kuyingira ensiko.
Bwe baagoba ku kisinde Kisolo kye yakwata ne balaba nga kikomye ate nga ne mu maaso ensiko nkakavu. Okuva olwo Kisolo teyalabikako gwa kubiri. Awo Kisolo we yabulira kwe kuyitawo Nseke. Ababaka bwe baabuulira Kintu nti Kisolo yabula, ne Kintu kwe kubuulira mu Lubiri lwe e Nnono. Naye Kintu ne Kisolo baasisinkana mangu gye baagenda era okuva olwo balinga bayita bombi; omuntu bw’abeerako ekimukanga kyava agamba nti “Mpulidde ekintu’”, omulala n’addamu nti ‘Gamba Kisolo’’.
Kisolo gwe baggyako n’engero zino:
Kisolo yazaala abaana abalenzi basatu, omuwala omu. Abalenzi abo abasatu be b’Amasiga asatu agali mu Kika ky’Ennonge.
Abaana ba Kisolo be bano:
Kinkumu ye yasikira Kisolo era kyeyava asigala ku Bweza. Ccwa Nabakka bwe yali ng’alya Obwakabaka muwala wa Kisolo Kwamagezi Nakiwala Nabacwa ye yali lubuga we era gwe yazaala naye omulangira Kalemeera Omutikkizankumbi.
EMIRIMU GY’ABENGONGE EMIKULU KU KABAKA
Nze mukomazi wo omukulu akukomagira embugo z’oyambala. Eno ye nsaamo gye nkomaza.”
2. Omutaka w’e Bukasa Kaganda mu Ssese, mutabani wa Muganga e Ffunvy, ye yaliyibwa eri Wannema ng’eggozi, olw'omwana wa Wannema, Kyobe Kibuuka Abanyoro gwe battira mu Buganda ng’azze okuyamba Kabaka Nakibinge mu ntalo ze yali alwana n’Abanyoro abaali baagala okulya ensi ye yonna.
3. Bwe twali twogera ku linnya ‘‘Ppookino”’ twalaba nee Kiganda e Birongo Owennonge yayamba nnyo Kabaka Jjunju okuwangula Buddu.
;