EKIKA KY’ENTALAGANYA
AKABBIRO: MALEERE
EMIBALA
1. "Basajja balamaga, bajja balamaga, Kaddu omulamazi."
2. "Balamaga, ne jjo ndiramaga nga nteganira obutaka."
Jjajja w’Ekika kino era omukulu wakyo ow’akasolya ayitibwa BAMBAGA. Bambaga yajja ne Kintu. Bwe baatuuka ku lusozi Wajjala Bambaga n’asigala awo. Naye Kintu bwe yamala okulya Obuganda ne Bambaga n’atuuka, Kintu n’amuwa ekyalo Bambaga mu Bulemeezi.
BANO BE BAANA BA BAMBAGA AB’AMASIGA
1. Lutwama e Kakiri Busiro
2. Nnalumenya e Nsolo Busiro
3. Mugambajjolo e Kyaliwajjala Kyaddondo
4. Ssewaalinte e Gangama Bulemeezi
5. Wasswa Balamaga e Buwanguzi Ggomba
Balamaga Wasswa mutabani wa Nnalumenya e Nsolo bwe yamala. okuwangula Abanyoro abaali mu Ggomba, essaza eryo Abentalaganya ne baliriira ddala ng’ery’obutaka okuva ku Kabaka Kateregga okutuuka ku Kabaka Ssemakookiro. Ku Kabaka Ssemakookiro essaza ly’e Ggomba kwe lyatandikira okuliibwa ensowole. Mu Ggomba Abentalaganya Balamaga Wasswa ye yabatwalamu ne bafunamu obutaka bw’e Buwanguzi.
;