EKIKA KYA NAMUNGOOONA oba ABANJALA (Pied Crow)
AKABBIRO: MUTIMA


OMUBALA: "Yajja aseka; mu Kyambadde mulimu engo; akaana k’obulenzi tokawa mpindi mu ngalo."


Abannamunnoona balabika nga be bamu ku bataka ab’edda ennyo mu Buddu. Jjajja w’Ekika kya Namungoona ayitibwa KAJJABUWONGWA. Eryo era lye linnya eriyitibwa omukulu w’Ekika kya Namungoona ow’akasolya.


Kajjabuwongwa, jjajja w’Ekika kya Namunnoona, mu Buganda yajjamu ne Ssekabaka Kintu. Omulimu gwa Kajjabuwongwa ku Kintu gwali gwa kukwata nsawo ya Kintu eyabangamu amayembe ge n’eddagala lye. Kajjabuwongwa ye yalagulanga Kintu ng’abadde aliko gy’alaga.


Awo Kintu bwe yamala okukuba ekibuga kye Nnono ekiri okumpi n’olusozi Magonga mu Busujju n’awa Kajjabuwongwa omutala Magezi oguli okumpi n’olusozi Malangala. Kintu bwe yaggya Kajjabuwongwa ku Magezi n’amuwa olusozi Mbuule mu Mawokota.


Bano be baana ba Kajjabuwongwa be yazaala:


1. Mugwe
2. Kidiba
3. Taliro
4. Kabagyo
5. Najjuma (muwala)
6. Nawanda (muwala)
7. Kagera (muwala)
8. Kasenyi (muwala)
9. Nalubaale (muwala)


ABANNAMUNNGOONA NGA BWE BAAYINGIRA MU BUDDU


Kintu bwe yabulira mu Kibuga kye Nnono ng’amaze okufumita Omusigire we Kisolo, basajja be baagenda bamunoonya wonna basobole okumuzza ku Bwakabaka bwe. Kajjabuwongwa ye yatuma mutabani we Mugwe ne baganda be, banoonye Kintu nga balaga ku ludda lw’e Buddu. Mugwe bwe yatuuka ku mutala Kyalusowe oguli mu Buddu n’agwegomba nnyo okuguzimbako. Kintu bwe yamubula mu Buddu n’addayo eri kitaawe wamu ne baganda be. Kajjabuwongwa bwe yafa Mugwe n’amusikira. Mugwe bwe yamala okusikira kitaawe n’addayo mu Buddu, n’asenga Kdbaka w’e Bunyoro eyali afuga Buddu mu biro ebyo. Bwe yamala okumusenga n’azimba ku mutala Kyalusowe gwe yali ayagala ennyo, era ne baganda be ne beerondera ensozi ze baayagala mu Buddu. Zino ze nsozi batabani ba Kajjabuwongwa ze baazimbako mu Buddu:


Mugwe yazimba ku Kyalusowe
Taliro yazimba ku Bisanje
Kabagyo yazimba ku Kibindu


Batabani ba Kajjabuwongwa baakwata n’ensozi endala mu Buddu ze baafuula ez’Obutaka bwabwe. Ezimu ku zo ze zino: Kasaka (Birongo), Kalinga, Kirimya, Mazinga, Kayanja, Ndozi, n’endala.


Kidiba ye teyasiima kubeera mu Buddu. Yakoma eyo n’addayo ku butaka bwabwe obw’e Mbuule n’azimba okwo. Kyebaava bamuggyako n’olugero olugamba nti: "Ekidiba kidda waabukyo Abannamunyyoona Mbuule".


Abannamunnoona nga bali mu Buddu baafumbanga emmwanyi ne bazaanika mu mpya zaabwe. Abantu abaabasananga nga baanika emmwanyi zaabwe mu mpya tebaalwa ne baboogerangako nti "Abanjala mmwanyi". Okwo abantu kwe baasinziira okubaka zaako erinnya ABANJALA lye bayitibwa oluusi n’oluusi.


BANO WANSI BE B’AMASIGA ABATUUKA KU KAJJABUWONGWA


1. Mugwe Kyalusowe Buddu
2. Kidiba Mbuule Mawokota
3. Taliro Bisanje Buddu
4. Kabagyo Kibindu Buddu
5. Lukindu Kasaka Buddu


Ku_ butaka bw’Abannamunnoona obw’e Kasaka n’obw’e Kalinga kwe kwabanga emisambwa gyabwe gino.


Kasaka (Kyawamala), Lukindu, Kagera, Kansolya, Muzuula. Omusambwa Kagera abantu gwe baawongeranga okufuna enzaalo n’obugagga, n’emikisa emirala.


Ku butaka bw’e Kasaka kwe kwazaalibwa omuwala Najjuma eyatuusa Kabaka Mulondo mu Buddu ng’agenze okumwongereza. Mulondo ng’atuuse okumpi ne Kasaka yasomokera mu mugga Jjuma. Awo we yasomokera na buli kati bayitawo Fjuma erya Mulondo.


Okumpi n’obutaka bw’Abannamunnoona obw’e Kalinga we wali omugga Jjuma naye ekitundu kyagwo ekiriraanye Kalinga bannansi batera kukiyita Misansala. Emisambwa gy Abannamuyjjoona emikulu egy’e Kalinga gyabanga mu ngo ne mu misota. Eyeddira Namunnoona bwe yasunguwazibwanga kyeyavanga asabira omuntu amusunguwazizza emikisa emibi, ng’amu gamba nti: "Kalinga engo, Misansala enjoka". Amakulu g’ebigambo ebyo ge gano nti engo y’e Kalinga ekulye n’omusota gw’omu Misansala gukubojje.


EMIRIMU GY’ ABANNAMUGOONA KU KABAKA.


1. Twalabye nga Kajjabuwongwa ye yayambaliranga ensawo eyabangamu amakula ga Kintu.
2. Abannamunnoona baali bakomazi. Emikomago gyabwe emikulu gyali ebiri. Ogumu gwayitibwanga Nnaakeera, omulala Kalibattanya. Gyombi gyali ku butaka bwabwe obw’e Kasaka. Ensaamo yaabwe enkulu yayitibwanga Bwetunge.


Ku Miteesa I Abannamungoona baali beegasse n’Abengonge.


 

Amannya ga be Nnamungoona

Abawala
Bujune
Kyoteeka
Nabigavu
Nabikolo
Nabisere
Nabisunsa
Nabiteete
Nabiwande
Nabiwembe
Najjuma
Nakaliika
Naluyange
Nambuule
Nampewo
Nannyonjo
Nantaayi
Nawanda
Nkwanzi

Abalenzi
Baagabba
Bafumba
Bakasambe
Bakunguvvule
Bisiriba
Bulondo
Busere
Dona
Ggubya
Jjuma
Kabagyo
Kabuzi
Kagulusi
Kalibwani
Kaliika
Kalinnimula
Kanatta
Kasenyi
Kasiita
Kayabula
Kaziro
Kibiina
Kidiba
Kiguba
Kimogofu
Kiryambalaki
Kitikke
Kkunsa
Kwezi
Kyajjakuzimba
Kyanda
Lubandi
Lukajaju
Lukindu
Lukoko
Lukooto
Lutabi
Lutembe
Makooba
Makoola
Masaaba
Mbulekayo
Mbuule
Mikingo
Mpewo
Mpuulo
Mugwe
Mukomazi
Mukwanga
Munywanyi
Muwafu
Muzuula
Namunyaaka
Ngubiri
Njogerere
Nkumbi
Nnaalagira
Nnyanja-ebulya
Semmango
Ssebide
Ssemajwala
Ssembuya
Ssemiganda
Ssemitego
Ssemukuutu
Taliro
Waddiga
Wakayembe
Wakigiri
Walubi
Watuula
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;