EKIKA KY’ENKEREBWE (Jungle Shrew)
Akabbiro: Kikirikisi. (Mmese etera okuzimba mu matooke.)
Jjajja w’Abenkerebwe ye KIDIMBO, n’Omukulu waakyo ow’akasolya ayitibwa KIDIMBO. Obutaka bwa Kidimbo obukulu buli Bwanja mu Ssingo. Abenkerebwe mu Buganda bajjamu ne Kabaka Kimera.
Sendyona mutabani wa Kidimbo ye yajja ne Kimera okuva e Bunyoro. Sendyona yali muganzi nnyo ku Kimera nga bakyali mu Bunyoro. Kimera bwe yamala okulya Obuganda n’awa mukwano gwe Sendyona omutala Mpakabula oguli mu Busiro okumpi ne Ganda.
ABAAMASIGA ABATUUKA KUKIDIMBO
1. Bbanga e Nneenyodde Ssingo
2. Ssemugabi e Kabunza Kyaddondo
3. Matumpaggwa e Bwaba Ssingo
4. Sendyona e Mpakabula Busiro
5. Mikira e Nakyerira Ssingo
EMIRIMU GY’ ABENKEREBWE KU KABAKA
1. Kidimbo e Bwanja ye yawa Kimera engalabi "Ttimba" gye yajja nayo okulya Obuganda. Kidimbo yalina engalabi ze bbiri nga zombi zaatemebwa ku muti gumu. Ku ngalabi ezo, Kidimbo kwe yatoola emu n’agiwa Winyi Kabaka w’e Bunyoro. Kidimbo engalabi gye yagaba yagiwa mutabani we Sendyona okugitwala eri Kabaka Winyi. Kabaka bwe yamala okufuna engalabi n’awa Sendyona ekyalo Bwaba okubeeramu. Mu kyalo Bwaba Sendyona mwe yasinzlira okukwanagana ne Kimera. Kimera yali muyizzi nnyo.
Bwe yamala okukwana Sendyona n’amuwanga amaliba g’ensolo ze yattanga okugawala. Waayita ekiseera kitono, Kimera n’amanya nti engalabi evugira mu Lubiri ewa Winyi yava wa kitaawe wa mukwano gwe.
Lwali lumu Sendyona n’atwala mukwano gwe ewa kitaawe Kidimbo e Bwanja. Bwe baatuuka e Bwanja baasanga Kidimbo ne mikwano gye bali ku mwenge banywa nga n’engalabi evuga. Kimera ne munne bwe baamala okunywa ku mwenge Kimera n’asaba engalabi gye baali banywerako omwenge. Kidimbo bwe yalaba nga munne wa mutabani we engalabi agyagala nnyo teyagirwisa n’agimuwa.
Engalabi eyo ye yiyo Kimera gye yajja nayo okulya Obuganda. Na kaakano w’eri. Omutaka Kimoomera e Mmanze y’agikuuma. Ttimba ekubirwa wamu ne Mujaguzo Kawulugumo ne Namanyonyi. Ku Ngalabi Ttimba Abaganda kwe baggya olugero olugamba nti:
"Ezitemwa okumu zaawukanya emibala".
Kubanga newakubadde ng’engalabi. ya Winyi n’eya Kimera zaatemwa mu muti gumu, naye Kimera bwe yamala okuvae Bunyoro engalabi eyiye yavuganga bulala n’eya Winyi yavuganga bulala. Ekibira engalabi ezo mwe zaatemwa_baakiyitanga Kataba, naye oluvannyuma baakyusa erinnya lyakyo ne bakituuma "Zitemwa-okumu". N’abawala Abenkerebwe babatuuma "Kaatemwa". Edda ekibira ekyo baakikuumanga nnyo nga batya nti sikulwa ng’omulangira omulala agendayo n’atemayo ennoma ne yeefuula Kabaka.
2. Okutuuka mu Buganda Ssendyona yajja nga y’awala amaliba g’ensolo Kimera ze yattanga. Nga batuuse mu Buganda ekikondo ky’okuwalirako amaliba Sendyona yakisimba ku mutala Kapeeka. Mu kifo we yasimba ekikondo na leero bayitawo "Kawalira".
Ssekabaka Kamaanya ye yajjuluza Abenkerebwe ekikondo ky’amaliba okukiggya ku mutala Kapeeka ng’aguwadde Namasole we Nansikombi okusuulamu oluyina. Sendyona ekikondo bwe yakiggya e Kapeeka n’akizza ku Mpakabula.
Ssekabaka Ssuuna II ye yaggya ku Benkerebwe omulimu gw’obuwazi bw’amaliba n’aguwa Kiyini Owemmamba.
3. Abenkerebwe be baalasizangako ennyumba ya Nanzigu eyayitibwanga “‘Katalamo’’.
;