EKIKA KY’ENVUMA
AKABBIRO: KATINVUMA


Kye baytta “envuma’’ kantu kalinga embira oba akatitt. Mbu kabeera mu nnyanja, Abenvuma tebambaza baana baabwe bubira obwo obuyitibwa envuma.


Akatinvuma ko kabowabowa. Kabeera ku nsitko. Abenvuma tebakassa mu byogero bya baana baabwe okukayenga n’eddagala eddala.


Ebigambo by’okujja kw’Abenvuma mu Buganda byogerwa bwe biti: Jjajjiaa wAbenvuma ye KYADDONDO. Kyaddondo yajja ne Kintu. Kintu bwe yamala okuzimba ku Magonga mu Busujju, Kyaddondo n’azimba ku mutala Busaaku mu Busujju. Ku Busaaku Kyaddondo yamalako ebbanga ttono ne bateesa ne Kintu, Kyaddondo n’agenda ku lusozi lwe tuyita Lubaga kaakano, n’azimba okwo. Bwe yava ku Lubaga n’adda ku Mbuya. Bwe yava ku Mbuya n’adda ku Kawempe. Bwe yamala okuzimba, abantu abaagendanga gy’ali ne batandika okwogeranga nti "Tugenda wa Kyaddondo". Awo erinnya Kyaddondo we lyasinziira ne libuna olusozi lwonna Kyaddondo kwe yali. Era bwe lyagenda ligaziwa, ne libuna essaza lyonna kaakano criyitibwa Kyaddondo. Ku Kawempe Kyaddondo kwe yazaalira omwana we ayitibwa Kagoma. Kyaddondo yafiira ku Kawempe era kwe yaziikibwa. Omwana we Kagoma ye yamusikira. Kagoma bwe yamala okusikira kitaawe n’agenda abeera ku mutala kaakano oguyitibwa Maganjo. Ku Maganjo Kagoma kwe yazaalira omwana we ayitibwa Lwomwa. Oyo Lwomwa bwe yakula n’agenda azimba ku mutala oguyitibwa Jjinja. Lwomwa bwe yali ng’ah ku Jjinja n’azaala omwana we Mugambwa. Lwomwa bwe yafa omwana we Mugambwa n’amusikira. Mugambwa bwe yamala okusikira kitaawe n’agenda azimba ku butaka bwa jjajjaawe Kyaddondo ku Kawempe. Mugambwa bwe yali ng’ali ku Kawempe, n’azaala abaana be bano:


1. Walugumba ow’e Ssebbajjo Tomi mu Kyaddondo.
2. Wagaba ow’e Ssewampaka mu Busiro.
3. Kasirye ow’e Naggyo mu Kyaddondo.


Walugumba bwe yakula n’azaala abaana be bano:


1. Jjita ow’e Nansangwa, Kyaddondo.
2. Ssere Ssekaggya Sseruwagi Nambatuusa ow’e Bbumbu, Kyaddondo.
3. Lule Kasiriivu ow’e Nangabo, Kyaddondo.


Mugambwa bwe yafa omwana we ow’okubiri, Wagaba, n’amusikira. Ennaku zaayitawo ntono nga Wagaba amaze okusikira kitaawe, obutiko ne bumera ku malaalo ga Mugambwa. Ssere, omwana wa Walugumba bwe yalaba obutiko obumeze ku malaalo ga jjajjaawe, n’asanyuka era n’agenda ayita baganda be, ne baggya obutiko obwo ne babutwala eka. Wagaba bwe yalaba obutiko obuvudde ku malaalo ga kitaawe, n’agamba baganda be ne batabani be nti "Tetuyinza kulya butiko obumeze mu kitaffe". Baganda ba Wagaba ne batabani be bamuddamu kimu nti "Tewali kitugaana kulya nte kitaffe gy’atugabudde".


Wagaba yalaba baganda be bagaanye okuwulira ebigambo bye ate ng’obutiko buleese empalana wakati we ne baganda be, ye kwe kusiba ebibye n’ava e Kawempe n’agenda mu Busiro nga bamaze n’okulwana ne baganda be. Wano kirabika ng’obukulu bw’obujjajja obw’ennono Wagaba yagenda nabwo, kubanga ye yasikira Mugambwa, eyasikira Lwomwa, eyasikira Kagoma eyasikira Kyaddondo, kuba ate tulaba ng’e Kawempe tewaavaayo muntu yagenda kusikira Wagaba wazira Baggunju ab’e Bukalango be balina obusika bwa Kyaddondo.


Olusozi Wagaba lwe yazimbako ng’atuuse mu Busiro, abantu nalwo kwe kulutuuma ‘‘Wagaba’’. Ku lusozi Wagaba kuliko ekitundu ekiyitibwa Ssewampaka. Erinnya eryo liringa eryagenderera okutegeeza empaka Wagaba ze yalina ne baganda be ezaamutwala mu Busiro. Mu Busiro Wagaba gye yazaalira Ekika ky’Obutiko.


Ssere, oluvannyuma banne baamutuuma erinnya Ssekaggya olw’okuggya obutiko obwamera ku malaalo ga jjajjaawe Mugambwa, ne bamuyeeyerezanga nti ssekaggya butiko. Okuva ku Ssere, erinnya Ssekaggya lyayingira mu Kika ky’Envuma ne likalira ddala. Ssere ye yaleeta n’erinnya lya Sseruwagi mu Kika ky’Envuma. Mu biro bya Ssere Abaganda baalwana nnyo n’Abanyoro abaali mu Buganda. Ssere yali muzira nnyo mu kulwana ne mu kuzibira banne. Abantu kyebaava bagamba nti:


"Oyo ye sseruwagi, olwawangiza Abakyaddondwa".


Era baamuyita Nambaiuusa eyatuusa Abakyaddondwa, kuba yali muzira mu ntalo, n’atuusa Abenvuma bangi ku Kabaka. Oluvannyuma, erinnya Sseruwagi lyafuukira ddala ery’Ekika ky’Envumia.


Lule naye yali muzira nnyo mu ntalo z’Abanyoro ze twogeddeko. Yatta abantu bangi nnyo. Banne kyebaava boogeranga nti:


"Lule yatta kasirtiwvu".


Ku Lule erinnya Kasirituou kwe lyava okufuuka ery’Ekika ky’Envuma.


Erinnya Kyaddondo lyo terifuukanga. Omukulu_ w’Ekika ky’Envuma ow’akasolya y’ayitibwa Kyaddondo. Obutaka bwe obukulu buli Kawempe mu Ssaza Kyaddondo. We yaziikibwa wayitibwa Kyaddondo era amalaalo ge galabika.


Ab’Amasiga abatuuka ku Kyaddondo:


1. Walugumba Ssebbajjo Tomi Kyaddondo
2. Kasirye Naggyo Kyaddondo
3. Jjita Nansangwa Kyaddondo
4. Ssekaggya Bbumbu kKyaddondo
5. Kasiriivu Nangabo Kyaddondo
6. Gugu Ssekasiko Bubembe Ssese
7. Ssendege Bukasa Ssese
8. Mufuumula Nyimu Kyaggwe


Gugu. ne Ssendege baana ba Kasiriivu ow’e Nangabo, naye obukulu bw’emirimu gye baakolanga, bwabakkirizisa okuba Ab’Amasiga abatuuka ku Kyaddondo.


EMIRIMU GY’ABENVUMA KU KABAKA


1. Abenvuma basumba ba Kabaka. Edda Ssebalijja e Buwambo ye yalundanga ente ya Kabaka eyayitibwanga "Nakawombe". Ate Kaluusi ow’omu Buso, ye yalundanga ente y’Omulongo wa Kabaka. Ente Kaluusi gye yalundanga yayitibwanga "Kalongo".


2. Abenvuma be Bassaabagabo mu ssenero lya Kabaka.


3. Gugu ne muganda we Ssemagumba, be baali bakabona ba Mukasa abakulu mu Ssese. Bombi baabeeranga ku Bubembe. Ssendege ow’e Bukasa, ye yali kabona wa Wannema. Lusundo ow’e Busundo mu Ssingo, ye yali kabona wa Wamala. Muzimba ow’e Bulyake mu Bulemeezi, ye yali kabona w’omugga Lumansi.


7. Nakasaawuula ow’omu Ngobe e Sseguku, ye yali kabona womugga Mayanja Kato.


8. Mmondo Omutaka w’e Buswa e Ssese, mutabani wa Gugu, y’akuuma ekibira "Luggo" omutemwa "Ddamula". Banoba mutabani wa Gugu omulala, y’akuuma ekibira Buwe eky’e Kkoome era ekitemwamu "Ddamula". Ddamula atemwa mu muti gwa "Nzira".


9. Munyagwa e Kirindi, ye yawungulanga abantu abaavanga e Busoga okujja e Buganda, n’abaavanga e Buganda okugenda e Busoga, nga bayita mu mwalo Bukweya ku mugga Kiyira. Eryato lye ekkulu mwe yawunguliranga abantu, lyayitibwanga "Nakakweya". Omulimu ogwo Munyagwa yagutandika ku Mikaabya.


10. Kyoto e Buyinja mu Kyaggwe, y’aweesa ekifumu "Kayiikuuzi" Namusu ky’asimisa ebinnya bya Kabaka.


Abenvuma baayatiikirira nnyo ku mulembe gwa Kabaka Nakibinge. Ssekaggya eyali Katikkiro wa Kabaka Nakibinge, ne Jjita Mankumba eyali Kaggo we, ne Kasiriivu eyali Ssekiboobo, bonna baali ba Nvuma. Ssekaggya ne Jjita Mankumba, be baatwala Kabaka Nakibinge e Ssese ng’agenda okusaba Wannema omuzira Kibuuka. Kagali mutabani wa Ssekaggya, ye yadda ku Bwakatikkiro nga kitaawe Ssekaggya amaze okubuvaako olw’obukadde, nga ne Kabaka Nakibinge amaze okufa.


Amannya Abenvuma ge batuuma mu Masiga gonna ge gamu. Kyokka waliwo amatonotono agasibuka mu Masiga g’e Ssese n’ery’e Kyagewe.
 OMUBALA: "Mpadduka (okulwana) aliddayo,mu Kyaddondo".


Omukyala Nalunga muka Kabaka Jjuuko yali Wanvuma. Kabaka yamuwasa Nabutitti ew’?Omutaka Nakabalira. Kitaawe ye Ssemaluulu. Nalunga baayagalana nnyo ne Jjuuko. Yagoya n’amayuuni okumusanyusa, ne bamuggyako enjogera zino zombi:


(a) "Nkole mpoomye, Nalunga yagoya amayuuni".


(b) "Ontuuse, Nalunga yatuuka Fyuuko".


Nalunga amayuuni yagagoyera ku kasozi Bukasa, naye oluvannyuma akasozi nako baakatuuma Nkolempoomye. Akasozi ako kali Nabutitti.


Mu kika kino mwe mwazaalibwa Canon Apolo Wasswa Kiveebulaya ow’omu kibira e Mbooga mu Congo. Kitaawe ye Samuel Kisawuzi. Kisawuzi yaziikibwa ku kasozi Kabenge ku Nabutitti. Ate Filipo Sseruwagi Namukadde, omu ku Baganda abasatu, Muteesa I be yasooka okutuma ewa Queen Victoria mu 1879, naye yali Wanvuma, era naye yaziikibwa ku Nabutitti.



 

Amannya ga be Nvuma

Abawala
Mbekeka
Mbigidde
Nabirimu
Nabubi
Najjita
Nakasi
Nakkomo
Nalunga
Nambwayo
Namiyonga
Nangabane
Nankanja
Nannozi
Nantaba
Nanvuma
Nnabasirye

Abalenzi
Bukulu
Ggita
Kabembula
Kabenge
Kabinuli
Kagali
Kaggo
Kagoma
Kasi
Kasiriivu
Kasirye
Kavuma
Kibumbwa
Kiwana
Lugoloobi
Lwetutte
Mankumba
Mugambwa
Munyagwa
Seddyabanne
Ssebalijja
Ssekaggo
Ssekaggya
Ssekimette
Ssemaluulu
Ssemusu
Ssendagire
Ssendege
Ssenjovu
Sseruwagi
Walugumba
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;