EKIKA KY’ENJOVU
AKABBIRO: Nvubu
EMIBALA GY’ABENJOVU
1. "Nsimbye amasanga."
2. "Nakate ajja."
Jjajja w’Ekika kino ye Sessanga. Sessanga yajja ne Kintu, era Sessanga oyo ye yali omukwasi w’amafumu ga Kintu n’engabo ye nga bajja. Kintu bwe yamala okukuba ekibuga kye ku Nnono, n’addira musajja we Sessanga n’amuwa ekifo Ntonnyeze ekiri mu Busujju. Ku Ntonnyeze Sessanga kwe yazaalira omwana we Mukalo. Sessanga bwe yafa omwana we Mukalo n’amusikira. Kabaka Ccwa I ye yaggya Mukalo e Ntonnyeze n’amusimbira omutuba ku Kambugu. Okuva olwo n’okutuusa kati obutaka bwa Mukalo obukulu buli ku Kambugu. muxato ye mukulu ow’akasolya. afuga Ekika ky’Enjovu kyonna. Bano be baana ba Mukalo ab’Amasiga abamutuukako:
1. Kikomeko e Luubu Mawokota
2. Ggulu e Busaabala Kyaddondo
3. Kakembo e Bulinguge (gye yava n’adda e Zzira nnumbu era mu Kyaddondo)
4. Ntambi e Lubya Kyaddondo
5. Sebanyiliga e Kyazi (Kojja) Kyaggwe
6. Ssentomero e Zzinga (Bukunja) Kyaggwe
7. Ssemakadde e Mpuku Kyaggwe
EMIRIMU GY’ ABENJOVU KU KABAKA
1. Omulimu gw’Abenjovu ku Kabaka omukulu gwa busumba bwa nte. Omulimu ogwo gukolebwa Ssensalire Omutaka w’eKawoko, mutabani wa Ntambi e Lubya. Ssensalire omulimu gw’obusumba yagufuna bw’ati:
Awo olwatuuka Mukalo n’alonda muzzukulu we Ssensalire okugenda n’abaana b’Abataka abalala abaagoberera Omulangira Kimera e Bunyoro okujja okusikira entebe za bajjajjaabe. Omulangira bwe yali ng’ajja n’addira Mpinga Owoolugave, mutabani wa Kasoma ow’e Migadde, n’amuwa omulimu gw’okulabirira ente ze ze yajja nazo era n’okukwata amata ge ge yanywangako.
Awo bwe baatuuka mu kkubo ne wabaawo omuntu n’azza omusango, ne bamuwozesa, omusango ne gumusinga, Omulangira n’alagira Mpinga okutta omusibe oyo eyali amaze okusalirwa omusango. Mpinga bwe yali ng’agenda okutta omusibe kwe kugamba munne Ssensalire nti ““Nkwatira ku nsumbi y’amata g’Omulangira mmale okutta omusibe’’. Ssensalire naye teyagaana n’akwata ensumbi y’amata. Mpinga naye omulimu gw’okutta omusibe teyagulwako. Olwagumala n’agamba Ssensalire nti "Mpa ensumbi yange". Ssensalire kwe kugaana n’ensumbi. Mpinga yalaba biri bityo ng’omusango agussa mu maaso ga Mukama waabwe. Abataka bwe baabuuza Ssensalire ky’avudde agaana okuddiza Mpinga ensumbi ye, yabaddamu ng’agamba nti:
"Mpinga bw’amaze okutta omusibe nze ne ndaba ng’engalo ze zirimu omusaayi era nga tezikyasaana kukwata ku makula ga mulangira."
Omulangira n’Abataka bwe baasala omusango Ssensalire n’asinga era omulimu gw’obusumba n’aguweerwa ddala okuva olwo, ne Mpinga n’aweebwa ogw’obumbowa. Ku Mpinga kwe kwava olugero olugamba nti "Nkwatirako bwe bumbowa."
Ente ya Kabaka enkulu Ssensalire gy’alunda eyitibwa "Mugumba" (azaala bagenyi). Endere ya Ssensalire eyamuweebwa Kabaka okufuuwa ng’alunda ente ze eyitibwa Takiweereza (y’akiyita ekitunzi), ate omuggo gw’akwata ng’alunda guyitibwa Beera empya (beerabira emiryango). Edda Ssensalire yabanga n’Abalaalo bangie Ssese ne ku lukalu, abaalundanga ente za Kabaka ze yakuumanga.
Buli Kabaka eyalyanga Obuganda yawanga Ssensalire ente ey'okumulundiranga eyayitibwanga Mugumba. Ente eyo yavanga Ssese ewa Mukasa. Ssensalire yennyini ne Mpinga be baaginonanga e Ssese ne bagireetera Kabaka.
Awo Kabaka bwe yamalanga okugiraba ng’agikwasa Ssensalire, n’endere Takiweereza n’omuggo Beera-empya. Ente eyo ye yavangamu omuzigo n’amata agaayozanga oluwanga lwa Kabaka nga Kabaka oyo amaze okufa.
2. Ssempyangu mutabani wa Ggulu ye yavubanga enkejje "Walulenzi" eyayalulanga abaana ba Kabaka.
3. Omulimu gw’Abenjovu omulala ku Kabaka gwali gwa kukuba Kadinda.
4. Ate omulala gwa kukuba nnoma eziyitibwa "Ennyeenya".
5. Katale ow’e Ssunga mutabani wa Kikomeko e Luubu yali mukomazi wa Kabaka.
6. Abenjovu be baasamiriranga lubaale Katonda ow’e Butonda mu Kyaggwe.
Mu mannya ago mulimu agasinga okutuumwa mu Masiga g’eKyaggwe ate amalala mu Masiga g’omu Kyaddondo ate amalala mu Ssiga lya Kikomeko e Luubu. Naye saasobola kwawula bulungi mannya ago, kyenava ngawandiika awamu gonna. Naye gano wammanga ge nakakasa obulungi.
Aba Kikomeko e Luubu batuuma abalenzi erinnya Buvumbo. Buvumbo gwe mwalo Kikomeko mwe yagoba ng’ayingira mu Luubu. Era omwalo ogwo guli mu butaka bwe. Ate aba Kikomeko batuuma nnyo abalenzi erinnya Sserunyiigo, ab’e Kyaggwe bo ne baliyita Ssebanyiiga.
Abenjovu be baazaala Kabaka Kagulu Tebutwereke. Omukyala eyamuzaala ye Nagujja, muwala wa Ggulu e Busaabala.
Abenjovu okuzaala Kabaka Kagulu kwabeegassa ku Kika ky’Effumbe ne bafuuka ng’ab’Ekika ekimu.
Olwatuuka Kagulu n’alondebwa okulya Obwakabaka. Bwe yamala okulondebwa abataka ne bakojjaabe ne balaba nga Kagulu tayinza kubuuka ssanga ng’empisa ya Bakabdka bwe yabanga, kubanga nnyina olw’okuba Owenjovu n’essanga lyalinga nnyina. Walusimbi ne Mukalo baali banywanyi ba mukago. Kyebaava bateesa okugatta Ekika, Kagulu bamuyite Oweffumbe, era bwe gwali.
Kagulu bwe yamala okulya Obwakabaka n’aba mukambwe nnyo. Obuganda tebwalwa ne bumujeemera, n’agobebwa ku Namulondo. Kagulu bwe yava ku Namulondo Kikulwe ye yaddako. Kikulwe yagenda okulinnya ku Namulondo ng’Obuganda bulimu akajagalalo kanene olw’effugabbi lya Kagulu eryali liralusizza abantu. Kikulwe ku Namulondo teyalwako. Olwagivaako Muganda we Mawanda n’agiddako.
Mawanda olwalya Obuganda. n’atandika okuyigganya n’okutta Abenjovu olw’okuzaala Kabaka Kagulu eyadaaza Abalangira n’abakopi. Ntambi, kojja wa Kagulu era Katikkiro we, baamuttira mu butaka bwe ku Lubya. Abaganda baamuggyako n’enjogera egamba nti:
"Zikulemye ezaalema Ntambi e Lubya (embiro)".
Ntambi yali mukadde. Yaddukako katono nga tasobola, nga basogga. Ssensalire e Kawoko ne Kikomeko e Luubu be baawona okuyigganyizibwa mu kiwendo ekyo. Ssensalire omulimu gwe ogw’obusumba gwe gwamuwonya. Kikomeko ekyamuwonya kwe kuba omukuumi w’omwalo Buvumbo, Mukasa ne balubaale b’eSsese abalala mwe bayitanga oluusi nga bagenda eri Kabaka.
Ekiwendo ekyo kyayongera nnyo okugatta Abenjovu ku Kika ky’Effumbe.
Nanteza muwala wa Ggulu ye yasitula Abenjovu nate ng’amaze okuzaala Kabaka Jjunju ne Ssemakookiro. Nanteza yali Namasole ku baana be abo bombi nga balidde Obwakabaka. Nanteza Abaganda gwe baggyako olugero olugamba nti:
"Ekitembe tekissa ebiri, wabula ekya Nanteza".
BANO BE BASSEKABAKA ABENJOVU BE BAAKAZAALA
1. Kagulu Tebutwereke.
2. Jjunju.
3. Ssemakookiro.
4. Muteesa I.
;