EKIKA KY’AKAYOZI (Kangaroo Rat)
AKABBIRO: Nsombabyuma. (Ensombabyuma nako kasolo.)
OMUBALA: "Ggwe mikigi, ggwe Nsasa".
Jjajja w’Ekika ky’Akayozi ye KAWUUKI, naye omukulu waakyo ow’akasolya kaakano ayitibwa MAGAMBO. Obutaka bwa Magambo obukulu buli Kyango mu Mawokota.
Magambo agamba nti Kawuki mu Buganda yajjamu ne Kimera, nga Kimera ava e Bunyoro. Awo bwe baamala okutuuka mu Buganda, Kawuuki ne baganda be, Kabaka Kimera n’abawa olusozi Ggolola mu Ggomba. Ku Ggolola Kimera kwe yaggya Kawuuki n’amuwa ensozi bbiri mu Mawokota: 1. Nsasa (okuli ekyalo Bulaaza) ne 2: Kyango. Ku Ggolola Kawuuki yalekako muganda we Makaatu. Kawuuki ng’atuuse mu Mawokota embuga ye embereberye yagikuba ku lusozi Nsasa waggulu, mu ntikko yalwo. Bwe yali ng’ali eyo ne bamutuuma erinnya erya Kafumu, okuva olwo n’ayitibwanga Kawuuki-Kafumu.
ERINNYA MAGAMBO NGA BWE LYAJJA
Olwali olwo Kawuuki-Kafumu n’akeera okutambula olugendo lwe lwe yali asuliridde. Yali yakava ewuwe n’asanga omuntu ow’entiisa eyamulagira amangu okugenda eri Kabaka okutuusaayo amawulire nti atuuse. Kawuuki bwe yategeeza ku banne okumuyamba okutuukiriza ebigambo oli bye yali amutumye, bonna baamuddamu nga bamukinaggukira nti:
"Nga bwe wakkiriza ebigambo okubituusa eri Kabaka, era ggwe wennyini gw’ojja okubyetwalirayo".
Ebigambo ebyo ebikulu Kawuuki-Kafumu bye yatwala eri Kabaka bye byamutuumya erinnya erya MAGAMBO, amannya ge Kawuuki-Kafumu n’aba nga takyagayitibwa.
Eyatuma Kawuuki-Kafumu eri Kabaka yali lubaale Mukasa. Okuva olwo Magambo yakolera ddala omulimu ogw’okugendanga e Ssese ne Kawungu okunona Mukasa, nga Kabaka abadde amwetaaze. Mukasa bwe yavanga e Ssese yasulanga wa Magambo e Kyango. Mukasa e Kyango yalinawo n’ekiggwa ekinene nga kiyitibwa "SSEKERABASSI".
Okuva ku Kabaka Kamaanya okutuuka ku Kabaka Chwa II Abaakayozi baali beekwese mu Benkima ab’omu Ssiga lya Jjumba, e Bunjakko.
ENO YE NSONGA EYEEKWESA ABAAKAYOZI MU BENKIMA
Olwatuuka, Kabaka Kamaanya bwe yali ng’akyali ku Namulondo, Kawungu Oweffumbe, eyali Kabona wa Mukasa omukulu, n’alonda mu Kyango Omwami Lukuyege Owaakayozi okugenda okusula mu ssabo lya Kamaanya. Lukuyege bwe yali ng’agenda ewa Kabaka yagenda n’abaana be babiri abawala, ab’okumuweereza. Yagenda n’omwana we gwe yazaalanga ye yennyini ate n’omwana wa muganda we eyayitibwanga Bazzemwendwa.
Lukuyege bwe yali ng’akyali mu ssabo lya Kabaka, Kamaanya n’ayagala ku baana be omuwala omu Bazzemwendwa gwe yali azaala, era n’amutwala mu Lubiri lwe n’amufumbirwa.
Ennaku za Lukuyege ez’okusula mu ssabo lya Kabaka bwe zaggwaako m’addayo e Kyango, wamu n’omwana we omu gwe yasigala naye. Bazzemwendwa bwe yalaba ng’omwana owuwe tatuuse Kyango n’abuuza muganda we omwana omu gy’asigadde. Bazzemwendwa bwe yawulira nti omwana owuwe asigadde mu Lubiri lwa Kabaka n’anyiigira nnyo muganda we era n’ayomba naye ng’amugamba nti ewa Kabaka yandifumbizzaayo omwana
owuwe.
Bazzemwendwa olwava awaali muganda we n’agenda mu kibira n’atema omulirira, n’atabula ne kajjampuni, n’addira ebiwubiiro n’abikuba ensawo, n’akwata eriraga eri Kabaka. Ku kibuga yamalayo ennaku ntono Kabaka n’alabika ku Lukiiko. Bazzemwendwa teyalwa n’agenda ku Lukiiko lwa Kabaka.
Olukiiko bwe Iwali lwabuka, Bazzemwendwa n’agamba Kabaka n’Abakungu be nti:
"Awo Kabaka w’alinnye ekigere nnyinza okulumikawo ne wajja omusaayi".
Kabaka teyassaamu kantu n’amukkiriza alumikewo. Ekiwubiiro olwakiggyawo nga balaba musaayi. Naye Bazzemwendwa olwazza’ ekiwubiiro mu nsawo ye, ne bamwambika emiguwa mu bulago. Era yattibwa mangu. Omunakulya Kabaka gwe yagaba okuzinda e Kyango. Magambo eyaliwo mu kiseera ekyo yali muzibe wa maaso. Ye bwe yadduka yakwata lirye nga talina gw’asabye kumukwata ku mukono. Bwe yakoowa ne yeeguyumika ku kkubo. Ku kkubo abazinzi kwe baamusanga ne bamutamba. Ku ye kwe kwava olugero olugamba nti:
"Amagezi g’omu gaabisa Magambo ku kkubo".
Akasaka Magambo kwe yeekweka na kaakano kayitibwa "Magezigoomu". Abaakayozi bangi bwe badduka mu kiwendo ekyo ne beefuula Abenkima ab’omu Ssiga lya Jjumba e Bunjakko. Abalala baaserengetera ddala Kannabulemu mu Buddu. Obutaka bwabwe obw’e Kyango Abaakayozi baatandika okubuddamu nga Kabaka Muteesa I y’afuga Obuganda, naye Jjumba baamwawukanako ku Michwa II. Omusango gwa Bazzemwendwa gwe yabaleetera gwayitibwa gwa kuloga Kabaka. Naye ye yali agenderedde okukola ekintu eky’amagezi ennyo mu maaso ga Kabaka n’abakungu be, Kabaka n’Abakungu bamutye, basobole okumuwa omwana we eyali afumbiddwa Kabaka.
Ekigambo Bazzemwendwa kye yakola mu maaso ga Kabaka n’Abakungu be, abantu kye baasinziirako okuyita Abaakayozi:
"Abakyango abalumika ttaka".
BANO BE BAKULU AB’AMASIGA ABATUUKA KU MAGAMBO
1. Makaatu e Ggolola Ggomba
2. Ssaabatakula e Bulaaza Mawokota (Beeyongera mu maaso)
3. Biteekwa e Kyamutuma Mawokota
4. Mukooki e Kalule Bulemeezi
5. Basaalidde e Nabalanga Kyaggwe
6. Bukeedo e Lusinga Mawokota
7. Mazinga e Kabusinde Bulemezi
8. Ssebuyira e Mmanja Busiro
9. Ssewanyaga e Kimwanyi Bulemezi
10. Lukooba e Kitemuzi Buyaga
EMIRIMU GY’ABAAKAYOZI KU KABAKA
1. Omulimu gw’Abaakayozi omukulu edda gwabanga gwa kugoberera Mukasa e Ssese.
2. Abaakayozi bagoma ku nnomaza Kabaka eziyitibwa Kanabba.
;