EKIKA KY’ENKEJJE (Sprat)
AKABBIRO: NKEJJE EYITIBWA KIvEMBA
OMUBALA: "Kiiso kya mbuzi" (Kirekerera omussi ne kitunuulira omubaazi).
Jjajja w’Ekika ky’Enkejje ye NKUUTU ow’e Namukuma mu Kyaggwe, naye omukulu waakyo ow’akasolya kaakano ayitibwa KIKWATA. Obutaka bwa Kikwata obukulu buli Namukuma.
Ebigambo by’Ekika ky’Enkejje bikyali bizibu okutegeera obulungi. Abenkejje tebabalirwa mu Bannansangwawo mu Buganda, so ate ne gye baava okugenda e Namukuma temanyiddwa bulungi. Naye kiyinzika okuba ng’Abenkejje baali Bataka ba dda mu Bukunja okutuuka Ssekabaka Mawanda lwe yabatuukako ng’agenze okuwangula Bukunja.
Kikwata agamba nti Ssekabaka Mawanda ye yamutuuma erinnya erya Kikwata.
Awo olwatuuka Ssekabaka Mawanda n’agenda ng’agoba muganda we Kabaka Kagulu. Kagulu bwe yayingira mu kitundu kya Kyaggwe ekiyitibwa Kojja, Mawanda naye n’akiyingira. Namaaba bwe yamala okutaasa Kagulu ne Mawanda, Mawanda n’alaga ku ludda lw’e Mpumu. Mawanda bwe yatuuka e Mpumu yasanga Nkuutu aleese abantu bangi okumulindirira. Mawanda bwe yabuuza nti:
"Ani aleese abantu bano bonna?"
Nkuutu kwe kuddamu nti: "Nze mbakutte".
Awo Kabaka Mawanda we yasinziira okutuuma Nkuutu erinnya erya "Kikwata".
Ebigambo bya Ssekabaka Kagulu bye byaleeta okutabukatabuka mu Kika ky’Enkejje.
Kabaka Kagulu bwe yamala okufiira e Kojja, mutabani we Omulangira Kyobe Ssematimba teyalwa n’asaabala ennyanja n’agoba ku kizinga Lwaje, ku lusozi Danjo. Ku Lwaje Kyobe Ssematimba kwe yafiira. Bwe yamala okufa mutabani we Kayemba n’amusikira.
Kayemba bwe yamala okusikira kitaawe n’ava e Lwaje n’agenda e Ntundaymu Kyaggwe, ng?ali n’oluwanga lwa jjajjaawe Kabaka Kagulu. Kayemba e Ntunda we yasinziira ne yeekweka mu Kika ky’Enkejje.
Kayemba ng’atuuse mu Kyaggwe abantu erinnya lye baalikyamyako ne bamuyita Mayemba. Ekika ky’Enkejje bazzukulu b’Omulangira Kyobe Ssematimba baakirwamu nnyo era ne bakifuulira ddala kyabwe ate nga be bakikulira. Bazzukulu ba Kyobe Ssematimba abamu, Ekika ky’Enkejje baakivaamu ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa II. Ssekabaka Chwa II ye yakakasa Omutuba gwabwe ogwa Kyobe Ssematimba ow’omu Bbuga, Busiro. Naye mbu abalangira abamu baalemerayo mu kika ky’Enkejje ate abalala baayingira mu Kika ky’Empologoma.
AB’AMASIGA ABATUUKA KU KIKWATA
1. Ssekindi e Ggamba Kyaggwe
2. Kikanga e Lugala Kyaggwe
3. Kinyonyi e Kiziba Kyaggwe
4. Luminsa e Ssugu Kyaggwe
5. Kibanda e Bbulamazzi Kyaggwe
6. Kagiri e Butagaya Kyaggwe
7. Luyima e Kkumbu Kyaggwe
8. Kabere e Kikajja Kyaggwe
9. Sserukundi e Bukasa Ssese
10. Kkaaya Buvuma
11. Nampunta e Mpuku Kyaggwe
EMIRIMU GY’ABENKEJJE KU KABAKA
Kikwata ye yali Ssekiboobo mu Mpingu ya Kabaka, nga y’afuga amaato ga Kabaka gonna agaali mu myalo gy’omu Bukunja ne mu Kojja.
Abalangira okulwa mu Kika ky’Enkejje balinga be baabuza amannya gaamu amalala ne wasigala ago gokka ge tulabye.
;