EKIKA KY’ENSWASWA
AKABBIRO: GOONYA
Omubala: "Mayengo Itutu"
Jjajja w’Ekika ky’Enswaswa era omukulu waakyo ow’akasolya ayitibwa MAYENGO. Obutaka bwa Mayengo obukulu buli ku Bugabo mu Buvuma.
Mayengo agamba nti yava Masaaba mu Bugishu n’agenda e Kavirondo. Eyo gye yava n’ayingira mu Busoga. Bwe yava e Busoga n’alyoka agenda ku Buvuma gy’ali kaakano. Omulangira Kayemba okugenda okuwangula Buvuma nga Mayengo ku Buvuma kw’ali.
AB'AMASIGA ABATUUKA KU MAYENGO
1. Kisuule e Bugabo Buvuma
2. Munyingu e Bugabo Buvuma
3. Kimbirye e Buruli Buvuma
4. Kawundo e Buwanzi Buvuma
5. Mwavu e Buwanzi Buvuma
6. Yihara e Buyihara Buvuma
;