EKIKA KY'ENKULA
AKABBIRO: Katiko ka Nassogolero.
Jjajjaabwe Muwangi yava Kibulala e Bunyoro nga Ssekabaka Kimera ajja okulya Obuganda.
Baasenga e Lwentunga e Kapeeka mu Bulemeezi. Omutaka ow’ Akasolya Muwangi gy’ atuula.
Omubala gwabwe guvuga nti: "Wankula tatya takyuka, Wankula yambala amayembe, Wankula asimbye ejjembe”.
AMSIGA, OBUTAKA N'ESSAZA
1. Mugaya e Kambugu Ssingo
2. Kasuku e Bukalaango Busiro.
3. Masunsu e Nnaalongo Bulemeezi
4. Kimaato e Ttente Bugerere
5. Lubuto e Kyereere, Kiboga Ssingo
Emirimu gyabwe mu Lubiri: Be baalundanga ente ya Kimera Naamala.
;