EKIKA KY’EFFUMBE (Civet Cat)
AKABBIRO: KIKERE


Jijajja WwEkika kino ayitibwa BUGANDA-NTEGE-WALUSIMBI. Naye omukulu ow’akasolya atwala Ekika ky’Effumbe kyonna kaakano asinga kuyitibwa Walusimbi. Embuga ya Walusimbi eri ku Bakka mu Busiro ku butaka bwe obukulu. Bagamba nti Kintu okujja mu Buganda nga Walusimbi ali ku lusozi lwe Bakka, era nga y’afuga Bataka banne abaali mu Buganda.


Olubereberye Walusimbi yayitibwanga Buganda. Amannya gano: Ntege ne Walusimbi abakulu b’Ekika ky’Effumbe ab’akasolya baagafuna luvannyuma. Era olusozi Bakka edda lwayitibwanga MKisiri-kikadde. Erinnya Bakka lwalifuna ku mulembe gwa Kabaka Kagulu Tebuutwereke. Omulangira Kikulwe ne Mawanda bwe baali balumba Kagulu bakkira ku lusozi olwo. Abantu bwe baabalaba kwe kugamba Kabaka nti Baabo bakka. Okwo olusozi kwe lwava okuyitibwanga Bakka.


Walusimbi yazaala abaana bana. Abasatu abasooka be b’Amasiga asatu agali mu Kika ky’Effumbe.


1. Nagaya — Essiga lye alifugira ku Bakka mu Busiro.


2. Magunda — Kitaawe Walusimbi yamusimbira Omutuba ku Lwanga mu Mawokota.


3. Ssempala — Ono yagenda atabaala n’ayingira mu Bulemeezi ku mulembe gwa Kabaka Nakibinge. Ssempala ye yawangula ku Banyoro ekitundu kya Bulemeezi ekiyitibwa Bulamba.


4. Nakku — Ye yali kaddulubaale wa Kabaka Ccwa I. Okuva ku Ssekabaka ono n’okutuusa leero Nakku bwafuuka bwami ku Kabaka. Kabaka bw’afa, n’Omulangira ow’okulya Obuganda n’assibwa ku Namulondo, Nakku y’asooka okutema enkumbi mu mbuga okutegeeza abantu bonna nti olumbe luwedde okwabya, muddeyo ku mirimu gyammwe, Obuganda bulime.


Nagaya teyasimbirwa Mutuba kubanga ye yali omwana omukulu ku luggya lwa kitaawe, n’olwekyo yasigala Bakka ng’alinda obusika. Oluvannyuma ab’enda ye bwe baagenda baala kwe kumuwa Essiga.


Mu ye mwe muva Omutuba oguyitibwa ogwa MAkUBUYA oba KAsoLO. Mu Mutuba guno mwe muva abalya obwa Walusimbi era gwo gwetuukira ku Walusimbi, era nagwo agufugira ku Bakka.


EMIRIMU GY’ABEFFUMBE KU KABAKA


1. Omulimu gw’Abeffumbe omukulu ku Kabaka gwabanga gwa busawo. Magunda yali musawo wa Kabaka mukulu, nga y’asala emisango gyonna egijulira okuva eri Kabaka. Yagisalanga olw’okunywesa amaduudu abantu abaabanga bawozannanya.


2. Abeffumbe ab’Essiga lya Magunda be baali ne ku mulimu gw’okunonanga emmandwa ya Mukasa e Ssese. Omulimu ogwo baagukoleranga wamu n’Aboobutiko. Abaami abaabeeranga ku mulimu ogwo baayitibwanga BAkAwuNcuU. Embuga ye Bakawungu yabeeranga Buwungu mu Mawokota.


3. Kiwukyeru y’omu ku Bataka abakuurna Namulondo.


4. Tulabye nga bwe baba baabya olumbe lwa Kabaka Nakku y’atema enkumbi mu Mbuga okutegeeza Obuganda nti "Muddeyo ku mirimu gyammwe". Edda Obuganda baabuyitako obwa Ntege ne Kiyimba. Eno wansi ye nsonga abantu gye baasinziirako okwogera batyo.


Olwatuuka nga Kabaka Kiyimba ayagala nnyo Kaweesa mutabani wa Walusimbi ng’amuwa n’Obwakatikkiro era ng’amugamba nti “‘Nawe ojja kuyitibwanga Ntege nga kitaawo”’. Abantu bwe baalaba enteesa ennungi Kabaka Kiyimba gye yalina ne Katikkiro we kwe kwogera nti "Obuganda bwa Niege ne Kiyimba".


Kabaka Ccwa I bwe yabula ku Buganda, Nnamulondo n’esigalira awo, Walusimbi yafugako nga Kabaka. Oluvannyuma Abataka kwe kumuggyako ne bassaako Ssebwana Owoolugave Kimera gwe yagobako ng’azze okulya Obwakabaka.


EMIBALA GY’ABEFFUMBE


1. "Galinnya e Bakka."
2. "E Bakka Basengejja."
3. "Kakozaakoza anaakoza mu lw’effumbe (oluwombo)."


Mbu omubala guno “E Bakka basengejja” gwajja mu_ngeri ya kusaaga. Olwatuuka Mugema n’akuba ennoma ye egamba nti: "Ssenya enku, twokye ennyama". Mukulu munne, Walusimbi, bwe yagiwulira n’agamba nti okulya kutuuse. Walusimbi bwe yatuuka ewa Mugema nga talabawo nnyama. Naye bwe yadda ewuwe yamala ennaku ntono n’akuba ennoma eyiye egamba nti "FE Bakka basengejja". Mugema olwagiwulira n’alaba endeku n’agissaamu oluseke n’akwata ekkubo erigenda ewa Walusimbi. Bwe yessa ewa Walusimbi nga mu nju temuli wadde ekikanja. Olugero olugamba nti "Akufumbira ey’omutwe omufumbira ya bigere" watuukira bulungi ku Mugema ne Walusimbi.


Abeffumbe be baazaala Ssekabaka Ssekamaanya.


Omuzira Wakiwuugulu eyatta ennyo Abasoga mu Busoga ku mulembe gwa Kabaka Kyabaggu, yali Waffumbe. Ebinyumizibwa ku Wakiwuugulu bigamba nti omuzira oyo yazaalibwa Bbigo mu Busiro. Wakiwuugulu yali muko wa Kabaka Kyabaggu kubanga Nanteza muka Kyabaggu yayitibwanga Waffumbe (so nga mu mazima yali Wanjovu) ate era Kyabaggu yalina abakyala Abeffumbe lyennyini.


Wakiwuugulu yali mwavu lunkumpe. Awo olwatuuka n’ayagala okuwasa. Bwe yamala okulaba omukazi gw’ayagala n’agenda eri munne omu ne yeewolayo embuzi. Munne embuzi gye yamuwola yali nnume. Eyawola Wakiwuugulu embuzi yali yeddira Ndiga. Wakiwuugulu embuzi teyagirwisa n’agitwala gye yali ayogereza. Abako bwe baagiraba ne baginyooma naye bwe baamanya obwolo bwa Wakiwuugulu ne bamusaasira ne bamala gakkiriza embuzi gye yatwala. Ebbanga lyayitawo ttono Wakiwuugulu ne bamutwalira mukazi we.


Anti z’olaga ow’ebbanja tezirwa, Wakiwuugulu yali ali awo nga munne amutuuse okumubanja. Wakiwuugulu bwe yalaba ku munne n’amutegeeza nga bw’atannafuna bya kusasula bbanja. Ennaku zaayitawo mbale ow’ebbanja n’addayo eri Wakiwuugulu, anti akunoonya ameewola takunoonya masasula. Ku mulundi ogwo ow’ebbanja yalaba Wakiwuugulu talina gy’ayinza kuggya bya kumusasula kwe kumugamba nti “Lwe nnadda omukazi gwe wawasa gwe nja okutwala, ebbanja liggwe”. Wakiwuugulu bwe yawulira eby’okumunyagako mukazi we, emmeeme n’emutyemuka. Bagamba nti ku bbanja lya Wakiwuugulu kwe kwava olugero olugamba nti "Ssempola nnume, azza mugongo".


Wakiwuugulu yalaba munne asimbudde ebigere mu luggya lwe naye n’agenda bunnambiro eri omusawo amuwe ku magezi ag’okumuwonya okunyagibwako omukazi. Omusawo bwe yamala okuwulira okweraliikirira kwa Wakiwuugulu n’amuwa ejjembe erinnya lyalyo kkomba, amakulu nti "Omusajja akomba banne". Omusawo bwe yali ng’awa Wakiwuugulu ejjembe yamugamba nti “‘Ng’olina ejjembe lino buli anaakutaliranga okukulwanyisa ng’oyo afuuse mbuyaga ezikunta”. Mbu era bwe gwali, ssempala eyawola embuzi bwe yagenda okunyaga muka Wakiwuugulu we yatalira okulwana ne Wakiwuugulu era we yattirwa. Baganda be abaagenda okuwoolera eggwanga bonna Wakiwuugulu yabattanga ng’engo bw’etta embuzi.


Wakiwuugulu bwe yava e Biggo n’agenda mu Kyaddondo. Mu Kyaddondo gye yalwanira n’Abatamanyannamba olutalo olwasooka okumumanyisa eri Kabaka Kyabaggu. Olwatuuka Wakiwuugulu n’agendako mu Kitamanyannamba. Bwe yali ng’atambulatambula n’awulira we banywaomwenge. Teyalwan’agenda gye bali, bamuwe anyweko. Na bali tebaali babi ne balaba ku ndeku ze baali nazo awo ne bamufukiramu omwenge ne bamuwa. Kazzi endeku gye baamuwa okunyweramu yali ya muka nnyinimu. Omukyala muka nnyinimu bwe yalaba omusajja gw’atamanyi anywera ku ndeku ye n’anakuwala era n’agenda n’obusungu agimusikeko. Omukyala bwe yagikwata oludda ne Wakiwuugulu n’agikwata oludda. Endeku teyalwa n’eyatika. Omukazi muka


nannyinimu yalaba endeku ye eyatise kwe kuddira ckibajjo kye yasigaza n’akikuba Wakiwuugulu. Nannyinimu naye teyalwa n’adduukirira mukazi we. Ku Wakiwuugulu abaaliwo bonna kwe bassa emiggo. Wakiwuugulu yalaba bonna bamuyiikidde naye kwe kutandika okwerwanako. Olutalo lwagenda okuggwa nga Wakiwuugulu Abatamanyannamba abasseemu abantu mwenda mulamba. Bwe baamuwawabira eri Kabaka Kyabaggu Kabaka yabaddamu kimu nti:


"Omusajja omu okubattamu abantu omwenda kitegeeza nti omusango gwasinga mmwe".


Ku kulwana n’Abatamanyannamba n’abagoba, Wakiwuugulu kwe yasinziira okumanyika eri Kabaka Kyabaggu.


Kyabaggu bwe yagenda e Busoga ne Wakiwuugulu yagenda naye era Wakiwuugulu yalwana nnyo n’Abasoga n’abagoba. Bwe yava e Busoga n’addayo e Bbigo. E Bbigo gye yasinziira okulwana n’Abanyoro abaali awo wonna mu Ssingo okuliraana ne Bbigo.


Bagamba nti mu nkula ye Wakiwuugulu yali muddugavu tibitibi. Kyabaggu kyeyava amutuuma erinnya erya Namagoye mu kusaaga. Ate amaanyi ge mu kunyaga ebintu ge gaamutuumya erya Lugolugenyi (terumanya mbuzi mponge).


Wakiwuugulu bw’atyo yalina amannya asatu: Wakiwuugulu Namagoye Lugolugenyi.


Wakiwuugulu yaziikibwa Bhigo ku butaka gye yazaalibwa.
 

Amannya ga be Ffumbe

Abawala
Kinnawunge
Mbatudde
Nabaggala
Nabakka
Nabbumba
Nakanyike
Nakaweesa
Nakigozi
Nakimuli
Nakisozi
Nakku
Naluboobi
Nalubwama
Nalukoobyo
Naluwungwe
Namakobe
Namammonde
Nantaba
Nanteza
Nawakkonyi
Nawolidda
Nnakafumbe
Nnangendo
Wozaako
Zaawedde

Abalenzi
Bakka
Batamyaga
Bbanjwa
Bbombokka
Bbuzimulu
Fulu
Ggolooba
Kafumbe
Kajoba
Kalumba
Kaseegu
Kasolo
Kaweesa
Kibalizi
Kigozi
Kigumba
Kigwanye
Kimuli
Kisenyi
Kisitu
Lubaale
Lubwama
Lukomwa
Luzinda
Maduudu
Magambo
Makubuya
Mayambala
Mpanga
Mujumbula
Musaazi
Mutemu
Nasserenga
Ndugga
Nsinjo
Nsobya
Nteza
Nvule
Semmambya
Sennoga
Ssaabwe
Ssebaggala
Ssebigaaju
Ssebisubi
Ssekabira
Ssekadde
Ssemalago
Ssempala
Ssengendo
Ssentumbwe
Ssubi
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;