EKIKA KY’ENJAZA (Reedbuck)

AKABBIRO: Ngujulu

 

EMIBALA

1. Ow'omugugu aliguta.

2. Ssendabanyoro tentama.

 

Abenjaza bagamba nti Kabaka Kintu okujja mu Buganda ngabo baatuulamu dda. Abenjaza mbu baava Bunyoro ne batuukirae Kiwawu mu Busujju. Bwe baava e Kiwawu ne bagenda mumabira e Kyaggwe. Kintu okujja mu Buganda Abenjaza yabasanga mu mabira e Kyaggwe ng’obutaka bwabwe obukulu buli Kirugu. E Kirugu obutaka gye bwava ne budda e Kkonko omukulu w’ekika ky’Enjaza gy’atuula kaakano. Omukulu w’ekika ky’Enjaza ow’akasolya ayitibwa “xITANDA” naye jjajja waakyo ye KAYIMBYE OBUTEZI N’OKUKWAKKULIZA OW’e€ Kiwawu mu Busujju.

 

Abenjaza olw’okuba okumpi ne Busoga, Bakabaka b’e Buganda baabagabanga nnyo okutabaala mu Busoga, ate n’abantu b’Ekika y’Enjaza baddukiranga nnyo mu Busoga nga babadde bazzizza omusango ku Kabaka.

 

Kabaka Kyabaggu bwe yatabaala e Busoga yaddira omwana wa Kitanda eyayitibwanga Masanso n’amuggya e Naminya n’amussa mu kyalo Butiki e Jjinja mu Busoga, n’amuleka eyo okutuukirwangako Abasoga abaabanga bajja e Buganda eri Kabaka era n’Abaganda abaagendanga okutabaala e Busoga. Kabaka Kyabaggu bwe yali ng’akomawo e Buganda n’abuuza Masanso nti “Onooguma okusigala e Busoga?’? Masanso n’akkiriza nti "Nnaaguma". Awo Masanso bwe yajjako e Buganda okulaba Kabaka, Kabaka n’amubuuza nti “Waguma’? Masanso n’addamu nti "Naguma mukama wange". QOkwo erinnya lya ‘‘Waguma” kwe lyava okuyingira mu kika ky’Enjaza.

 

Abenjaza baalya ne ku bwami mu Busoga, naddala mu Ssaza lya Ggabula. Era baafuna n’obutaka mu Bugerere ne bayitibwa Abalondoganyi.

 

Ekitongole kya Ssemakookiro ‘Ekikunta” ekyatta Kabaka Jjunju kyava Namwezi ku butaka bw’Abenjaza, ere kyalimu njaza bangi.

 

Bano be baana ba Kitanda ab'Amasiga

 

1. Kinaalwa e Nsenge Kyaggwe

2. Kyonga e Nyenga Kyaggwe

3. Kiddu e Kigoma Kyaggwe

4. Waguma e Naminya Kyaggwe

5. Mutwalume e Kkonko Kyaggwe

6. Ssekeba e Malindi Kyaggwe

7. Nnakibinga e Ggulama Kyaggwe

8. Genaanya e Nnakyessanja Kyaggwe

9. Mawawa e Bugahe Kyaggwe

10. Malevu e Butavujja Kyaggwe

11. Mukongoolo e Kitovu Kyaggwe

12. Kawanda e Wakisi Kyaggwe

13. Lugwa e Buku Kyaggwe

14. Kasota e Bugoma Kyaggwe

15. Kabaale e Nakiso Kyaggwe

16. Kasasa e Bujaagu Kyaggwe

17. Kambugu e Buziika Kyaggwe

18. Nnannyungu e Buwoola Kyaggwe

19. Ssematimba e Najjembe Kyaggwe

20. Mbwabwa e Ssendabanyoro Kyaggwe

 

EMIRIMU GY’ABENJAZA KU KABAKA

(a) Abenjaza be baali abayizzi b’enjovu za Kabaka. Baaziyigganga mu Mabira. Effumu lyabwe lye baayizzanga liyitibwa Nakangu.

(b) Be baawoozanga n’akatale ke Kiwungu omwayitanga ebintu ebyavanga e Busoga n’e Bumogera okujja eri Kabaka

(c) Baawungulanga n’ebintu bya Kabaka ebyavanga e Busoga. Babiwunguliranga mu lyato lwabwe Nakitanga

(d) Basiiganga mu lubiri lwa Kabaka omukyala eyayitibwanga Nakalyowa

 

Ekiwendo ekyagoba mu Buganda kyagoba Ebenjaza bangi mu Buganda. Kaggwa Ndimukulanga eyasimisa ennyanja ya ssekabaka Kaggwa II yali wa Njaza

 

 

 

 

 

 

Amannya ga be Njaza

Abawala
Bakwanye
Malimbo
Nakalyowa
Nakiddu
Nakinaalwa
Nakyazze
Nawaguma
Ndagire
Nnabasaku
Nnabayaza
Nnabbengo
Nnabulo
Nnagujja
Nnakalyana
Nnakangu
Nnakirindi
Nnakitanda
Nnalugo
Nnamuwaya
Nnanjego

Abalenzi
Baakisuula
Bbengo
Bbwagu
Kabuzi
Kagumba
Kalasi
Kalumba
Kalyowa
Kibudde
Kiddu
Kinaalwa
Kisaku
Kisuule
Kiwalattule
Kiwembe
Kyazze
Lubambula
Lukabwe
Lukoma
Lukooba
Lukooya
Lumbuye
Luwalira
Mabikke
Masanso
Mayoga
Mpengere
Mutebe
Mutega
Muwuluzi
Mwase
Ndalu
Nkambo
Nkambwe
Sseggwanyi
Sserubidde
Sulumi
Waguma
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;