EKIKA KY’AKASIMBA (Genet Cat)
AKABBIRO: Ngo


Abaakasimba tebalya nnyama yonna ey’ensolo etugiddwa engo.


Abaakasimba bagamba nti Jjajjaabwe ye Kibyami. Olubereberye Kibyami yali yeddira ngo. Kibyami yajja ne Kintu.


Awo olwatuuka Kabaka Kintu n’ava e Nnono n’agenda akuba ekibuga e Buvvi. Kibyami yagenda wamu ne Kabaka e Buvvi. Kibyami bwe yatuuka e Buvvi n’aganja nnyo mu maaso ga Kabaka Kintu. Kintu teyalwa n’alonda Kibyami okumusoloolezanga e Ssese ente n’embuzi n’ebyennyanja. Mu mulimu ogwo Kibyami mwe yayita n’agaggawala nnyo n’afuna n’amaka e Ssese. Kintu bwe yava e Buvvi okuddayo e Nnono Kibyami ye yasigala e Buwvi ku mulimu ogw’okusoloolezanga Kabaka ebintu e Ssese.


ENO YE NSONGA EYAGGYA KIBYAMI MU KIKA KY’ENGO


Olwatuuka omwana wa Kibyami omuwala n’atwala embuzi za kitaawe ku ttale okuzirunda. Bwe yali ali eyo ku ttale ng’alunda, engo n’egenda ekwata embuzi emu n’egituga. Omwana omuwala bwe yagiraba n’akuba enduulu.


Engo olwava ku mbuzi n’egenda egwira omwana omuwala n’emutaagulataagula n’emutta. Kibyami n’abantu abalala abadduukirira enduulu baagenda okutuuka ku ttale baasanga engo emaze okutta omwana n’embuzi. Kibyami bwe yalaba engo ky’ekoze ne yeerayirira nti: “Engo gye mbadde mpita muganda wange egidde ette omwana wange n’embuzi yange, nze sikyagyeddira. Nja kweddira Kasimba akabadde akabbiro kange, era okuva ku nze okutuuka ku bazzukulu bange tewabanga alya ennyama y’ensolo yonna etugiddwa engo”. Kibyami ne bazzukulu be bwe batyo bwe baafuuka Abaakasimba.


Obutaka bw’Abaakasimba bwe bwava e Buvvi ne bugenda e Zzinga. Ku Zzinga Abaakasimba kwe baasinziira ne bafuna obutaka bwabwe obukulu obw’e Ayango mu Mawokota.


Omukulu w’Ekika ky’Akasimba ow’akasolya ayitibwa "KABAZZI”. Erinnya Kabazzi lyajja bwe liti: Kabaka Nakibinge bwe yali ng’agenda e Ssese ewa Wannema okusabayo omuzira ow’okumubeera mu ntalo ze yali alwana n’Abanyoro abaamuwendulirwa muganda we, Omulangira Juma, abalaguzi baamala kumulagula nti "Bw’olituuka ku kizinga Bussi ng’ovudde ewa Kojjaawo Kirimungo, oliwulira mu kibira omuntu atema". Omuntu oyo gw’ogambanga n’akutwala e Ssese ewa Wannema. Akutwaliranga mu lyato lye era akusookezanga Zzinga, eyo gy’alikuggya n’akutwala e Ssese.


Kabaka Nakibinge olwatuuka e Bussi n’awulira omuntu atema naye n’akola ng’omulaguzi bwe yamulagula. Omusajja eyali atema mu kibira yali abajja lyato eppya, ng’ayagala lidde mu kifo ky’eryato lye eryali ligenda likaddiwa. Omusajja oyo yayitibwanga "Nakiiso". Yali yeddira Kasimba era ng’abeera ku Zzinga. Eryato lye lye yawungukiramu okugenda ku Bussi lyayitibwanga ‘‘Nakawungu’’. Mu lyato eryo Nakiiso mwe yatwalira Nakibinge e Zzinga n’e Ssese era mwe yamuddiza ku lukalu lw’omu Busiro.


BUYONDO AFUUKA WALUKAGGA


Nakiiso yalina mutabani we eyayitibwanga Buyondo. Buyondo yali muweesi wa mafumu era omulimu gwe ogwo ng’agumanyi bulungi. Nakibinge bwe yatuuka ku Zzinga ng’ava e Ssese, n’alaba Buyondo ng’alina effumu eddungi ennyo. Kabaka olwaliraba n’alyegomba era n’alisaba Buyondo alimuwe. Buyondo Kabaka effumu yalimuwa asanyuka nnyo olw’okulaba nga Kabaka asiimye omulimu gwe ne yeegomba n’okugutwalako ekijjukizo.


Kabaka Nakibinge bwe yatuuka mu kibuga kye e Bbumbu, waayita akabanga katono entalo ne zibujja. Effumu Kabaka lye yaggya ewa Buyondo lye yakwatiranga ddala mu ngalo ze ng’alwana. Lwali lumu Kabaka Nakibinge Abanyoro ne bamugoba n’agwa mu bunnya obwali busimiddwa okutta embogo. Mu bunnya obwo Kabaka yagwamu n’effumu lye era wansi mu kinnya gye yafiira nga tewali amanyi gy’agudde. Obuganda bwakanda kunoonya njole ya Nakibinge nga terabika. Baalaba ebulidde ddala kwe kulonda Omulangira Mulondo okusikira kitaawe.


Mulondo yalya Obwakabaka ng’akyali mwana muto nnyo. Bakojjaabe Aboobutiko kwe kumubaijjira entebe empanvu atuulengako abantu bonna basobole okumulaba. Entebe eyo ye yafuuka "NAMULONDO" Bakabaka b’e Buganda bonna kwe balinnyisibwa nga Mugema abasumikira okulya Obuganda. Ku ekyo Bakojja ba Kabaka Mulondo baayongerako okuyiiya amazina ge baazinanga mu maaso g’omwana waabwe nga bagenderera okumusanyusa. Amazina ago gayitibwa Maggunju (amazina ga Ggunju) Na buli kati amazina ago Aboobutiko bagazina ewa Kabaka n’ewa Ggunju.


Kabaka Mulondo bwe yali ng’alamula Obuganda ne wabaawo omusajja omuyizzi n’agenda mu nsiko okuziga ensolo. Omusajja oyo bwe yali ng’atambula mu nsiko n’atuuka ku bunnya Kabaka mwe yagwa. Bwe yatunula wansi n’alabayo effumu n’amagumba g’omuntu. Olw’okwagala effumu omusajja teyalwa n’akka mu kinnya n’aliggyayo n’agenda nalyo ewuwe. Omusajja bwe yamala okwerondera effumu eryo n’ayitanga nalyo bulijjo. Lwali lumu bwe yali ng’atambula n’asanga nga bazina Amaggunju. Omusajja bwe yalaba abazina mu ngeri eteri ya bulijjo n’asembera kumpi abeetegereze.


Mu bantu abaali bazina Amaggunju mwe mwali abaali bamanyi effumu lya Kabaka. Olwaliraba ng’omusajja bamukwata, nga bamutwala eri Katikkiro, nga bamussa mu nvuba nga bamulinza olunaku lw’anaawozesebwa. Omusango ogwamussibwako gwa kutta Kabaka Nakibinge kubanga effumu abantu baagamba nti lye likakasa obutemu bwe.


Olunaku bwe lwatuuka omusajja n’atwalibwa mu masengere okuwoza. Bwe yawoza n’annyonnyola bulungi effumu nga bwe yalironda mu kinnya era nga bwe yalabayo amagumba g’omuntu. Katikkiro bwe yawulira atyo n’alonda abantu n’abassa ku musajja eyalonda effumu n’amulagira abatwale ku kinnya gye yalironda. Ababaka bwe baatuuka ku kinnya ne balaba wansi amagumba, g’omuntu ne bakkayo, ne bagatwala eri Katikkiro. Abaamanya Kabaka ennyo ng’akyali mulamu bwe baalaba ku kiwanga kye ne bategeera nti ago ge magumba ga Kabaka Nakibinge ddala kuba yalina omuzigo mu mannyo ate nga n’amannyo ge ga ntalaga. Naye waaliwo abantu abamu abaali bakyabuusabuusa nga balowooza nti oboolyawo ng’ago si ge magumba ga Nakibinge, nti era n’effumu liyinza okuba nga si lye lirye.


Abaamanya effumu eryo nga Kabaka bwe yaliggya ku Buyondo e Zzinga bwe baawulira okubuusabuusa kw’abantu abamu, ne bawa Katikkiro amagezi ayite Buyondo agende aliweeko obujulizi.


Buyondo bwe baamuyita teyalwa n’atuuka mu maaso ga Katikkiro Buyondo yasanga effumu lye yawa Kabaka aabami balitaddeko akatonnyeze ku lunyago basobole okuliraba. Naye akatonnyeze ako kaali katono nnyo era nga tewali mulala ayinza okukalaba wabula abo abaakassaako. Bwe baamala ekyo ne baddira amafumu ebikumi n’ebikumi ne bagasiba ebinywa bingi. Effumu Buyondo lye yaweesa baalisiba mu kinywa munda wakati. Bwe baamala okusiba ebinywa by’amafumu ne babiganzika olunyiriri.


Ekinywa omwali effumu eryaweesebwa Buyondo kye baakomerezaayo ebbali okuva awaali abaami. Awo Buyondo bwe yatuuka awali Katikkiro ne bamubuuza obanga mu mafumu agaali awo mu maaso ge ayinza okulabamu effumu lye yawa Kabaka Nakibinge. Buyondo yaddamu ng’amwenyako nti: "Nnyinza, mukama wange". Buyondo teyalwa n’atandika okusumulula ebinywa by’amafumu n’agenda nga yekkaanya buli limu mu buli kinywa. Abaami n’abantu bonna abaali batunuulidde baagenda okulaba ng’effumu alironze mu kinywa kiri ekyali kisembyeyo ebbali. Bwe baalikebera nga balaba lye liiryo lye baalambako akatonnyeze. Katikkiro n’?Obuganda, bwe baalaba nga Buyondo abawadde obujulizi bwe baali banoonya ne bakuba emizira era ne basanyuka nnyo okumanya nti enjole ya Kabaka erabise. Omusajja eyalonda effumu teyalwa n’ateebwa okuva mu busibe. Awo we waava olugero olugamba nti: "Omulonzi tattibwa".


Kabaka Mulondo bwe yakula ne bamutegeeza nti "Omusajja Nakiiso ow’e Zzinga eyali abajja eryato ye yatwala kitaawo e Ssese n’okumuzza nti ate Buyondo mutabani wa Nakiiso ye yaweesa effumu eryavumbuza amagumba ga kitaawo". Kabaka Mulondo bwe yamala okuwulira ebigambo ebyo n’atumya Nakiiso ne mutabani we Buyondo. Bwe baatuuka mu maaso ge n’agamba Nakiiso nti "Okukwebaza olw’omulimu gwe wakolera kitange okumutwala e Ssese n’okumuzza obulungi, okuva leero gw’onoobanga Kayima mu mpingu y’Obwakabaka bw’e Buganda era okuva leero ojja kuyitibwanga ‘KABA’ okujjukira nti kitange yakusanga obajja eryato".


Olwo Kabaka Mulondo lwe yawa Nakiiso n’Obutaka bwe Zzinga. Kabaka bwe yamala ebyo n’akyukira Buyondo n’amugamba nti ‘Olw’okuweesa effumu eryavumbuza amagumba ga kitange, okuva leero ggwe onookuliranga abaweesi bange bonna era ojja kuyitibwanga ‘“‘Walukagga”. Okuva olwo n’okutuusa kati Walukagga ye mukulu w’abaweesi ba Kabaka bonna, era Omulangira bw’aba asikira Obwakabaka Walukagga aleeta ennyondo ey’ekikomo n’agiraga Kabaka nga bw’alaamiriza nti:


"Nze muweesi wo omukulu, aweesa amafumu g’olwanyisa. Ennyondo eno yeweesa amafumu g’owanguza amawanga".


Kabaka Mulondo bwe yagenda eri bakojjaabe Aboobutiko nabo n’abagamba nti:


"Amazina ago agankuza era n’ennoma ze mukubiramu mbiwadde ekitiibwa, mmwe ne bazzukulu bammwe babikubiranga buli Kabaka, emirembe gyonna, era n’effumu eryo teribulangamu okulaga nti lye lyavumbuza enjole ya kitange".


Na buli kati effumu eryo likyaliwo, lisimbibwa kumpi n’ennoma Kawuugulu nga Bannaggunju bazina. Effumu baliyita Kawawa.


AB’AMASIGA ABATUUKA KU KABAZZI


1. Walukagga e Kibugga Butambala
2. Lukwaju e Sserubona Mawokota
3. Kasumba e Bujjaju Buddu
4. Luyijja e Kijumagwa Ssingo
5. Mafutabirye e Kyannyonyi Ggomba
6. Kiyemba e Zzinga Busiro


EMIRIMU GY’ABAAKASIMBA EMIKULU KU KABAKA GIRI EBIRI


1. Ogw’obukulu bw’abaweesi ogukolebwa Walukagga.
2. Abaakasimba be baali mu bwami Obwamusaale mu mpingu ya Kabaka.


EMIBALA GY’ABAAKASIMBA


1. "Kiiso bwe kikulaba obulungi naawe okiraba."
2. "Kababembe."
 

Amannya ga be Kasimba

Abawala
Kirungimazzi
Nababazzi
Nakawungu
Nakayemba
Nakimwero
Nakiyemba
Naluwo
Naluwooza
Namazzi
Nandagire

Abalenzi
Bakulumpagi
Buyondo
Jeero
Kisirinnya
Kiyemba
Kiziri
Kubanja
Kyakulumbye
Mabuzi
Makayagga
Mazinga
Mazzi
Mbaziira
Mpingu
Nampuuma
Segonja
Sseruwo
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;