EKIKA KY’ENNYONYI ENNYANGE (Egret)

AKABBIRO: Kkunnguvvu

 

Omukulu w'Ekika ky’Ennyonyi ow’akasolya ye Kakoto Mbaziira Kakoto Mbaziira agamba nti Kabaka Kintu okujja mu Saunga ye mutaka waamu wa dda. Jjajja wEkika ky'Ennyonyi omubereberye ye NJIWE. Mukazi we ye Nakiboneka. Njiwe yabeeranga Bulama mu Busiro. Ekifo Bulama kaakano kiyitibwa Kisubi era kirimu Mission ya White Fathers.

 

Njiwe yazaala abaana kkumi na babiri. Olwatuuka Njiwe n’azimba enju empya. Bwe yagew: n’ateekateeka embaga ey'okugiyingira, n’ayita batabani be bonna ne mikwano gye. Ku lunaku olwakulembera embaga batabani be abaasooka okutuuka lwe battirako embuzi ey’okulya ku mbaga. Bwe batta embuzi omusaayi ogw’okufumba kafecce baagulembeka mu ntiba ezinywa omwenge. Omusaayi bwe baamala okuguggyamu, entimba bazooza enkeera, naye tezaatukula bulungi. Banna bwe baatuuka, mu ntiba omwo mwe babaweera omwabajja oluvannyuma bwe baalaba ormusaayi Mu mtiba ze baaweerwamu omwenge ne banyiigira nnyo bannaabwe okubaweera omwenge mu ntiba ezirimu omusaayi. Tebaakoma ku kuntiiga kwokka naye n’omwenge baaguzira n’embaga ne bagirekerera baddayo gye baali bavudde.

 

Njiwe bwe yajja okulaba obanga abaana be bonna batuuse, bali bakanaaluzaala tebaalwa ne bamutegeeza ebibaddewo. Bwe yabiwulira naye n/’anyiigira nnyo abo abaaweera bannaabwe omwenge mu ntiba ezirimu omusaayi. Njiwe naye teyakoma ku ekyo. Abaana abaagoba bannaabwe ky mbaga nabo yabagoba ye yennyini ku mbaga. Abagenyi abayite baalaba nnannyini myakalalidde abaana be obuteddiza nga nabo bakwata amakubo agaali gabaleese. Omwenge n’ennyama n’emmere eyali efumbibwa byonna byasigala ttayo. Embaga eyo ab’edda baagiggyako n’enjogera egamba nti:

 

“Nnandekererwa, ng’embaga ya Niiwe".

 

Njiwe bwe yafa omwana we eyayitibwanga Kakoto ye yamusikira. Kakoto yali muyizzi nnyo era nga musawo nnyo. Lwali lumu Kakoto n’ayagala okutuukako my Kyaggwe. Teyalwa nasitula. Bwe yali ng’asigazza ebbanga ttono okutuuka e Mukono n’asanga ennyanja. Bwe yalaba nga talina maato ga kumuwungula ku nnyanja eyo, kyeyava anoga eddagala n’ayiwa ku nnyanja n’efuuka omugga. Omugga ogwo na kaakati guyitibwa Nakiyanja. Bwe yatuuka e Mukono ne bamubuulira ntiku ludda lw’e Bulondoganyi efulumyeyo Omusajja wa kitibwamnyo. Kakoto bwe yawulira ebyo n’ayanguwa mangu okugenda okumusanga.

 

E Nakatooke ewa Dango mu Bulondoganyi Kakoto gye yasanga Kintu. Kakoto olwalaba_ Kinty n’amusanyukira nnyo era n’amukulembera okumuleeta mu Buganda. Kakoto yali agenze ne mutabani we cyayitibwanga Kabenge. Kabenge yali ayambalidde amatu 8’emmwanyi za kitaawe. Amatu ago gaali ga byayi. Kintu bwe yagalaba n’abuuza ekirimu. Kakoto bweyamutegeeza ni mmwanyi, nti era zirlibwa, Kintu teyalwa n’alyako. Bwe yazisuula mu ttama n’awoomerwa era n’abuuza Kakoto gye bazikolera. Kakoto kwe kulaga Kintu mutabani we Kabenge nti “Ono y’azifumba”. Kintu naye kwe kuddamu nti “Omulenzi oyo asaana ayitibwe Kafuuma olw’okufumba emmwanyl eziwooma bwe zityo”. Kintu bwe yamala okwogera ebyo n’addira ensawo bbiri ey’enjobe n’ey’engabi n’aziwa Kakoto assengamu emmwanyi ze. Naye bwe baali basomoka Ssezzibwa amazzi ne gatwala ensawo za Kakoto ezaamuweebwa Kintu. Awo we baasomokera era amazzi we gaatwalira ensawo za Kakoto kwe kuyitawo Butwala, na buli kati bwe wayitibwa.

 

Kintu bwe yava e Butwala yasula Magonga mu Kiwakanya e Kyaggwe. Bwe yava e Magonga n’agenda akuba ekibuga e Mangira. Awoe Mangira mu Kyaggwe, Abataka b’omu Buganda abamu we baasookera okuwa Kintu abasiige era ne Mubiru Owemmamba we yasanga Kintu n’amusenga. Bano be bastige Kakoto Mbaziira be yawa Kintu ng’ali e Mangira: 

(1) Kabengwa, ono Kakoto yamuwaayo kulundanga nte ya Kintu eyayitibwanga Aanywomu. Omutaka ono ali Nakanyonyi mu Kyaggwe. 

(2) Sekituba ow’e Nakibano Kakoto gwe yasiiga okwasizanga Kintu enku era yatuumilbwa n’erinnya erya Kyasanku. 

(3) Kitanda ow’e Nakalasa ye yasiigibwa okufumbiranga Kintu mmere. Entamu Kintu gye yamuwa okufumbangamu emmere ye yayitibwanga Kabigiza. Embazzi eyatemanga ennyama yayitibwanga Kaboggoza. 

(4) Nabitimpa ow’e Kitovu mu Kyaggwe yasiigibwa kukubiranga Kintu Ntamlivu.

 

Kintu bwe yava mu kibuga kye eky’e Mangira n’asitula okulagamu Busujju. Bwe yava e Mangira yasula Musumbwa. Bweyava awo yasula Bukesa (Nnamirembe). Bwe baava e Bukesa basula Mugongo. Awo e Mugongo (mu Kinaawa) Kakoto yasimbawo omumwanyi n’agutuuma erinnya Ssemitego. Bwe baavaawo ne batuuka ku Naggalabi (Buddo). Bwe baava ku Naggalabine bagenda mu Busujju. Kakoto yalaba Kintu amaze okutereera ku Bwakabaka ye'n’asaba addeyo ewuwe. Naye Kakoto bwe yali ng’ava ewa Kintu yamulekera omusiige Kafuuma okumufumbiranga emmwanyi. Na buli kati Kafuuma Mutaka mukulu nnyo mu Busujju. Kakoto, omwana we Muyanja gwe yawa Kintu ayambenga musajja we Mubiru Gabunga okubajjanga amaato g’empingu ye. Muyanja yaweebwa n’embazzi bbiri (a) Nankunga ne (b) Balyaamanyama ezaabajjanga amaato ga Kabaka.

 

Kakoto bwe yava e Busujju yadda Bulama. E Bulama yamalayo ebbanga ttono n’aweebwa okufuga Kyaggwe cra n’agenda azimba ku Mukono. Mu Bwassekiboobo Kakoto Mwe yafiira. Bwe yamala okufa mutabani we Bbavulyantamu n amusikira, Bbavulyantamu ye obwami yaweebwa bwa Namutwe. Bwe yabuvaamu n'genda okuba embuga ye ku mutala Kasaayi. Awo abasika be we baggya embuga ne bagizza ku mutala Bulimu, Nag buli kati omukulu w’Ekika ky Ennyonyi ow’akasolya abeera ku Bulimu. Ku linnya lya Kakoto abasika Se baayongerako erya Mbaziira Kaakano omukulu w’Ekika ky’Ennyonyi Ow’akasolya ayitibwa Kakoto-Mbaziira.

 

Olubereberye twalabye nti embaga Nijiwe gye yali ateeseteese olw’okuyingira ennyumba ye empya yatabulatabula nnyo abaana be era n’ebaleetamu enjawukana. Naye ate ne ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro Abennyonyi baayongera okwawukana.

 

Kabaka Ssemakookiro bwe yakuba ekibuga ku lusozi Kitende, baali bali awo ennyonyi eyitibwa Kimbagaya n’ejja egwa ku nnyumba ya Kabaka. Abantu bwe baagiraba ne bategeeza Kabaka nti tasaana kusula mu nnyumba eyo. Ennyumba Kabaka gye yasulamu ku olwo baazimba ya kiggwerawo. Kabaka bwe yali yeebuuza ennyonyi gy’evudde okugwa ku nnyumba ye abaaliwo ne bamutegeeza nti “Evudde Bulama mu Bennyonyi". Kabaka olwawulira ekyo n’alagira Abennyonyi bonna okubanyaga. Era bangi mu bo battibwa, n’obutaka bwabwe ne bubaggibwako. Abaawonawo kwe kudduka ne beekweka mu Bika ebirala. Awo nno we waava enjogera egamba nti:

 

“Okinsombedde, K: imbagaya yakisombera Balama’’.

 

Okwawukana okwo okw’emirundi ebiri kulinga kwe kwavaako ekika ky’Ennyonyi okwetemamu amatabi abiri amanene agaliwo kaakano: (1) Abeddira ennyonyi “Ennyange", (2) n’abeddira ennyonyi “Nakinsige””,

 

Newakubadde nga kaakano Kakoto Mbaziira y’afuga ekika ky'Ennyonyi kyonna, nave edda, ye n’ab’Amasiga ge be tujja okulaba, baayitibwanga Bannyange, ng’ate Kyeyune e Mirembe n ab’Amasiga 8€ bayitibwa Bannakinsige. Amannya agaatuumibwa Abeennyange n’Abannakinsige si ge gamu era nemibala tegilvuga bumu.

 

BANO BE B’AMASIGA ABATUUKA KU MBAZIIRA

 

(A) ENNYANGE

 

Omutaka Obutaka Mu Ssaza

 

1. Muyanja Bussi Busiro

2. Kafuuma Bufuuma Busujju

3. Nundye Muvo (Bukunja) Kyaggwe

4. Mikalo Ssimba (Bukunja) Kyaggwe

5. Kituuma Mmengo (Bukunja) Kyaggwe

6. Kyesimba Kimbugu (Bukunja) Kyaggwe

7. Nawandugu Sserinnyabbi (Luubu) Mawokota

8. Muyomba Buyomba Kyaggwe

9. Luganda Bbanga Kyaggwe

10. Lugonda Bwema Buvuma

11. Kibongo Bufumira Ssese

12. Kassukussuku Nabitaka Buddu

13. Kaboola Bukaya (Bukunja) Kyaggwe

14. Kawuba Kyazi Kyaggwe

15. Ggunga Bunjakko Mawokota

 

(B) AMASIGA AGA NNAKINSIGE

 

1. Kyeyune Mirembe Kyaggwe

2. Mmombwe Ntakafunvu (Lusera) Kyaggwe

3. Makanga Mpumu Kyaggwe

4. Najjambuubu Luwangala Mawokota

 

EMIRIMU GY’ABENNYONYI KU KABAKA

 

1. Mbazira yabanga musawo wa Kabaka mukulu.

2. Twalaba ng’Obwamusolooza bukolebwa Bannyonyi.

3. Obwannakyeyo nabwo be babukola.

4. Twalabye nti Muyanja yali mubazzi wa maato ga Kabaka.

5. Abennyonyi be baasamiriranga Lubaale Mirimu ow’eNdejje.

6. Abasiige abaweebwa Kintu nabo twamaze dda okubalaba. Twalabye nga Kabengwa ow’e Nakanyonyi mu Kyaggwe y’alunda ente ya Kabaka eyitibwa Kanywomu. 

 

EMIBALA

 

1. "Bambe omuggo neewerekeze, mu Kyambadde mulimu engo" (Gwe gwa Mbaziira n'Amasiga ge).

2. "Si Mwanna Kijjolooto. Bwa'ali Wannyonyi abuuse." (Gwe gwa Kyeyune n'Amasiga ge.)


 

 

 

 

 

Amannya ga be Nnyonyi Nnyange

Abawala
Nannyombi

Abalenzi
Mbaziira
Nnyombi
Seruwu
Ssenyange
Zziwa
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;