EKIKA KY’ENKIMA
AKABBIRO: Byenda
OMUBALA "Talya Nkima".
Okujja kw’Abenkima mu Buganda nakwo bonna abakunyumya tebakumanyi bumu. Bino wansi biringa bye bisingako obugolokofu:
SSEBUKYU e Malangala mu Busujju ye yajja ne Kintu mu Buganda. Bwe baatuuka e Nnono Kintu n’awa basajja be bonna be yajja nabo n’abaamusengera mu Buganda, ebifo eby’okuzimbamu. Abasinga obungi yabawa kuzimba mu bifo ebyo ebyetoolodde Nnono. Ssebukyu yaweebwa ku Malangala n’obwami ku Kintu yaweebwa Bwassaabawaali.
Ssebukyu yalaba akaddiye nga takyasobola kuweereza bulungi Mukama we n’addira omwana we omulenzi n’amutwala okumusligira Kintu amuweerezenga. Ssebukyu bwe yatuusa omusiige mu maaso ga Kintu n’amwanjula ng’agamba nti:
"Akange bwoya".
Awo erinnya “BWOYA” we lyava okukala ku musiige Ssebukyu gwe yawa Kintu. Na kaakati Bwoya mutaka mukulu ku Nnono.
Ssebukyu yalina omwana we omulenzi omulala eyayitibwanga Miyingo. Miyingo bwe yava ku kitaawe n’agenda asenga Kabaka
Abagirinya bwe baamalanga okuluwunda ne baluwa Mugema. Mugema yaluwanga Ssentongo ow’e Kaababbi. Ssentongo oyo nga ye Mugema ow’omu Masiro; omulimu gwe gwabanga gwa kukuba bibuga omwakumirwanga empanga za Bassekabaka. Ssentongo naye mwana wa Mugema.
3. Kinyolo ye yalonda oluwanga lwa Ssekabaka Jjuuko, Kabaka Kayemba Iwe yali awadde abantu okusuula mu nnyanja nga balusibye wamu n’oluwanga Iwa Mulwana eyali Katikkiro wa Jjuuko. Kinyolo bwe yali ng’ali awo ewuwe e Kisugu n’awulira nti Kabaka Kayemba awadde abantu oluwanga lwa Ssekabaka Jjuuko okulusuula mu nnyanja, awoolere eggwanga kuba Kabaka Jjuuko yali yeetissizza Kayemba, Katikkiro Mulwana, ng’akyali mulamu.
Kinyolo bwe yawulira ebigambo ebyo n’alinda abaali batwala oluwanga mu nnyanja. Bwe baatuuka ewa Kinyolo baasanga enseenene zigudde ku kyalo kye. Kinyolo kwe kubagamba nti:
"Mujje tugende tukwate enseenene".
Abaali bagenda okusuula empanga mu nnyanja bwe baawulira enseenene ne basanyuka nnyo, ne baddira ensawo omwali empanga zombi ne bagiwa Kinyolo agibaterekere. Bo tebaamanya nti Kinyolo ategedde ebirimu. Bwe baamala okukwata enseenene baasanga Kinyolo empanga aziggye mu nsawo ng’ataddemu amayinja, naye bo ne batategeera. Awo we waava olugero olugamba nti:
“Kisawo ky’ataliiwo, kijjula mayinja”.
Amayinja ababaka ge baasuula mu nnyanja, oluwanga lwa Ssekabaka Jjuuko ne luwonyezebwa bwe lutyo okubula mu bikulu ebikuumirwa mu Masiro ga Bassekabaka.
Kabaka Ndawula bwe yalya Obwakabaka ne bamutegeeza nti: "Oluwanga lwa kitaawo Jjuuko lwabula". Kinyolo bwe yawulira nga Ndawula abu za oluwanga Iwa kitaawe kwe kugenda ewuwe n’aluggyayo n’alumuwa. Awo ckitiibwa kya Kinyolo ne kye yongerako nnyo mu Buganda. Zibangu omwana wa Mugema omulala ye yazimbanga ennyumba z’amasiro ga Bassekabaka ag’omu Kyaddondo.
4. Mwotassubi y’omu ku Bataka abakuuma Namulondo.
5. Jjumba ye yali Omumyuka wa Gabunga mu Mpingu y’amaato ga Kabaka agaakuumanga Obwakabaka bw’e Buganda.
6. Ssemuggala ye yali omuggazi wa Mukasa e Ssese.
;