EKIKA KY’ENTE (cow)
AKABBIRO: NGAALI
OMUBALA: "Ekyuma nkiridde n’omukimba ngulidde." (Omukimba gwe musaala.)
Ekika ky’Ente kirimu emitindo mingi, naye egisinga okumanyika girl nga mukaaga.
(1) ABEDDIRA ENTE ETERIIKO MUKIRA. Abo be bayitibwa Abagabo ab’e Mulema. Eno ye nsonga ebayisa Abagabo: Edda omwezi bwegwekanganga ne gwaka ng’enjuba, Abaganda gwe bayita ogw’eggabogabo Abente ab’e Mulema tebaalyanga kyakiro. Ekyo kye kyabayisa Abagabo.
Abagabo ab’e Mulema tebalya nnyama ya nte oba ensolo yonna ezaalibwa nga teriiko mukira. Ne gonja oba ettooke erissa nga teririiko mpummumpvu tebalirya.
Era n’ettu erisibwa ne likunguyizibwa ne litabaako kaayi kasoolobye Abagabo edda tebaaliryanga.
Omukulu w’Ekika ky’Ente ow’akasolya ava mu Bagabo, ayiti bwa KATONGOLE. Katongole agamba nti yava Bunyoro, era agamba nti e Bunyoro yavaayo mu ngeri eno:
Awo olwatuuka Katongole n’asiigira Kabaka w’e Bunyoro omuwala. Omuwala teyalwa n’aba olubuto. Olubuto bwe lwatuuka okuzaala omukyala n’azaala omwana namagoye. Kabaka bwe yalaba omwana n’atya nnyo. Abalaguzi kwe kumuwa amagezi nti “Okuba omulamu kirungi otte omwana ne nnyina ne mukoddomi wo Katongole”. Katongole bwe yawulira amagezi abalaguzi ge bawadde Kabaka naye kwe kugamba abaana be bonna nti "Musibe ebyaffe tudduke mangu tugende mu nsi gye tuliwonyeza obulamu bwaffe".
Bino bye bifo ebikulu Katongole n’abaana be bye baasulamu nga badduka okuva e Bunyoro: Kawuula, Kiyima mu Ssingo, Kisozi mu Ggomba. Awo e Kisozi abaana ba Katongole abamu we baamwawukanirako ne bagenda e Buganga mu Mawokota. Katongole n’abaana be be yasigala nabo bwe baava e Kisozi ne bagenda mu Buddu. Mu Buddu Katongole yatuukira mu kibira Teero ekiri okumpi ne Ssango okuliraana ennyanja y’e Lweru, Nalubaale (Victoria). Katongole ekyamuyingiza mu_kibira Teero kwe kutya nti Kabaka sikulwa ng’asindika abantu okumunoonya bamutte. Naye yalaba ebbanga liyiseewo nga tewali bantu bamulondoola kwe kuva mu kibira Teero n’agenda azimba kumpi n’omugga Kabiga era n’abaana be ne basaasaanira mu bifo ebiri okumpi n’omugga ogwo.
Katongole bwe yava mu Kabiga n’agenda ¢ Bijja (kaakati we wayitibwa Biikira). Awo ku Bijja batabani ba Katongole bano: Nakaana ne Lukyamuzi ne Lwegaba we baasinziira ne bagenda mu kyalo Mulema. Bwe baakituukamu ne balaba nga kiri kumpi n’emiti egivaamu amanda ate nga n’amazzi gali kumpi, kuba Katongole n’abaana be baali baweesi. Abalenzi bwe baddayo e Bijja ne bagamba kitaabwe nti “Kirungi tukutwale e Mulema gye tuba tubeera nga tuweesa”. Naye Katongole yali takyayagala kusengukasenguka, kyeyava agaana okuva e Bijja. Batabani be baalaba kitaabwe agaanidde e Bijja bo ne bagenda bokka ne bazimba ku Mulema.
E Mulema baamalayo ebbanga ttono kitaabwe n’alwala kawumpuli n’amuttira ku Bijja. Nakaana kitaabwe gwe yalaamiraokumusikira. Nakaana bwe yamala okusikira kitaabwe n’addayo ku Mulema. Okuva olwo n’okutuusa kati obutaka bwa Katongole tebuvanga ku Mulema.
(2) ABEDDIRA ENTE YA LUBOMBWE.
(3) WALIWO ABEDDIRA ENTE YA KAASA. Ye nte eba n’ebbala eryeru mu mutwe.
(4) WALIWO ABOBUSITO. Abo be batanywa mata agava mu nte ewaka nga tewannayita nnaku mwenda okuva lwe yazaala.
(5) ABEDDIRA ENTE EYA KAYINDA. Ente eya Kayinda y’eyo erina olugongogongo oluddugavu okuva ku mutwe okutuuka ku mukira.
(6) ABEDDIRA ENTE ERINA EKINUULO EKIDDUGALA EKIGANJA EKIMU ATE EKIRALA NGA KYERU. Abeddira ente z’emitindo egyo gyonna kaakano bakulirwa Katongole, omukulu w’Ekika ky’Ente kyonna, naye buli mutindo gulina Amasiga gaagwo agatuuka ku Katongole, era buli mutindo gukuuma obulombolombo bwagwa. Katongole agamba nti e Bunyoro yavaayo ku mulembe gwa Kabaka Winyi I.
Gano ge Masiga amakulu agali mu Kika ky’Ente agatuuka ku Katongole:
1. Lukyamuzi e Mulema Buddu
2. Lwegaba e Mulema Buddu
3. Kajojo e Kikukumbi Buddu
4. Ddungu e Kazinga Buddu
5. Kagayo e Bukwale Buddu
6. Mbiriire e Kasago Buddu
7. Lwera e Nabugabo Buddu
8. Lwera e Kyamabaale Buddu
9. Kalibata e Kagaba Ssingo
10. Namuyira e Bugabo Buddu
11. Nakaddu e Lusiba Ssingo
12. Namutale e Nsiisi Ssingo
13. Nakaddu e Nabikasa Buddu
14. Bugala e Kyamiiru Buddu
15. Lubowa e Mugombe Buddu
16. Kiwaanyizi e Mulengeka Buddu
17. Mugenyi e Ndoddo Ggomba
18. Muganji e Mubende Buweekula
19. Ssebyayi e Kitama Buweekula
20. Njuki e Kasago Buddu
21. Luwondera e Kiyumba Buddu
22. Kituzi e Nankwale Ssingo
Omulimu gw’Abente omukulu ku Kabaka gwa buweesi. Era n’e Bunyoro baali baweesi ba Kabaka. Mu mannya ge batuuma tujja kusangamu mangi agategeeza omulimu gwabwe ogw’obuweesi. Abente be baweesa enkumbi etema mu mbuga nga Kabaka ayabya olumbe lwa kitaawe, era Abente be baaweesezanga baka Kabaka enkumbi.
Abente be bazaala Ssaabasajja Kabaka Mutesa II.
Abente n’Abayanja Bataka ba dda nnyo mu Buddu, era oboolyawo ng’edda ennyo baali ba Kika kimu bonna.
;