EKIKA KY’ENSEENENE (Grasshopper)
AKABBIRO: NABANGOGOMA
Abeddira Enseenene edda baali Bayima abalunzi b’ente, nga babeera mu lusozi Mugamba e Busongola mu nsi y’e Toro. Jjajjaabwe ye “KIROBOOZI”. Kiroboozi yalina abaana bangi. Bwe yafa abaana be ne bakaayanira obusika.
Abaana be bano: Buyonga ne Kalibbala ne mwannyinaabwe Nnandawula bwe baalaba nga wamaze okubaawo oluyombo olwo olunene wakati mu bo bonna, ab’oluganda abo abasatu aboogeddwako waggulu kyebaava bateesa ne bava mu nsi y’e Busongola ne bayingira mu Buddu ku ludda lw’e Bwera, ne bazimba eyo.
Okuva e Busongola bajja n’ente zaabwe. E Bwera baatuulayo ekiseera ne kiwera. Bwe baava e Bwera ne bayingira mu Ggomba ne bazimba ku kyalo Nakakoni, ku mutala Kakubansiri. E Kakubansiri Buyonga ne Kalibbala we bafanaana okwawukanira, Buyonga n’agenda e Kisozi, Kalibbala n’agenda e Nsiisi mu Busujju.
Buyonga bwe yali ng’ali ku Kisozi n’azaala omuwala Wannyana. Winyi Kabaka w’e Bunyoro bwe yayita e Kisozi ng’ava okulambula amatwale ge ag’e Buddu n’alaba omuwala oyo Wannyana nga mulungi nnyo n’amwagala n’amuwasa n’agenda naye e Kibulala.
Wannyana e Kibulala gye yazaalira omulangira Kimera eyalya Obwakabaka bw’e Buganda ng’Omulangira Kalemeera amaze
okufa.
Buyonga ku Kisozi yasangako omukyala muka Winyi. Omukyala oyo yayitibwanga Muwummuza.~ Winyi yali amulese ku Kisozi ng’alinga omusiige waako ate era nga ye mufuzi w’ekitundu ekyo. Buyonga bwe yamulaba n’amwagala n’azaala naye omwana omulenzi.
Bwe baabuulira Winyi nti mukyala we. Muwummuza ow’e Kisozi yazaala omwana omulenzi, Winyi yaddamu kimu nti: "Enyoma agigaludde, ebadde ey omukazi okudda ku musajja".
Omwana oyo bwe yakula ng’erinnya erya "MUGALULA" likakata ku ye ne ku basika be. Okuva ku Buyonga n’okutuusa kati obutaka bwa Mugalula obukulu tebuvanga Kisozi mu Ggomba. Edda Mugalula yayambalanga ebikomo ku magulu era nga talaba ku Kabaka.
Kalibbala ye alinga eyatuuka e Nsiisi nga Kabaka Kintu tannakuba Lubiri lwe ku Nnono, oba nga kyajje alukube, kuba mu baami Abataka abaali ne Kintu e Nnono Kalibbala yali Musaale, era n’okutuusa kati obwami obwo akyabulimu.
MUGALULA ye mukulu w’Ekika ky’Enseenene ow’akasolya.
AMASIGA G’EKIKA KY’ENSEENENE AGATUUKA KU MUGALULA
1. Kalibbala e Nsiisi Busujju
2. Kajubi e Bujubi Busujju
3. Masembe e Maya Busiro
4. Kalanzi e Lugo Kyaddondo
5. Mpagi e Ziwungwe Mawokota
6. Malinzi e Mukoni Buddu
EMIRIMU GY’ABENSEENENE KU KABAKA
1. Kajubi Batema y’atema emiti ku Lubiri lwa Kintu e Nnono, era Kabaka bw’aba alya Obuganda, Kajubi Batema amusiba olukwanzi ku mukono ogwa kkono nga bw’amugamba nti "Ggwe Kimera".
2. Masembe ow’e Maya y’alunda ente ya Kabaka eyitibwa "Nnaamala". Kabaka bw’aba alya Obuganda Masembe aleeta mu maaso ga Kabaka ekyanzi ky’amata n’alaamiriza nti:
"Nze musumba wo alunda ente yo Naamala. Mu nte eyo jjajjaawo Kimera mwe yanywa amata".
Kabaka bw’amala okulasa ku kyanzi ky’amata n’olunwe, Masembe n’alyoka agaggyawo.
3. Edda Kalibbala ye yakwatanga empeewo ennamu Kabaka gye yasookerangako okuyigga okujjukira nti ne Kabaka Kimera yajja ayigga okulya Obwakabaka bw’e Buganda.
EMIBALA
1. "Ggwe mpagi, ggwe luwaga."
2. "Nakimera muka Ssuuna bw’asa bw’anegula."
3. "Byaja ne bigwa." (Guno gwa Mugalula.)
Abenseenene be baazaala Bassekabaka bano: Kimera, Ndawula, Kamaanya.
;