EKIKA KY’ENVUBU
AKABBIRO: Njovu


Jjajja w’Ekika ky’Envubu era omukulu waakyo ow’Akasolya ye KAYITA. Kayita yajja ne Kintu. Bwe baatuuka ku Buganda, Kayita n’azimba ku lusozi Ntonnyeze mu Busujju. Bwe yava eyo n’agenda azimba ku kasozi Mmengo okuli ekibuga kya Kabaka kaakano. Ku Ntonnyeze Kayita kwe yaleka omwana we Kavubu. Ku kasozi okuli ekibuga kya Kabaka, Kayita kwe yazaalira abaana be bano: Kaseeseeba, Nkukunala Kibengo ne Nkambo.


Kayita bwe yava ku Mmengo n’agenda e Busaabala. Bwe yatuuka e Busaabala omwana we Kaseeseeba n’abulira mu nnyanja. Kayita yalaba omwana we abulidde mu nnyanja n'alowooza nti envubu ye yamulya. Okwo Kayita n’abaana be kwe baasinziira okweddira envubu. Era n’omwalo omwana wa Kayita mwe yabulira kyeyava aguyita Kivubu, na kaakati eryo lye linnya lye guyitibwa. Ku kasozi okuli ekibuga kya Kabaka, Kayita kwe yaleka omwana we Nkukunala Kibengo. Omwana oyo bwe yava mu kifo ekyo oluvannyuma naye n’awunguka ennyanja n’agenda e Ssese gye yafunira erinnya erya Sserumaga. Mukifo ekyo awali ekibuga kya Kabaka, Kayita n’abaana be baalekawo emmengo zaabwe n’ekifo kwe kuyitibwa Mmengo. Emmengo ezo Abenvubu baaziggyawo nga Ssekabaka Mwanga II amaze okukubawo ekibuga kye.


Kayita bwe yava e Busaabala n’awunguka ennyanja n’agenda mu Kyaggwe ku lusozi Mbazi oluli e Kojja. Awo Kayita we yasimbira ddala bwanda era bwe butaka bw’Abenvubu obukulu kaakano. E Bussaabala Kayita we yaleka omwana we Nkambo.


Ku Mbazi Kayita kwe yazaalira abaana be abalala ab’Amasiga abamutuukako. Gano ge Masiga agatuuka ku Kayita:


1. Kavubu e Ntonnyeze Busujju
2. Sserumaga e Bwendero Ssese
3. Nkambo e Busaabala Kyaddondo
4. Kasimaggwa e Mbazi Kyaggwe
5. Kisongole e Mbazi Kyaggwe
6. Ggambira e Masujju Kyaggwe
7. Namugunde e Mbazi Kyaggwe
8. Ssebabi e Mbazi Kyaggwe
9. Mbuge e Mbazi Kyaggwe
10. Sempuuwo e Zzinga Busiro
11. Jjita e Matanga Busiro
12. Kibowa e Ddamba Kyaggwe
13. Mutwe e Bugolo Kyaggwe
14. Mawagajjo e Bugolo Kyaggwe
15. Ndobera e Buuje (Koome) Kyaggwe
16. Walyato e Kkerenge Buvuma
17. Kikondo e Bugolo Kyaggwe
18. Sserufusa e Buligo Ssese
19. Kanaaba e Mbazi Kyaggwe


EMIRIMU GY’ABENVUBU KU KABAKA


1. Mutalaga ow’omu Ssiga lya Ggambira y’aweesa empiima Nalwangaala Kasujju gy’akwasa Kabaka ng’asikira Obwakabaka, era Mutalaga ye yanaanikanga bakyala ba Kabaka engaga nemisagga egy’ebikomo. Mu baweesi ba Kabaka Mutalaga ye Ssekiboobo.


2. Ttengetenge ow’e Lubiri y’aluka engabo ya Kabaka Bwakiro


3. Abenvubu be baasamiriranga Lubaale Kiwanuka.


OMUBALA GW’ABENVUBU
"Mu nnyanja weddiramu ki? Nvubu."


Abenvubu n’Abenjovu balinga abaali ab’Ekika ekimu olubereberye, kuba bonna bagamba nti bajja ne Kabaka Kintu ate n’ekifo bajjajja b’Ebika ebyo byombi mwe baasookera okuzimba kye kimu. Ate era omubala gw’Abenvubu gugamba nti "Mu nnyanja nnyanja weddiramu ki?” nti "Nvubu". Weewaawo gukoma awo, naye kirabika nti gwagala okwongera okubuuza nti "Mu nsiko weddiramu ki??? Okuddamu nti "Njovu"", anti ke kabbiro kaabwe.
 

Amannya ga be Nvubu

Abawala
Bulyaba
Lugulu
Nabibubbu
Nakangu
Nakavubu
Nakayini
Nakibengo
Nakirya
Naluwooza
Namuligo
Namwendero
Nanjebe
Nankambo
Nassango
Nawalyato
Ndiwaabeene
Nnaabikaanyula
Nnalumaga

Abalenzi
Batyakyema
Ggambira
Ggita
Kanaaba
Kasaato
Kasimaggwa
Kavubu
Kibengo
Kibowa
Kirega
Kirinnya
Kisongole
Kiwunda
Kiyabo
Kiyimba
Kiyini
Kiyuzi
Kkaala
Mbuge
Mpeke
Mubazzi
Mugambwa
Muggyabaza
Mugonja
Mukooza
Mumpi
Namugunde
Ndobere
Nkambo
Nkuuwe
Semmengo
Sennungi
Sennyungule
Ssango
Ssebabi
Ssebwalibugya
Ssemajamba
Ssemutego
Ssemutemu
Ssemuzinyi
Sserubiri
Sserumaga
Walyato
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;