EKIKA KY’OBUTIKO
AKABBIRO: NAMULONDO


Namulondo nabwo butiko. Eyeddira Obutiko talya butiko bwa kibaala n’obwa Namulondo.


Omukulu w’Ekika ky’Obutiko ow’akasolya ayitibwa Ggunju. Obutaka bwa Ggunju obukulu buli Bukalango mu Busiro.


EMIBALA GY’ABOOBUTIKO


1. "Weekirikite, Ggunju ajja."
2. "Gabolokota teggwa nte (guno gwa dda)."
3. "Ggwe osoose obuliika, ow’omukago talaama (guno gwa Kajugujwe n’ab’omu Ssiga lye, gwatandikibwa Kajugujwe Musiitwa).


Ggunju agamba nti Jjajja w’Aboobutiko ye Wagaba. Wagaba yazaala abaana bangiko. Bwe yafa omwana we Ggunju Kasirye n’amusikira. Aboobutiko abamu tebakkiriza nti Wagaba yayawukana ku Banvuma. Abatakkiriza nti Aboobutiko baayawukana ku Banvuma era tebakkiriza nti Wagaba yali muntu. Bo bagamba nti Jjajjaabwe omubereberye ye Ggunju Kasirye eyajja ne Kabaka Kintu. Kizibu okwawula eby’amazima mu bigambo ebyo kuba
ku buli ludda kuliko ensonga ezifaanana okuba entuufu. Erinnya Ssekaggya Abenvuma lye batuuma, n’olusozi Wagaba okubaako Obutaka bw’Aboobutiko mu kifo Ssewampaka, ate n’Aboobutiko okutuuma erinnya Kasirye, byagala okulaga nti Abenvuma kye bagamba nti Wagaba yava Kawempe mu Benvuma kiyinza okuba ekituufu. Ate era e Nnono mu Busujju Aboobutiko tebalinaayo kibanja ng’Ebika ebirala.


Naye ate Aboobutiko n’Abataka abalala bakakasa nti Najjuka owe Kireka muwala wa Ggunju Kasirye yali muka Kabaka Ccwa Nabakka. Ekyo kiwakanya ebigambo ebyogerwa nti Wagaba mwana wa Mugambwa ow’e Kawempe, kubanga Ccwa Nabakka mwana wa Kintu so si muzzukulu.


Ate twalaba nga Kyaddondo yajja wamu ne Kintu. Wagaba bw’aba nga mwana wa Mugambwa, mu kuzaala kwa Kyaddondo, Wagaba muzzukulu we nakasatwe. Kirabika nti singa Wagaba yava Kawempe mu Benvuma yandigenze okuzaala Najjuka nga Ccwa Nabakka yafa dda.


Kiyinzika okuba ng’Abenvuma n’Aboobutiko baalina ensonga endala gye baasinziirako edda okwegatta. Ka tulekere Abataka abakulu mu Bika ebyo byombi okutunoonyeza ensonga entuufu egambisa abantu nti Ebika ebyo byombi edda byali Ekika kimu.


BANO BE B’AMASIGA ABATUUKA KU GGUNJU


1. Kabanda e Nkoowe Busiro
2. Nalumoso e Wagaba Busiro
3. Katimbo e Ssewampaka (Wagaba) Busiro
4. Kajugujwe e Bukeerere Kyaggwe
5. Bayegga e Luyege Busiro


EMIRIMU GY'ABOOBUTIKO KU KABAKA
1. Aboobutiko be baaleta entebe Namulondo okugifuula entebe y’Obwakabaka enkulu. Namulondo, muwala wa Ggunjuye yazaala omwa Kabaka Nakibinge Omulangira Mulondo. Kabaka Nakibinge okufa yaleka Mulondo akyali muto nnyo era Mulondo Obwakabaka yabulya akyali muto. Bakojjaabe kwe kumubajjira entebe eyo empanvu atuulengako abantu bamulabe. Kabaka Mulondo bwe yakula n’alagira entebe eyo efuuke entebe y'Obwakabaka enkulu Omulangira kw’alinnyisibwa ng’alya Obuganda.


2. Amazina g’Aboobutiko agayitibwa "Amaggunju"? (amazina ga Bannaggunju) nago gaatandika ku Kabaka Mulondo. Mulondo olw’okulya Obwakabaka ng’akyali mwana muto nnyo, bakojjaabe kwe kuyiiya amazina agatali ga bulijjo ge baazinanga mu maaso g’omwana waabwe okumusanyusa.


Ebyafaayo by’Ekika ky’Akasimba bigamba nti effumu eryaweesebwa Buyondo lye lyavumbuza enjole ya Kabaka Nakibinge eyaliebuze. Omusajja eyalonda effumu lya Kabaka yali agenze nalyo okulaba amazina Amaggunju, abantu kwe kumukwata n’awozesebwa omusango gw’obutemu okutuusa lwe yejjeerera.


Ebikulu ebyavumbuza enjole ya Kabaka Nakibinge byali bibiri:


(a) Amazina Amaggunju.
(b) Effumu lya Kabaka eryaweesebwa Buyondo.


Kabaka Mulondo bwe yakula ng’amaze okutegeezebwa byonna ebyamufaako mu buto n’ebyafa ku kitaawe, kwe kulagira nti "Amazina Amaggunju olw’okunkuza n’okuvumbuza amagumba ga kitange ngawadde ekitiibwa kinene". Bakojjange bagaziniranga buli Kabaka era n’Effumu lya kitange eryo "Kawawa" teribulangamu.


Amazina Amaggunju gazinirwa ku nnoma bbiri ennene, emu eyitibwa "Kawuugulu" endala "Kasaja". Kawuugulu y’enkulu. Kuliko n’obugoma obutono bubiri obuyitibwa "Namutongo" oba "Obujongo", ko n’engalabi etuzzibwa obutuzzibwa.


Zino ze nnyimba Bannaggunju ze batera okuyimba nga bazina Amaggunju:


1. Za Ggunju (ENDEGE)
Abaana ba Nalumoso, Mulimu n’Enseeyeeyi. (Mbu abatamanyi kuzinane bamala gayenjeera.)


Bwe twagenda ewa Lubuga, Twalyanga butagaba.(Wano baba basaba baweebwe eby'okulya bingi.)


Owange banaakubba! Ogenze okulannama, Nga banaakubba!(Balabula bannabyalo abajja okubalaba nti "Mulannaamirizza, munaagenda okudda eka ng’embuzi zammwe bazibbye".)


Mwe tuzze mwe mwaboffe, Twazze kweyogerera! (Ago ge mazina agasookerwako, era ganyumisa nnyo endege nga gagoberera envuga ya Kawuugulu ne Kasajja.)


2. OKUBINA
Nkutte mu nsawo, Eya Ggunju n’eya Kasujja. (Eyo ye nvuga ya Kawuugulu ne Kasajja ku ngeri ey’amazina agayitibwa "OKUBINA". Mu kubina babuuka nnyo.)


Ensuku zaffe bbiri, Ezaatuwonya enkolo. Ka neesulike ondable. (Eyo y’envuga y’ Obujongo mu kubina ne ku ndege.)


3. WAGGONGOLO


Waggongolo Omutanda! Ky’aberedde, azinze enkata Nga tannalaba kya kwetikka! (Gano maweweevu, gasinga kuzini, bwa nga bakooye olw’okwewummuzaako, era n’abakyala ge basobola okuzina kuba tegalina njawulo n’ago agazinirwa ku "Baakisimba".)


Twagambye nti Amazina Amaggunju ga Baabutiko. Abaggunju bwe baba bazina Amaggunju omuntu atali Waabutiko takkirizibwa kugenda kuzina wamu nabo wabula abaana baabwe abajjwa n’Abengeye. Abengeye bo bayinza okuzina wamu nabo. N’oluyimba lwe tulabye olw’okubina kyeruva lugamba nti “Nkutte mu nsawo eya Ggunju n’eya Kasujja”. Amakulu g’ebigambo ebyo ge gano: Kasujja ye yawa Aboobutiko omukazi eyazaala omuwala Nakayima. Nakayima bwe yakula Omulangira Wampamba n’azaala naye Omulangira Kayima eyalya Obwakabaka nga Kabaka Kiyimba afudde. Omuwala Owengeye n’Owoobutiko ze nsawo ebbiri ezoogerwako mu luyimba olwo.


3. Kimoomera e Mmanze mu Busiro mutabani wa Kabanda ye Mugoma wa Kabaka ow’okubiri omukulu akuba Mujaguzo Namanyonyi, n’engalabi ya Kabaka Kimera eyitibwa Ttimba.


4. Kajugujwe Mmunyi ye yaleega Entenga okumuvugiranga. Kabaka bwe yagiwulira ng’evuga n’agyagala nnyo n’agitwala n’agifuula ennoma y’Obwakabaka.


5. Kajugujwe e Bukeerere ye yali kabona wa Lubaale Nende.


6. Luboyera ow’e Busaanyi mu Busiro ye Musenero akuuma Ekita Mwendanvuma, ekimu ku bintu ebikulu ebyolekebwa Kabaka ng’asika.


7. Kawungu mu Mawokota, ye mwami eyanonanga Lubaale Mukasa e Ssese ng’ajja okulagula Kabaka. Obwakawungu Abo obutiko baabulyanga mu mpalo n’Abeffumbe, naye ku Michwa II ne bukakatira ku Boobutiko bokka.


8. Mutagwanya y’omu ku Bataka abana abatwala entebe Namulondo ku Wankaaki nga Kabaka agenda okusikira Obuganda. ~


Erinnya "Mugwanya", teriyolekeddwa mu mannya ago ag’e Bukeerere kuba si lya Baabutiko, lya mu Kika kya Nkima. Omugenzi Stanislas Mugwanya yalibbulwa bubbulwa ebukojjaabwe; era ye bwe yafuuka omuntu omututumufu ku Michwa II n’anyiikira nnyo okulibunyisa mu Boobutiko, ye yennyini ng’asaba abazadde batuume abaana baabwe erinnya eryo, era n’atandika n’okulituumisa n’abaana abawala nti "Nnamugwanya", so nga mu kika gye lisibuka teri ‘“Nnamugwanya’’.


Aboobutiko baakazaala Bakabaka basatu:


1. Kayima.
2. Mulondo.
3. Kateregga.

Amannya ga be Butiko

Abawala
Bakumba
Bulamutebweweebwa
Galyewala
Kagabane
Kiryokya
Kyendigamba
Mbuuliro
Nabuguzi
Nabuuso
Nagwovuma
Najjuka
Nakyagaba
Nakyazze
Nalugunju
Namberenge
Namulondo
Nannozi
Ndagu
Nnaabagereka
Nnaabakaawa

Abalenzi
Balinnya
Bbirikkadde
Ddibya
Kabu
Kabuusu
Kagombe
Kamudda
Kasirye
Katimbo
Kawere
Kikomaga
Kikwekwe
Kisaalita
Kisuule
Kyagaba
Kyazze
Luboyera
Lukubaga
Lumala
Lunja
Luwuzambugo
Maviiri
Mberenge
Mmunyi
Mubiru
Mubuuke
Mulagguusi
Mulo
Musiitwa
Muwaga
Naminya
Namutete
Ndidde
Nganda
Ntamba
Ssebulindye
Ssekiryango
Ssekweyama
Ssemagonge
Ssemugonda
Ssemugooma
Ssemugwengu
Sserwaniko
Wagaba
Wattitti
Zzimula
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;