EKIKA KY’ENSUMA OBA KASULU (elephant snout fish)
AKABBIRO: KASULUBBANA AKATONO. (Katungwa ku nti ng’ enkejje, nako kaba mu nnyanja.)
OMUBALA: "Kibondwe yeddira Nsuma, Kibondwe atambula."
Jjajja w’Ekika ky’Ensuma era omukulu wakyo ow’akasolya ye KIBONDWE. Obutaka bwa Kibondwe obusinga obukulu buli Bukibondwe ku kizinga Buvuma. Kibondwe mutaka wa dda nnyo ku Buvuma. Kibondwe ne Kisanje e Maggyo Owemmamba, be bataka abakulu Omulangira Kayemba be yasanga ku Buvuma era be yalwanyisa ng’adduse muganda we Kabaka Jjuuko ku lukalu lw’e Buganda.
Kayemba bwe yakomawo ku lukalu ng’ayitiddwa muganda we Kabaka Jjuuko, Kibondwe ne Kisanje n’abantu be abamu be yali agenze nabo e Buvuma, baasigala mu Buvuma nga be Bataka baamu.
Kayemba bwe yava ku Buvuma Kibondwe ne Kisanje baasigala nga be Bataka abasinga obukulu ku kizinga okwo. Era Kibondwe ne Kisanje baalwananga nnyo bokka na bokka buli budde. Entalo eza bulijjo ze baalwananga, zaazimbisa Kibondwe embuga ey’okubiri mu kifo ekiyitibwa Bubootwa.
Embuga eyo ey’okubiri Kibondwe yagikola mu ngeri ya kigo, era yagikola kumpi n’ensalo eyamwawulanga ne Kisanje. Mu kigo ekyo Kibondwe mwe yasinziiranga okulwanyisa Mutaka munne Kisanje. Mu kigo ky’e Kibondwe yaterekangamu amafumu mangi ge yalwanyisanga. Ku mafumu Kibondwe ge yalima mu kigo kye, kwe yaggya erinnya “‘Ayagala-effumu”’ lye yakituuma.
Amakulu g’erinnya eryo ge gano nti "Ayagala effumu agenda Bubootwa". Mu kifo Bubootwa, kaakano Kibondwe gy’atuulira ddala, naye obutaka bwe obukulu bwe bw’e Bukibondwe; era e Bukibondwe Bakibondwe gye baziikibwa nga bafudde.
Entalo za Kibondwe ne Kisanje zaabanga za maanyi nnyo. Kibondwe bwe yabanga agenda okulumba Kisanje ng’akuba ennjoma ye eyavuganga nti: "Muteme emiti, eginaasitula abafu".
Ekyakubyanga Kibondwe ennoma eyo kwe kutegeeza Kisanje n’abantu be nti “Ye Kibondwe ajja kubatta nnyo”. Naye newakubadde Abataka abo baalwananga bwe batyo bulijjo, tewali yagoba munne ku Buvuma. Kabaka Mwanga okuwangula Buvuma mu 1893 yabasangako era n’okutuusa kati kwe bali.
ABAANA BA KIBONDWE AB’AMASIGA ABAMUTUUKAKO
1. Ggulu e Bugulu Buvuma
2. Mirambo e Butende Buvuma
3. Vvunda e Bwanga Buvuma
4. Zizinga e Buzizinga Buvuma
5. Ntambi e Bubaga Buvuma
6. Kiyuka e Buziri Buvuma
;