EKIKA KY’OLUKATO
AKABBIRO: Kabbokasa. (Kabbokasa kitegeeza nti tebakwasibwa kibbo kyereere omutali kantu.)


Ekika kino kirina ebifo ebikulu bibiri eby’obutaka. Ekifo eky’olubereberye kiyitibwa Kisuza, kiri kumpi ne Kikoma mu ssaza Buweekula. Eky’okubiri ye Aiziba, nakyo kiri mu Buweekula.


Jjajja w’Aboolukato ab’oku butaka bw’e Kisuza ye MAGUNDA. Magunda yava ku kyalo Buyinja, mu Bunyiga, mu ssaza Ssingo, n’agenda e Kisuza.


Bano be baana ba Magunda: 1. Kaawa, 2. Kijaagiza. Abaana abo nabo baazaala abaana bangi. Bombi wamu baazaala abaana ng’amakumi abiri.


Magunda ne batabani be ne bazzukulu be abasinga obungi baaziikibwa ku butaka bwabwe e Kisuza, okumpi ne Kikoma mu Buweekula.


Omukulu w’Aboolukato ab’e Kisuza kaakano ayitibwa LYONGERA. Omulimu gw’Omutaka Magunda ku Kabaka gwali gwa buweesi.


Omukulu w’Aboolukato ab’e Kiziba ye NYAKAANA. Nyakaana okuzimba ku lusozi Kiziba mu Buweekula yava mu nsi y’Ankole mu kifo Mpololo.


Omulimu omukulu gwe yakoleranga Kabaka w’Ankole gwali gwa kulunda nte, ogw’okubiri gwali gwa busawo. Nyakaana yazaala abaana babiri: Rwabibi ne Rwawire. Rwabibi yazaala abaana mukaaga: 1. Makanaga, 2. Magala, 3. Bagandanswa, 4. Lubyayi, 5. Byomere ne 6. Tibihike.


Omutaka Nyakaana bwe yafa mutabani we Rwabibi ye yamusikira. Ate Rwabibi bwe yafa n’asikirwa muganda we Bagandanswa. Bagandanswa bwe yafa n’asikirwa mutabani we Nseerikomawa. Nseerikomawa bwe yafa n’asikirwa mutabani we Malungu.


Nyakaana ne baganda be be yajja nabo okuva mu Ankole ne batabani be ne bazzukulu be abasinga obungi baaziikibwa ku Kiziba.


 

Amannya ga be Lukato

Abawala

Abalenzi
Bagandanswa
Byomere
Lunyayi
Makanaga
Malungu
Nseerikomawa
Nyakaana
Rwabibi
Rwawire
Tibihike
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;