EKIKA KY’EKIBE (Fox)
AKABBIRO: KASSUKUSSUKU


Jjajja w’abeddira Ekibe era omukulu w’Ekika kyabwe ow’akasolya ayitibwa MUYIGE. Obutaka bwa Muyige obukulu buli Wantaayi mu Kyaggwe. Abeekibe Bataka badda nnyo mu Buganda. Baaliwo ne ku Kabaka Kintu. Katatta ow’e Mabanga y’omu ku Bataka abakulu abaalina emirimu ku Kabaka Kintu e Nnono.


Abeekibe baasookera mu Busujju, eyo gye baava ne bagenda mu
Kyaggwe. Mu Kyaggwe baagendamu bwe bati Olwatuuka
Omulangira Kayemba n’atumibwa mukulu we Ssekabaka Jjuuko  kugenda okuwangula Buvuma.


Omulangira Kayemba bwe yali agenda e Buvuma n’agenda n’Abeekibe bangi. Kayemba bwe yamala okuwangula Buvuma basajja be abamu Abeckibe ne basenga mu bizinga by’e Buvuma. Abalala e Buvuma gye baasinziira ne baagenda basenga mu Busoga. Omulangira Kayemba bwe yava e Buvuma okudda mu Buganda Abeekibe bangi baakomawo naye ne bagoba mu mwalo Kigaya. Awowe baasinziira okufuna obutaka mu nsozi eziriraanye omwalo Kigaya ne mu kyalo Makindu ne ku Buyikwe ne mu byalo ebiriraanye Buyikwe, era ne mu bifo ebirala ebiri mu Buzaama ne mu Bugolo.


Ku Kabaka Ssemakookiro Abeekibe kwe baasookera okwatiikirira nga bamaze okuweebwa omulimu gw’obusenero bw’omwenge gwa Kabaka bwe baggya ku Benvuma. Engeri Abeekibe gye baaweebwamu obusenero bw’omwenge gwa Kabaka twagiraba nga twogera ku Sseruti mu kitundu ekyogera ku bwami bw’omu Lubiri lwa Kabaka.


BANO WAMMANGA BE BAKULU AB’AMASIGA ABATUUKA KU MUYIGE


1. Ttaka e Wambogwe Kyaggwe
2. Ssemakubire e Kigaya Kyaggwe
3. Gwampa e Buwampa (Bugolo) Kyaggwe
4. Mugerere e Namubiru Kyaggwe
5. Muwooya e Namukono Kyaggwe
6. Kiggo e Kkoba Kyaggwe
7. Luvuuma e Masa Kyaggwe
8. Lugudde e Kokotero Kyaggwe
g. Ssembuya e Kikoma Kyaggwe
10. Kyoto e Mpirivuma Kyaggwe
11. Mpasa e Nakibe © Kyaggwe
12. Kayemba e Ssalye Kyaggwe
13. Kalinge e Kisaasi Kyaggwe
14. Bwogi e Ganjo Kyaggwe
15. Mbugayamunyoro Muluyobyo Kyaggwe


EMIRIMU GY’ABEEKIBE KU KABAKA


1. Obukulu bw’essenero ly’omwenge gwa Kabaka.
2. Gwampa yali mwami mu mpingu ya Kabaka.
3. Kalinge mugoma ku Ntamiivu ya Kabaka.
4. Mbugayamunyoro ye musenero w’omwenge gwa Nnaalinnya.


Mu mannya agatuumwa Abeekibe mulimu agatabuna Masiga gonna, naye gano agawandiikiddwa tegaawuddwa mu Masiga gaago olw’obuzibu omuwandiisi bwe yasanga obw’okugaawula mu Masiga ago 15.


EMIBALA GY'ABEEKIBE
1. "Nambuuze, kibe kyekubye nsiko"
2. "Kyasanku, bakuzaala wa? Ku kizinga Wambogwe".
2. "Gw'akwana amalirira, Muteesa: bw'anywa, bw'anywa, anywa nvuba, Muyige wa ddalu, wa ddalu".


 

Amannya ga be Kibe

Abawala
Bulya
Nakangu
Nalube
Nalubega
Naluvuuma
Nambuya
Namuyige

Abalenzi
Gebukoba
Ggombya
Gombe
Kabega
Kagi
Kaziro
Kibe
Kimpi
Kinyaamye
Kitoogo
Kkonde
Kyegera
Mayimbo
Mbuzimulanga
Mujeere
Sennyumba
Ssekasula
Ssembuya
Ssemuwemba
Tonsaakula
Join Forums on the Tribe, Connect with others!
Join over 100,000 other users to stay informed
Join Forum
Logo © 2022 The Tribe Africa.
;